CONNECT UGANDA DISCUSSION BOARD
Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?
Re:Okubuulirira abalenzi (1 viewing) (1) Guest
Go to bottom Post Reply Favoured: 0
TOPIC: Re:Okubuulirira abalenzi
#9557
prettyd (User)
Junior Forum Member
Posts: 82
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Okubuulirira abalenzi 6 Months, 3 Weeks ago  
Obwabboosi tobutwala mu kitanda

MUSULA mutya batabani bange. Leero mmwe abalina olufugirizo mmwe mundeese ekipayoppayo.



Abamu ku mmwe bwe mubeera babboosi ku mirimu gye mukola, ebitiibwa byammwe mwagala mubitwalire ddala ne mu buliri.



Kye mulina okumanya nti kino kiremesa abaagalwa bammwe okubawa laavu ennyuvu, kubanga babeera tebeetaaya bulungi.



Abamu temufaayo na kutegeka bannammwe mufubutuka bufubutusi nga mulowooza nti eby’okumudeddereza okulaba oba ali mu ‘muudu’ bya kumala biseera. Abamu muteekako n’okubalagira nti, ‘Kyuka eno..’ nga gy’obeera nti mwayombye dda.



Bwe muva awo ne mwagala sitayiro emu yokka ey'okubadda ku ddiba mwe ne mubafulubbalako waggulu. Mbu olwo ekyo kibalaga nti muli basukkulumu nnyo ku bo.



Ate nno era ntidde buti okwatuukiriza abamu abatawuunira ddala mu mukwano nga gugenda mu maaso era nga tebafuddeeyo kukwata ku balongo munne be yategana okumufunira asobole okuwoomerwa ebisoobooza bye.



Bino byonna bibi kubanga munno gw'oli naye oba tomuwadde mukisa kukulaga naye bw'alina obukodyo obukunyumisiza ennyintu.



Abalala temukkiriza na kubasiimuula ng’omuzannyo gwa laavu guwedde mbu kubanga mulina ensonyi oba temukwatwako, ate bwe muva awo ne mwemulugunya nti bakyala bammwe tebabamatiza mu mukwano.



Ekivaamu kwe kuwankawanka nga bannammwe bababuulidde ate bo nga bwe bagusinda.



Ate nammwe ne mukiraba nga bwe mugendako ebbali olw'okuba muba nga mukyayagala okwerungiya, ate yo laavu ebatabira okukamala.



Kye mulina okumanya nti mu buliri tewabeera bitiibwa ng’abamu ku mmwe bwe mulowooza, era buli lw’obikulembeza kibeera kizibu okunyumirwa omukwano, ate ne munno omumalako emirembe.
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#9559
rambuka (User)
Diamond Forum Member
Posts: 718
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Okubuulirira abalenzi 6 Months, 3 Weeks ago  
advice was good
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
peace
  The administrator has disabled public write access.
#9664
JeenaJulia (User)
Gold Forum Member
Posts: 1002
graphgraph
User Online Now Click here to see the profile of this user
Re:Okubuulirira abalenzi 6 Months, 1 Week ago  
Mukyala wo tomugeya ng’oli n’abawala b’oganza





MULIYO mutya batabani bange. Mmanyi abamu mulina omuze gw’okuganza ebbali.



Ate abawala abo be muba mukwanye mubabuulira ebintu nfaafa ebibakwatako n ‘ebikwata ku bakyala bammwe ab’awaka.



Okuganza ebbali kikyamu, naye ate okudda ku maama w’abaana akufumbira awaka n’otandika okumugeyeza abawala b’okwana kya mutawaana nnyo.



Bangi mubategeeza nga bwe batamanyi kufumba n’okubalabirira nga kye munoonya be bawala abo okubakkiriza amangu nga balowooza nti ddala bye mwogera bituufu nnyo.



Wabula mmwe abakikola mumanye nti kikyamu kubanga muba muttattana maka gammwe, anti kuba mugaanise n’abawala abo ne batandika okubayisaamu amaaso.



