Kalibattanya oba emboozi zikuweddeko wakiri tubulire kyowulira ngooli ne Tonto oba ddala oli mumukwaano oba mukwanogwo bukwanogwo nzijukira yangamba nti mulekese nti ebyomunyumba tebitottolwa naye kati taliiwo so spill it nga tanadda.
Nze ndowooza okwagala omuntu kwekuba nti omulowoozaako , omwetaaga mube naye buli kaseera ,naddala bwemuba ngomukwaano gukyaali muto you can't get enough of each other naye bwemugenda mumanyirigana wajjawo kiri ekigamba nti ate oba akimanyi nti mwagala nolweekyo tewabaawo kufuba nnyo .
Luli bwemuba mwakagalana Buli omu afuba obutelabira kugwa munne mukafuba oba nokuwanyisiganya ku tulusu buli lwe muba mwawukana naye bwemugenda mumanyirigana nga nokubuzanganya otandise kulagiriza kulagirize, nga nokusibula nakwo kwotadde .Naye kiba kirungi okukuuma akaliro komukwaano nga kaaka nebwemuba muludde nga muli mwenna . Akamuli oba akawoowo eri abakyaala oba ka special dinner , oba nokolera munno ekintu kyatakulinda kkola oba kyatakulagidde katugambe okumwoleza emmotoka ye just once bwooba tolina idea sooka obuuze oyige oleme genda giwereba buwerebi ekyandibadde kivaamu essanyu ate bamala bakukkakkanako bakuvuma nomaliriza ngo giyiridde ebyoovu nogiwereba nebitoomi. so choose your surprise carefully
