Meli nze emirimo gyange girika naye mumazima ogenze noleta ekintu okuba nti ekka teri bwesimbu kitufu nadala mubantu baffe naye nyina mukwano gwange yali akola ku embassy ya uganda wano mu london naye yali amazewo emyaka 16 nagamba nkoye ali mumyaka 48 kanzireko eka naye yamalayo emyezi 3 nga byakola tebijja nga tabitegera abana entambuza gyebatambuza ebintu eri ku speed yakizungilizi kati byagana nakomawo wano era naye agamba nti obulamu bweka sibusobola. Ekilara simanyi oba mwe mwali mukilowozezako nti ewaka wali expensive nokusingawano, ogenda mu shopprite oba mu uchumi ogula ebintu bya mitwalo atano nga byetukozesa wano nebitamalako week ngate wano wanno okola shopping yo ya £100 nemala week.