Olwo omukwano n’omuwala bwe guggwaawo adda ku mukazi wo ng’amuvuma n’okumulangira byonna by’oba wamunyumiza.



Ate naawe kennyini ayinza okukutwaliramu anti ebyo byonna by’oba weeteteggula ng’omubuulira abeera yabitereka, ekiseera bwe kituuka n’omukyawa ng’akulaalaasa mu bantu bonna.



Ky’oteekwa okumanya nti munno bw’aba takusanyusa oluusi kiva ku ngeri gy’omuyisaamu. Bw’oba omuyisa ng’ekisiimuula kijja kubeera kizibu naye okukola ebikusanyusa.



Ate ne bw’onoofuna omulala n’omuyisa bw’otyo era ojja kwesanga nga takyakusanyusa.



Published on: Wednesday, 2nd July, 2008
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AGREE TO DISAGREE...FEEL FREE TO DISAGREE.
  The administrator has disabled public write access.
#10020
prettyd (User)
Junior Forum Member
Posts: 82
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Okubuulirira abalenzi 5 Months, 2 Weeks ago  
Ebintu abasajja bye bataagala kukolebwa ku bakyala baabwe



GYE buvuddeko omuyimbi Bebe Cool yaggunda omusajja agakonde ng’amulanga kukwata ku kabina ka mwagalwawe Zuena. Okukwata ku kabina k’omukyala yenna nga bba oba omwagalwa we alaba ky’ekimu ku bintu ebinyiiza ennyo abasajja.



Ng’oggyeeko kino, bino wammanga by’ebirala abasajja bye batayagala bikolebwe ku baagalwa baabwe nga nabo weebali.



Okunywegera mukyalawe n’okumugwa mu kifuba. Muli abeera alowooza nti akikoze ayinza okusingako awo n’atandika okumukwana.



Okutwaka mukazi we mu ngalo n’atandika okuziweeweeta oba okuzitakulatakula.



okumuzza mu kyama ne batandika okwogera by’atawulira kyokka nga baagenze bombi ku mukolo.



Okuzza nga mukyala we awaka aleme kutambulira mu takisi.



Okukubira mukyalawe essimu ne mwogera olukobo ng’ate mulimu n’ebisesa oba ebireeta omukyala akamwenyumwenyu ku matama nakyo kya bulabe, nga bba waali kubanga atandika okulowooza nti ayogera ne mukyala we amukwana.



Okukwata ku mabeere ga mukaziwe abasinga ge batwala nga zaabu, oba okumukwata mu kiwato lubeera lutalo lwennyini kubanga ne mu mateeka ovunaanibwa.



Omusajja okugulira muk’omusajja ebyokulya n’okunywa nga muli mu kifo gy’amututte okwesanyusa nakyo kinyiiza nnyo abasajja. Muli alowooza nti omunyoomye ky’ova osalawo okugulira mukazi we ebyokulya ng’akabonero akalaga nti ye tamalaako.



Singa babeera bagenze mu mazina oba ku mukolo oguliko endongo ggwe n’otandika okwesiba ku mukyalawe okuzina naye nga tomuta kirumya bangi.



Okukyala awaka w’omusajja mu budde bw’atatera kubeerayo ate n’osalawo okutuula onyumye ne mukyalawe nakyo tekiba kirungi naddala singa bba abasanga.



Okuweereza ebbaluwa eyita omukyala ku mukolo gwonna ng’omwami tomuyise ate nakyo abasinga kibayisa bubi, kubanga olwo bba obeera ‘ng’amusiimuddewo’ Muli abeera yeebuuza lwaki ye tomuyise era abamu batuuka n’okugaana bakyala baabwe okugenda ku mikolo egy’ekika kino, oba bw’awalaza empaka n’agenda, bw’akomawo atuukira ku miggo.



N’olwekyo buli lw’obeera ne muk’omusajja oteekwa okwegendereza.



