|
Wano mmanyiiwo abaana bannaU abaazalibwa wano, era nebakulira wano. Kyokka bwebaatuuka eyo mu myaka nga 18 nebagendako eka emirundi ng'ebiri, baasalawo nti bagala kusengukira ka. Baagamba mbu baanyumirwa nnyo eka, era mbu eriyo feeling etali wano.
Wabula ng'onoddayo eka, olina kusenguka mubiwagu. Sooka ogende omaleyo akabanga, okomewo, ate oddeyo, okomewo, ate oddewo emirundi egiwera. Ekyo kikuyamba okuyiga abantu b'eka n'entambuza ya business. Oluvanyuma olyooke osibe engugu.
|