|
Ebyalo mbimugabira tuli ku ssimu!
OMWAGALWA wange ali mu Bungereza ku kyeyo ammazeemu amaalo. Mu kusooka nnamuwandiikiranga nga mmutegeeza ebinfaako, naye n’anziramu, ssaako n’okunkubiranga ku ssimu.
Wabula nnali sikirowoozangako nti tusobola okusindira omukwano ku ssimu buli omu n’amatira.
Omusajja ono nnamufunira ku mukutu gwa yintanenti. Mu butuufu tetulabaganangako, naye nga ndowooza musajja mulungi era muntumulamu, okusinziira ku ngeri gy’ayogeramu.
Musajja Muganda era alabika ebyomukwano abitegeerera ddala bulungi. Yansaba ebifaananyi byange ne mbimuweereza naye n’ampa ebibye.
Gye buvuddeko yankubidde essimu n’ansaba nti bwe ziwera ssaawa nnya nteekwa okubeera mu buliri n’ekifaananyi kye nga kindi kumpi.
Munnange essaawa bwe zaaweze nange ne mbwesogga, era amangu ddala n’ankubira. Yatandise okumpaanawaana nga kw’atadde n’okunsaba nkwate mu bifo eby’enjawulo w’ayagala.
Kino twakikoze okumala ebbanga era okukkakkana nga mmazeemu akagoba.
Published on: Thursday, 1st November, 2007
|