Re:EEEE=Enkwaana Ennungi Entuufu Etelemwa 11 Months, 3 Weeks ago
Meli you seem to come on so strong so you need a mellow hunk .
Kati ogenda ku party yabanno nga wenna otonnye mmooli osooka newewangamu bu tonto bubiri nooba ngo sobola okutukirira olulenzi oluba lutuddeko ewalako nga lwesudde, olubuuza hi naye tolinda kukuddamu weyongerayo ngotambula eri entambula yaffe gyomanyi ngokubye kali ka open toe 3inc high heel olulenzi olugogofu lukutunulira naye amaaso tegakutuuka bulungi kuba lulina enthonyi lumweenya nelutunula wansi , nelwefuula olunywaamu songa akagiraasi kakaze dda.
oluyitako awo okumpi ngosooba akawoowo ko oleka kalukola number naye gwe otambula bikyeebyo , songa kyokola okimanyi.
Bakubako akayimba akasenekerevu onyenyaamu katono , otambuza amaaso naye ngokigenderera okulubuusa amaaso, olwongera okuluteeka mubuzibu kuba olina kewenyenyaamu akatono ka skirt ko nekabikukkako katono wali awali ka slit, naye gwe wefuula atabitegeera byokola, ekivaamu olulenzi lwevaamu lukusemberera naye era nga telwekakasa bulungi kati awo olumwenyera era ekigambo ekisooka okukuvaamu kigamba nti" owange mbadde nsaba kukwagalako, olabye otya kinasoboka? , olulenzi lukwaata akagiraasi nga waiter ayitawo lukufulumyaako wabweeru mbu munyumyemu eteri anyumya