|
Eno ewaffe bwebamala ozzisimba enyiriri, ate nebatandika okuyomba, olwo nomuddugavu nga bakulengeddde dda, bakuvumye, baagadde okulwana, bawagangana, enduulu walalalala. Bwezibeera nno ku bye mpapula zobugwiira, olulala nasanga amannyo gali ku pavement, nga bakubaganye bagekuddemu. Bawalampa ku mitwe gya bannabwe, police nejja nemiggo nekuba nnalumanya ne ssalumanya amagulu nemikono. Abakazi nebakaaba abamu. Ffe abatalina nnyo talent mu bigwo ngatudda wali ebbali, nga tulinda akakisa, ssebo tomanya!!!
Bwebaba eyo ewammwe bazisimbamu nebazibeeramu line ne ddembe, mwebaze Mukama. Ffe tuli ku walalala. Era okugenda gyomanyi enebeera line, okeera ku kkumi eze kiro, ate oyitira wa musawo wo nakuwa tranquilizer, notwalako ka double dose.
|