Lubanga Kyambadde ng’ali ne bakyala be, Namagembe omukulu (ku ddyo) ne Namawejje nga bali n’abaana baabwe
Bya Musasi Waffe
SISINKANA Aziza Namagembe, 23, ne muto we Halida Namawejje, 19, bakyala ba ssemaka w’e Lugazi ku Luyanzi, Lubanga Kyambadde (amanyiddwa nga jjajja Kulaisi) nga bakunnyonnyola ekyama ekiri mu booluganda okufumba ew’omusajja omu.
NAMAGEMBE: “Mu maka ga ssebo mwe tuzaalwa tukuze tulaba bannyaffe bana nga bafumba mu ddya limu nga baagalana okufa, bwe kityo nange nkuze mu mutima sirina buggya kufumba na muggya wange.
Nafumbirwa Kyambadde emyaka ena emabega, nga bato bange bajja ne bankyalira, okusooka twali baavu ne tukola mpola okutuuka lwe tugaggawadde. Nze ng’Omusiraamu nakimanyirawo nti omusajja kimukakatako okuwasa omukyala omulala, kya mukisa nagenda okulaba ng’anzizizzaako muto wange Namawejje bwe tuva mu nda emu.
Nakisanyukira nnyo olw’ensonga nti kizibu nnyo abooluganda omu okukola munne ekibi gamba okulogang’ana, nga ne bwemba nfudde abaana bange basigala beegiriisa mu maka ga kitaabwe kuba nnyaabwe tayinza kukkiriza mukazi mulala kubatulugunya ng’alaba.
Bbaffe kirabika akakerenda k’okuwasa abooluganda kaava ku lubaya anti yannyumizaako nti kitaawe yalina abakyala musanvu mu nju emu nga babiri ku bano baaluganda.
NAMAWEJJE : Okufumbirwa mu ddya lya mukulu wange, namala kulaba mbeera za baaba. Okuva obuto nga talina kibi kyonna ky’ayagaliza munne, muntu mukkakkamu omukwata mpola era ayagala ennyo okukumaakuma banne ne mmanya nti ne bwe tufumba mu maka agamu tayinza kunkola kibi.
Namagembe mmuyita baaba era sikirina mu mutima nti muggya wange kubanga omusajja ne bw’annyiiza mmubuulirako n’ampa ku magezi ng’enda okulaba ng’embeera ezze mu nteeko.
Ye KYAMBADDE agamba, “Okuva obuto nalina ekirowoozo nti Allah bw’alimpa omukisa ne nfuna omukazi ow’omukisa sigenda kuddayo kuwasa mulala. Nawasa Namagembe emyaka ena emabega kati mmulinamu abaana babiri. Twali baavu ne tubeera babiri ne tugaggawala ekiraga emikisa gye.
Omukyala emirimu gyamuyitirirako ate nga ssaagala akoowe kwe kusalawo mpase omulala era nasibira mu luggya lwabwe.
Bwe nakwana muto we nga naye alina emikisa kwe kumwebuuzaako n’angamba nti talina mutawaana na kufumba na muto we.
Nakiraba nga kye kisaanye si kulwa nga nfuna ow’ebisiraani ne twavuwala.
Ekyewuunyisa bonna baasumulukuse lumu nga mukyala mukulu akubyewo eddenzi ate omuto eggwala.
Kingo nkuwerezza oluyimaba olugamba nti okunsunasuna kuba ekyo kyennyini kyokola kati bwenteesa wano naawe olina okugenda kumutwe ogugamba nti okufumba nebassajja banno.
Wano omanyi wengwa ekyange, kyange nzekka sigabana, siwola ,saazika ate siriiiko nti guno mukwaano oba luganda atasobola kumatira kyennina nga yeyongerayo.
Kati Kingo kino ekyokunona kikolebwa kumukyaala yekka oba nekubaami? tekitaliza kuba nga naawe bwozuula ekyaama kumukyaala mukulu nonona mutoowe naye ayinza okusalawo naye yeyongeze mutoowo kati awo ndowooza tewaba mutawaana bwakugamba nti nandizze naye muto wo yasoose okunetagamu akasaawa nakomawo ngamaze okumubudabuda ye opapaki? .Ku gun point nyinza kulondawo gwesirinaako luganda naye era nga bwetugambye ku gun point
Generally I operate on the following principles, kyemba sagala nkireka abalala nebatwaala. Sagalira ddala kugabana intimacy, directly or indirectly nabantu besimanyi. Naye bwemba nnina akalungi kendya ate nga munnange gwenjagala talina, njagala nemmuwako, kubanga abayita ababiri. Mu bukulu buno ekyo nandiyagadde okukiteeka ne ku mwami wange, lwaki nga muganda wange abeera talina nga nnina nze omuntu omulungi ayinza oku tu accomodating-a ffembi? Ekibi nze nyinza okutegeragana ne muganda wange, ate enkya neyekobana nabaana be nebantamya nebannejjusisa nekyennakola. Ate yye ayinza nokubeera obulungi naawe abaana oba abazzukulu be nebakulaga essomo. Naye ebyo byonna biri academic. Mukama waffe yagamba, nti, ONE MAN ONE WOMAN. Nange awo wennalabira.