CONNECT UGANDA DISCUSSION BOARD
Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?
Back to skul @ 58 ! (1 viewing) (1) Guest
Go to bottom Post Reply Favoured: 0
TOPIC: Back to skul @ 58 !
#10690
Alysha (User)
Junior Forum Member
Posts: 84
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Gender: Male Location: Uganda Birthdate: 1914-09-10
Back to skul @ 58 ! 3 Months ago  


DDALA obutasoma buluma okuze! Muzeeyi Godfrey Wamala, 58, ow’e Kikoma Kasawo mu disitulikiti y’e Kayunga azzeeyo asome nga n’ekimuzzizza mu ssomero kulwanirira ttaka lye abaasoma lye baamutwalako. Atandikidde mu
P.5 mu Kiwaatule Parents Preparatory e Ntinda. Byonna yabittottoledde ROBERT MUTEBI bwati:

Saasooka kumanya mugaso guli mu kusoma kuba bwe nasomayo emyaka ena ne nsalawo ebitabo okubisuula. Sikyajjukira bulungi kibiina mwe nakoma.

Okusoma bwe kwagaana nabakana na gyakusiiga langi era omulimu guno gwe gwanzigya mu kyalo e Kasawo ne nnyingira ekibuga. Mu Kampala kumpi buli divizoni nninamu amayumba ge nsiize langi.

Nawasa abakyala bange babiri omu ne mmuteeka e Kasawo omulala Kulambiro era mbazaddemu abaana 11. Omulimu gwange gubadde gunsasula bulungi, nga nsobola okulabirira ab’omu maka gange.

Ebintu by’okusengula abantu ku ttaka bwe byanyinyitira mu 2006, 2007 na guno nange nneesanga nga bintwaliddemu. Ettaka lyange lye nagulira mu kitundu we mbadde okumala emyaka egisoba mu 30 laba bwe bang’amba nti si lyange.

Nasoberwa,wadde nalina ebiwandiiko byonna ebinkakasa nti ettaka lyange, abantu abeeyita abayivu balina engeri gye baataputamu etteeka ly’ettaka okukkakkana nga bangobye.

Ekisooka nga bye bang’amba biri mu Lungereza era buli yajjanga nga ku by’etteeka ly’ettaka ambuulira bibye. Kwe kusalawo okuddayo nsome nkuguke mu mateeka nfuuke looya nnunule ettaka lyange.

Emyaka mingi naye laazima waakiri kufa kwe kunanjawukanya n’ebitabo.

Nalowoozaamu okusomesa abaana bange bafuuke balooya nga ndaba bayinza obutakwatibwako nga nze. Abanaayagala okusoma nja kubasomesa bafuuke balooya oba oli awo tulikola kkampuni ne tugituuma Wamala and Family Advocates. Kati ndi mu P.5 naye nja kukwazza mpola anti naawe okimanyi Ssossolye bw’atafa……..

Mukyala we omukulu Teddy Namusoke:

Ebiseera ebisinga baze abadde ayagala nnyo okuyiga Olungereza kyokka nga kino tang’ambangako nti kiyinza okumutwaza mu ssomero. Abantu bwe bajja ne bamubuzaabuza ku ttaka lye wamma omwami yatabuka. Nali simulabangako mu mbeera eno anti yatuuka n’okwagala okweyimbamu omuguwa. Namuwooyawooya n’adda mu mbeera n’asalawo adde mu ssomero alwanirire ettaka lye. Nasooka kubigaana nga ndaba talina kyategeseewo naye bw’aba bw’asazeewo tewali kyakukola.”

Wamala okwawukanako n’abaana abalala ayambala mpale mpanvu. Mu biseera eby’okusoma asula Kulambiro mu maka ge agokubiri, ku Lwokutaano n’addayo e Kasawo okwegatta ku b’omu maka ge amalala. Ku Lwomukaaga akeera kulima olweggulo n’anyumyamu n’abataka. Ssande akyalirako mikwano gye ne banywa ku mubisi.

Ye akulira essomero lino Muky. Margaret Kizito agamba nti yasooka kutya kuwa Wamala kifo ng’alowooza nti yali ayagala pulogulaamu ya njawulo. Bwe yakimanya nti yali ayagala kusoma ng’abalala n’amukkiriza. “Mu kusooka yatandikira mu P.7 kyokka twagenda okulaba nga tagyayo kwe kumuzza mu P.5 era eyo asobolayo bulungi,” Muky. Kizito bwe yategeezezza.

Singa embeera y’ebyensoma esigala nga bweri, Wamala alinayo emyaka esatu egya pulayimale, mukaaga egya siniya n’emirala etaano egya yunivasite.

[color=#008000]A wise man turns chance into good fortune.[/[/color]i]
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
Jerous/envious hearts always very dangerous!
  The administrator has disabled public write access.
      Topics Author Date
    thread link
Back to skul @ 58 !
Alysha 2008/10/05 01:49
    thread link
thread linkthread link Re:Back to skul @ 58 !
kingo 2008/10/08 06:43
    thread link
thread linkthread linkthread link Kitalo nyo Ekya Kibirige Ssebunya
kingo 2008/10/08 07:07
    thread link
thread linkthread linkthread linkthread link Re:Kitalo nyo Ekya Kibirige Ssebunya
kingo 2008/10/08 08:03
    thread link
thread linkthread linkthread linkthread linkthread link Re:Kitalo nyo Ekya Kibirige Ssebunya
Astartois 2008/10/08 11:46
    emo
thread linkthread linkthread linkthread link Re:Kitalo nyo Ekya Kibirige Ssebunya
rambuka 2008/10/10 00:37
    thread link
thread linkthread linkthread linkthread linkthread link Re:Kitalo nyo Ekya Kibirige Ssebunya
JeenaJulia 2008/10/10 15:10
    thread link
thread linkthread linkthread linkthread linkthread linkthread link Re:Kitalo nyo Ekya Kibirige Ssebunya
JeenaJulia 2008/10/12 08:33
Go to top Post Reply
get the latest posts directly to your desktop
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
You are here: Radio
Advertisement
Advertisement