DDIINI wa Lutikko mu Bulabirizi bw’e Mukono yeegasse ku muyimbi Dr. Hilderman okuvumirira ebitanda ebinene ebya ‘Mazongoto’ nti bitabudde nnyo abafumbo.
“Buli omu yeebaka gye kikoma wakati ne balekerawo sitaani. Amaka mangi gafudde lwa ‘mazongoto’ zino” bwatyo, Rev. Samuel Steven Kazimba bwe yagambye.
N’agattako nti kino kyongedde abafumbo abasinga okubeera n’embaliga mu maka gaabwe ng’awaka batuusa mukolo.
N’agamba nti abafumbo abamu bali mu maka olw’okukuuma ekitiibwa mu bantu kyokka nga tebakyategeeragana.
Yalabudde abasajja bakomye okuyingiranga amatumbi ky’agambye nti kiwadde abapakasi okwegazaanyiza mu maka gaabwe kubanga obudde obusinga be babeera ne bakyala baabwe.
Okwogera bino yabadde mu kugatta Jacent Nakyanzi ne Simon Bbaale Mayanja mu Lutikko e Mukono.
Yakubirizza abafumbo okusigaza omukwano gwabwe gwe baalina mu ntandikwa nga baakalabagana gubayambe okuwangaaza amaka gaabwe n’okugeeyagaliramu nga bassa kimu.