Byamusala....gwe kyali kikutuseko? 11 Months, 3 Weeks ago
SSEKUKKULU ya 2006 yandekera effumu mu mutima. Nze Andrew Kabanda nga mbeera Nkoowe, Wakiso. Twategeragana n’omuwala gwe nnali mmaze ebbanga nga mmusaba omukwano n’akkiriza nti ku Ssekukkulu lw’agenda okumbegera ku mukwano.
Ku lwa December 24 siikulimbe nti nnakomba ku mpeke y’otulo anti nga nkuba obufaananyi nga bwe mbwolezaawo! Ssaawa 8:00 ez’emisana zansanga ndi mutaka mu kifo kye twakkiriziganyaako okusisinkaganiramu.
Nnali nneetegese bulungi mu nsawo anti nga mmanyi nti okuva awo twali baakusiibira mu loogi twemale eggoga.
Omuwala eyali ow’okutuuka ku ssaawa 10 ez’olweggulo zaawera nga simulabako. Nnalowooza nti oba jjaamu y’amukutte naye nnalindira ddala okutuuka ku 11:00 ng’omuwala simulabako.
Bwe nnakuba essimu ye nga teriiko kwe kugenda ewaabwe. Be nnasangayo bang’amba nti waliwo omusajja eyali amututte mu mmotoka naye nga nabo tebamanyidde ddala w’agenze.
Okuva awo nnadda waka ne nneebikka, wabula eyo mu kiro nnalabiraawo ng’amaziga gannyunguka!
OBA BAMBI KATI MULI DALA YALI AKABILA KI?BUSUNGU OBA KUSUBWA KUSAKATA?
Re:Byamusala....gwe kyali kikutuseko? 11 Months, 2 Weeks ago
Ndowoza engeli gyeyakuba nga bu pikya nga bwabwolezawo,kati bweyebika mukitanda nayongela okuba obulala ndowoza mutumbi eyo nalota nga GULIMUNDA amukyalide,agenda okusisimuka nga Gulimunda ali awo yena yesimbye kyokka nga awokutula talabawo,ndowoza bweyetegeleza enyo mukwano gwe ono Guli,kyokka nga mukafananyi keyafulumiza amulaba yabwegedde dda bambi musajja wattu negamuyunguka.Guli nga akaba gagge ate nga ne Andrew naye akaba gagge.Ensi eno!!!