|
Munno muzzeemu amaanyi nga musinda omukwano
BATABANI mwebale emirimu. Mbasaba bwe muba munyumya akaboozi ne baganzi bammwe, mugezzeeko nnyo okubazzaamu amaanyi.
Leka kumusiriikirira ng’abayombye. Ne bwe muba mwayombye, jjukira nti ate kati muli mu mbeera ndala nnyo eyeetaaga ebigambo ebiwooma okulaba nga munyumirwa kye muliko.
Bwe mutandika okulya ebintu, ye bw’aba asiiyiriza gwe nti ‘aaaaaaiiiiii...’ nga naawe ogoberera. Ate bw’akuyita erinnya nga naawe olimuyita mu ngeri erega omukwano.Oyinza okulisalako. Bw’akuyita Mark nga gwe omuddamu nti wangi Naka.
Essanyu erinaabeera awo lijja kubatambuza olugendo lwammwe mutuuke ku mutala Ntikko nga mwenna mujjudde ebisooto anti enkuba ejja kutonnya ezibye n’okukeesa obudde. Bw’oba kale naawe obuwoomi bukuyitiriddeko nga tokyasobola kwatula bulungi bigambo, waakiri gezzaako okumumunya. Bwe muba musula mu buzigo buno obutaliiko siiringi, ebyabogezi sooka obiveeko osanyuse munno anti nabo gye bakoma okuwulira nga mutokosezza yingini ya laavu, ebibali mu mpale gye bikoma okubereega. Bwe baba bakazi, gye bakoma okwetobya nga nabo ekintu kibakutte omubabiro. Ate naawe omulenzi gy’okomya okuba nti osiiyiriza nga muli mu laavu ne munno gy’akoma okuba nga anyumirwa era n’okutuuka ku ntikko ya laavu omukwano gwe bwe guba nga si gwa bukuusa. Mukomye okuleeta olwa bboosi mu buliri bwe mujja okufuna essanyu eritasalikako. Tuddemu wiiki ejja! Mweraba.
Mbadde ndowoza okubaweleza akayimba ka Kafeero ..."Galenzi mwe" naye maama tekisoboke kuba message ekalimu sinagyekanya kampiteyo maale okawuliliza.Akuume God.
|