CONNECT UGANDA DISCUSSION BOARD
Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?
Nnaganza omwana ne nnyina! (1 viewing) (1) Guest
Go to bottom Post Reply Favoured: 0
TOPIC: Nnaganza omwana ne nnyina!
#4100
luutu26 (User)
Expert Forum Member
Posts: 483
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Gender: Male KAZIBWE2 www.celebafrica.net
Nnaganza omwana ne nnyina! 1 Year ago  
Nnaganza omwana ne nnyina!



NZIKIRIZZA nti ddala nvuyizza mu bintu by’omukwano. Okuva lwe nnaganza omwana ne nnyina, nsazeewo omukwano okusooka nguwummule.



Nze Samuel Ssemwanga mbeera Wakiso. Omulimu gwe nkola gwa kuvuga mmotoka era ngumazeemu ebbanga.



Lumu mba nva ku lugendo, ne nsisinkana omukyala eyannyimiriza n’ansaba mmutwaleko e Kampala, nange ne nzikiriza.



Bwe twatuuka mu kibuga olw’okuba ng’obudde bwali bugenze, yanneegayirira mmutuuse ewuwe e Nateete. Yafuba nnyo okunsikiriza okuyingira mu nnyumba era n’ampa obugenyi obwangungu.



Yasigaza n’ennamba y’essimu yange era yageranga n’ankubirako okumbuuzaako. Eno y’eyali entandikwa y’omukwano gwaffe ogwali omuzito.



Nnamukyaliranga mu biseera byange ebyeddembe naddala ku wiikendi ne ndya ku byassava.



Wabula olumu bwe nnagenda okumulabako, nnasangawo omuwala era nnagenda okumwekkaanya nga ye maama w’omwana wange omubereberye.



Yamunnyanjulira mangu nga muwala we, omwana wa mukulu we. Nnafa ekitiibwa kubanga omwana waffe yali akuze era nga nze mbeera naye.



Ku ssaawa eyo nnasiibulirawo wadde nga nnali nteekeddwa okusula ewuwe.

Ye omukyala teyamanya kyali kintuusizza mu mbeera eno era yankubira essimu ng’ampita kyokka nga buli kiseera nfuna kye nneekwasa era omukwano gwakoma awo nga ntya okwemuka n’okulwala obuko.



Published on: Wednesday, 24th October, 2007
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#4105
kawagga (User)
New Forum Member
Posts: 4
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Nnaganza omwana ne nnyina! 1 Year ago  
Muganda wange ssemwaga ngawalaba, kati oli bulunji tolinaamu kinyegenyege ,oba akadanyuma kubaanga bagamba nti obwenzi buba buzaale .....neyita kawagga ronie S.KOREA
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#4107
JeenaJulia (User)
Diamond Forum Member
Posts: 939
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Nnaganza omwana ne nnyina! 1 Year ago  
Ela daala Ssemwanga yetagga kusasila nga Kawagga bwokoze,kuba musajja wattu teyakigendelela.Naye nze nina omuvubuka gwemanyi eyeyitanga mutabani wa Nassur ono eyalisanga abantu sapatu.Omuvubuka oyo yeyakikola mubugendelevu naganza omwana ne nyinna.Maama yali banno bebagamba mbu abe Iganga ewa Munna nga taggwa biduula ate nga nomwana yazala mbooko yenyini.Omubuvuka ono ela naye kwewali okomya amasso nga mulungi muzibu.Bwatyo mwana mulenzi neyefunila omukisa najula empombo eyo muzadde nomwana ate nebwebakitegela nga kubombi teli ayagala kumuvako.Mwana nalya bintu okutusa ndowoza ye mwenyini bweyawulila nga bimutusse.
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AGREE TO DISAGREE...FEEL FREE TO DISAGREE.
  The administrator has disabled public write access.
#4110
Richie (User)
Baby Forum Member
Posts: 20
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Gender: Female
Re:Nnaganza omwana ne nnyina! 1 Year ago  
iiiinaye naye Kawagga nawe!!!. mussajja wattu ono kyamuyitirako bambi, gwe olowozza ebyo biba bikyawoma??? munange sebo nga walaba...naye kasita wakola omutu yenna eyakulira mubantu kyeyandikoze. kirungi nyo okwewa ebisera notapapa nga nfunye omuntu . okwetegereza no'kumanya ebibakwatako. gwe ne nyazala wo mwembi bweguba musango tewali gwengusalira kubanga mwembi temwamanya, nolyekyo lekerawo okwerowozako weka nga eyaza ogwanagomola. nze mbadde ngamba nti sala amagezi nga bwosobola, lumu ajja kwevamu nyazalawo ono omubulire ensonga eyo amanye, aleme kusigala nga yebuzza lwaki kino wakikora byotyo.bwaba nga muntu mulamu aja kukitegera.

HKRichie.
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
Go to top Post Reply
get the latest posts directly to your desktop
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
You are here: Start Here
Advertisement
Advertisement