|
Kisinziira ku mwana, ku family, ku mirundi emeka gyagenzeko eka, ku biki ebimugambibwa ebikwata ku ka, ne ngeri gyakuzibwamu. Wano okiraba bulungi kino, abaana abazalibwa kuno nga bava mu boolo abatalaba Walukagga, tebagala kudda ka, bawulira bazadde baabwe byebogeera. Wano sogeera ku boolo batalina ssente, ngamba abanaku mu myooyo. Toyinza kwagala nsi yo, nebakuwa mwana muto, atnulidde era alinda okuyiga buli kimu okuva ku ggwe, nakulema kugimwagazisa, oba teogezezzako oba nga toyagala. Ebyokulimba bidda wali. Waliwo ate abaana nze bemmanyi, abatayagaliira ddala kuno. Omulenzi omu eyazalibwa kuno nakulilako yaddayo eka najja okukyaala nangamba, naye mba tya, muli bakazi, eehee, obulamu olwo nga bwaaki? Nze kuno siyinza kubeerako!!
|