MBALAMUSIZZA bawala ne batabani bange. Leero njagala tutunuulire amannya ge muyita bannammwe abo abababugumya nga muli eyo mu kitanda. Owuwo omuyita otya? Omuyita ‘maama Naaki’ ng’abalala awaka bwe bamuyita?
Mmanyi abamu ku mmwe temufaayo ku mannya ge muyita baagalwa bammwe bano naddala nga muli eyo ku kisenge babagabira amasaza. Wabula bw’otofaayo kumuyita linnya erinaamucamula ne by’okola tebijja kumunyumira. Ggwe ng’omusajja oteekwa okugunjaawo erinnya erimumanyisa nti ye ggwe amuleetera ebisulo mu bisambi.
Waliwo amannya ge muyita abaagalwa bammwe ne gabamalako ne laavu, era we batuukira mu kisenge nga buli kimu bakikola kutuusa mukolo. Ekibi nti abasinga ensonga za laavu temuzitwala ng’ekikulu, kye mukuliriza kimu kya kwegatta.
Munno oyinza okumuyita Namboozi, amakulu nti y’akuwa emboozo y’omu buliri ekunyumira, era buli lw’awulira ng’ebisulo bimusala mu bisambi ng’acamuka. Olwo lwaki taakubeerere munyuvu mu kisenge? Oba osobola okumuyita Kasonsomolera ng’omugeraageranya ku liggwa ly’ettovu. Oyinza okumuyita okusinziira ku bitundu by’omubiri gwe gamba nga Maasombira, bulawuni, kabinandoddo oba sigiri, okulaga nti alina ebbugumu ly’oyagala mu buliri.
Kye mulina okumanya nti omukwano gwetaaga okuwaana era buli lwe kutabeerawo ebintu tebitambula bulungi.
Buli lw’omuwa erinnya erimwawula ku bantu abalala kimulaga nti omwagalira ddala era buli w’omutuukirako abeera ayidde.
Ekyewuunyisa nti ate bawala bange bangi abafuna abasajja ne babala nga tebakwatagana bulungi, wabula ne bagenda mu maaso ne babafumbirwa nga balowooza nti bwe banaatuuka mu bufumbo bajja kusobola okubakyusa basobole okufaana nga bo bwe baba baagala.
Naye njagala okubagamba mmwe abawala nti mu kifo ky’okumala obudde ng’okyusa omusajja weemalire mu kulongoosa amaka go.
Abafumbo abo b’olaba bajaguza emyaka 25 oba 50, amagezi gaabwe, ensimbi n’ebiseera ebisinga babiteeka ku kutereeza maka gaabwe.
Mu mbeera efaanana bw’eti amaka gakulaakulana, geegombesa era geeyagaza okubeeramu. Buli lw’otunuulira ebintu byo ebirungi by’okoze mu maka n’ensimbi ssaako obudde bw’omaze okukolerera ebintu ebyo kikubeerera kizibu okuseetula ekigere okugavaamu, era omuyaga ne bwe gujja nga gukunta, osobola okuguma n’okwenyweeza wekka awatali muntu mulala kukuyamba.
N’omusajja agenda okulaba nga byonna by’okola toseguka n’akomawo awaka ne yeetereeza. Kino tekitegeeza kuggya birowoozo ku baami bammwe, wabula mukomye okulowooleza mu kubakyusa.