Published on: Monday, 28th July, 2008
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#10050
prettyd (User)
Junior Forum Member
Posts: 82
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Okubuulirira abalenzi 5 Months, 1 Week ago  
Totwala bboggo mu buliri


Okubuulirira abalenzi

MULIYO mutya batabani bange. Leero mmwe abakaayuukira bannammwe ne mubawa ebiragiro nga muli eyo mwesanyusaamu mmwe be nzize okuwabula.

We nsaliddewo okuleeta omulamwa guno nga bawala bange abawerako bampandiikidde nga beemulugunya ku ngeri gye mubakwatamu nga muli eyo mu byammwe.

Balenzi mmwe musaana mweggyemu ‘obwa hajibusungu’ bwe mwessaamu buli we mubeera. Mukimanye nti buli lw’okambuwalira munno nga muli mu mbeera eno alemwa n’okutuuka ku ntikko y’omukwano.

Etteeka ekkulu kwe kumanya nti ekikolwa kya laavu ey’omu buliri tekirina kigendererwa kya kubonyaabonya omu ku mmwe. Wabula mwembi okuba nga munyumirwa. Naye abalenzi mmwe mumanyi okwefuula ab’ekitalo.

N’olowooza nti mukyala wo alina kukolera ku biragiro byo nga muli mu kitanda. Ggwe ssebo, ‘kyuka’ n’abanga ‘kyuka’ munno n’atuuka n’okukwetamwa anti nga byonna obyogeza busungu gy’oli alina ekikyamu kye yakukoze.

Enkola entuufu yandibadde nti bwe mutandika ebya laavu, ebintu biteekwa kwekola byokka , ng’ekimu kye kidda ku kinnaakyo.

Mulina okumanya nti ebyo bye mwekambuwaza tebiyamba era bannammwe byabatama dda lwa kusirika. Mulina okumanya nti ebyo oluusi bye bitta obwagazi mu bannammwe ne mutuuka kubanoonya nga tebavaamu wadde ettondo ly’otuzzi.

N’olwekyo kirungi mujjukire nti mu buliri amaloboozi gammwe galina okuba nga ga kigero agalimu ku laavu ne bannammwe bafune ekinyegenyege batandike nga n’okubeesunga.


Published on: Wednesday, 30th July, 2008

Email this article to a friend.
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#10171
JeenaJulia (User)
Gold Forum Member
Posts: 1002
graphgraph
User Online Now Click here to see the profile of this user
Re:Okubuulirira abalenzi 5 Months ago  
I was a very happy person. My wonderful girlfriend and I had been dating for over a year, and so we decided to get married. There was only one little thing bothering me . . . it was her beautiful younger sister.

My prospective sister-in-law was twenty-two, wore very tight miniskirts,and generally was braless. She would regularly bend down when she was near me, and I always got more than a pleasant view of her private parts. It had to be deliberate. She never did it when she was near anyone else.

One day "little" sister called and asked me to come over to check the wedding invitations. She was alone when I arrived, and she whispered to me that she had feelings and desires for me that she couldn't overcome. She told me that she wanted to make love to me just once before I got married and committed my life to her sister. Well, I was in total shock, and couldn't say a word. She said, "I'm going upstairs to my bedroom, and if you want one last wild fling, just come up and get me."

I was stunned and frozen in shock as I watched her go up the stairs. When she reached the top she pulled off her panties and threw them down the stairs at me. I stood there for a moment, then turned and made a beeline straight to the front door. I opened the door, and headed straight towards my car.

Lo and behold, my entire future family was standing outside, all clapping! With tears in his eyes, my father-in-law hugged me and said, "We are very happy that you have passed our little test . . . we couldn't ask for better man for our daughter. Welcome to the family."


And the moral of this story is: Always keep your condoms in your car!
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AGREE TO DISAGREE...FEEL FREE TO DISAGREE.
  The administrator has disabled public write access.
Go to top Post Reply
get the latest posts directly to your desktop
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
You are here: Radio
Advertisement
Advertisement