MISTAKEN IDENTITY/OKUNYOOMA 11 Months, 3 Weeks ago
Simanyi bwenyinza kukiyita mu Luganda, mmaze gakiyita okunyooma. Lumu nayambalako kabulungi ngende ku kabaga bannange benkola nabo nga bampise. Bannange bano babeera mu kifo kya bagagga. Kati ntuuka ku nju nkuba akadde. Mba nkyalinze newajja nomugenyi omulala. Kyaava ambuuza; ggwe muwala abayamba ku mirimu gyomunju?
Kyembuza, ggwe wali okituuseko nebakuyisamu agempuuta mu ngeri eyo? Nti olwokuba oli muddugavu oteekwa ku beera mu bakozi, namubulamu, nokutegeera ebya wansi?
Re:MISTAKEN IDENTITY/OKUNYOOMA 11 Months, 3 Weeks ago
Omanyi nnali mmusinze okwambala. Kubanga nnangenda mmanyi nti wayinza okubaayo olumanyiiro. Ate bbo obamanyi bwebamanyi okugendera mu bi jeans ku party. Nange nnamugamba, nti; Eehe, kale laba ate bwembadde nange ndowooza nti yye ggwe housegirl.
Re:MISTAKEN IDENTITY/OKUNYOOMA 11 Months, 3 Weeks ago
Nalabako mu USA ekirango nga kikubiriza abantu obutanyomereza olwa langi. Baalaga naggagga omu omuddugavu nga ali ku mulyango gwa woteri, kati newabawo omuzungu eyajja nasiba emmotika ye, nga yabululijjo, ekisumuluzo nakiwa baano abatwaala emmotoka okuzitereka. Nayita omuddugavu oli amwetikkire emigugu, naye abeera akyamugamba ataddeko nokuboggola, nebaleetera omuddugavu ferrari ye, naawa tip, nalinnya mu mmotoka ye nagenda.
Re:MISTAKEN IDENTITY/OKUNYOOMA 11 Months, 3 Weeks ago
Ekituffu kyo kili nti okunyomwebwa okwo tekugya kugwayo,nze byensiba ngamba wano abeeru banno,bayikiliza nyoo kuba bamanyi nti amateeka gabakuma.Naye nze nkolela ku an eye for an eye and one good turn deserves another.Bwakukona nawe mukone.Lumu waliyo eyali anywela sigala wenali kyokka nga omuka agufuwa atunuza gyendi,namusimba amasso emilundi ebili nagenda okulaba nga yetegula.Muli nengamba omponye.
Re:MISTAKEN IDENTITY/OKUNYOOMA 11 Months, 3 Weeks ago
JEENA-JULIA KATI I KNOW WHO YOU ARE I FOUND YOUR FOTO WITH YOUR FREIND JASMIN--BLUE MOON BAR IN VÄSTERÅS---ALSO YOU WHERE IN OUR LOCAL NEWSPAPER--VÄSTERÅSARE--BOTH OF YOU ARE TOO BEAUTIFUL----ADVICE ME IF IAM WRONG WITH MY DISCOVERLY----WISH YOU A MERRY X-MAS.