Re:Abakazi..... sente,nebweziba mu toyi bazilonda. 10 Months, 2 Weeks ago
YESU waakisa olw’okunnyamba n’anzigya ku luguudo kwe nnakubiranga obwamalaaya ne nfuna n’omusajja agenda okunkuba empeta.
Nze Gloria Nannyonga 19, nzaalibwa Masaka ku Ssaza. Mu 2004, Sseng’ange yantumya ne nzija mu Kampala. Nnatandika okukola emirimu egitali gimu ne ssenga ono era ne nfuuka mumanyifu nnyo mu kabuga k’e Nateete.
Mu 2005, nnafuna emikwano mingi egy’abawala era gino gye gyampa amagezi ne nziruka ku ssenga ne ntandika okusula wemba nsanze.
Nnatandika okugenda ku bbaala ya Sax Pub e Nakasero era eno gye nnayigira n’okuzannya ppuulu. Wano abasajja we bansanganga ne bantwala ne mbaguza omukwano.
Olw’okuba nnali muwala muto ate nga nnyirira,nnafuuka wa ttunzi era olunaku olumu nnayinzanga okuguza abasajja abasukka mu basatu!
Omusajja okuntwala mu loogi emisana ng’ansasula 10,000/- sso ng’okunsuza ekiro nga bw’atampa 15,000/- tanzigyawo.
Ssente nnazifunanga wabula nga engeri gye zitaliimu mukisa, ebintu bye nnazigulangamu nga babibba.
Mu 2006 nnadda e Kansanga ne nfuna munnange omu gwe nnasulanga naye.
Eno emmotoka z’omusumba Jackson Ssennyonga gye zaatusanganga ne zitutwala okusaba mu Kkanisa ye eya Christian Life Church e Bwaise buli Ssande.
Eno gye nnalokokera. Kati nnafuna omusajja era tuteekateeka kugattibwa mu kkanisa ya Yesu Akwagala Worship Centre e Wakiso kubanga gye tubeera.