The Pros And Cons Of Flirtation 11 Months, 3 Weeks ago
How well do you know the art of flirting, and how good are you at it? We would also like to hear about your experiences and the lessons learnt, good or bad from showing affection for amusement, without serious intentions. Before we start being daring, skin baring, and pretending to be caring, what in your judgement should we take into account?
Re:The Pros And Cons Of Flirtation 11 Months, 3 Weeks ago
THAT THEY CAN ALL BACK FIRE EEEEEEEH NGOBUUZA BINGI OYAGAALA KUTUKOLA KI Naye kyemanyi nti teri kinyiiza nga kufuba nyo nga gwofubako alinga muzibe waliwo nomuntu okukutwaala omwooyo ngo muntu ali wala nakutukako nonoonya awali akagaanya otere odduke ngo funye ekyo kyotosubira nosabirira mukwano gwo akkubire akasimu kussaawa eyo akubikire abaafa edda osobole okwebulungula
Re:The Pros And Cons Of Flirtation 11 Months, 3 Weeks ago
Nze ebyo ebyokutemereza nokusokoola ennimi byannema! Era bwennabigezaako mu ndabirwamu nga nze nzenyini ssibyagala, kale nga nnasubira ntya omulala okubyagala. Ate era nteekwa kubeera in a very palyful mood ndyooke ntunulire omusajja eyetiribonga. Kubanga nkimanyi nti muzannyo. Ekibi abasajja oluusi bakola ekyo nga abazannya ate nebaliramu sumbuusa za bandi mu bya ddala. Waliwo nabantu abamu, bwooba oyagala okuzannya, bolina okwegendereza, naddala abato, ablowooza nti buli abatunulira abeera abagala nnyo. Oyagala kusaagako ssi ku lumya bantu. Ekyo ba flirters bateekwa okukyegendereza.
Re:The Pros And Cons Of Flirtation 11 Months, 3 Weeks ago
Teri kikuba busungu nga muntu gwotolinaamu interest kutandika kwemoola nakusindikira bu massage. Twaali ku kabaga olumu omukyaala omu natunyumiza nti baba bagenze mukafunda okwewaamu kamu-kamu nga wabaawo ekiwala ekyaali kiwereza nga kisiima omuvubuka omu gwebaali naye, kati omuvubuka yagezangako okutunula eri obutabifaako nga nekiwala nakyo kyongera kusaba attention yamuvubuka
, ekyaletera omuvubuka okwongera mu speed gyeyali anyweramu, buli lweyakitunuliranga ekiwala nga yesooza nti simanyi kilowooza ndi kulevel yaakyo nobubi kibi .
Re:The Pros And Cons Of Flirtation 11 Months, 3 Weeks ago
Ekibi ekirala ekiri ku flirt, nti bwooba olina munno, musajja oba mukaziwo, toyinza kutandika kuttira balala ku maaso oba kwekanda kabina nomutegeeza nti mbasaagisa busagiisa. Era eri ewaffe obwo babubala nga bwenzi. Oyinza okwekolera erinnya ebbi bwootyo, nabebigambo nga bakulengedde dda. Kati lumu oliba olabye gwoyagalira ddala, nga bamuteegeza nga bwooli omuliro. Flirting zirimu obuzibu bwokwonoona ebya ddala.