|
Waliwo gwobeera waleka oluvanyuma nokitegeera nti yali muntu mulungi. Ngomanyi nti ono amulina kati alina zaabu, ate eyandisobodde okuba owuwo. Sirina mwooyo mubi, ate ssagala kuddira musango gwange ngusinzise abalala. Naye awo nkimanyi emmeeme ennekaakamu, naddala nga nze sifunangayo kituufu, oba nga ndi mu kumala gakwatira awo. Naye waliwo gwoleeka nga ogamba nti alonda alonde atwaale. Oyo gwomusanga naye omusaasira, nogamba mukazi wattu nga oli ku mbaga okuli ne bidaala! Maama wange yagamba nga nti, omuntu yonna gyagenda mpisa ze zasooka mu sanduuko. Nebwebesesa batya, mbeera mukakafu nti enduulu tejja kulwa.
|