CONNECT UGANDA DISCUSSION BOARD
Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?
ANI ATAYAGALA GUULU?? (1 viewing) (1) Guest
Go to bottom Post Reply Favoured: 0
TOPIC: ANI ATAYAGALA GUULU??
#7923
robster (User)
Expert Forum Member
Posts: 393
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
ANI ATAYAGALA GUULU?? 11 Months, 2 Weeks ago  
Wasa abakazi bangi otuuke mu Ggulu’



Warren Merril ne bakazi be mu yunifoomu nga balindiridde okubawa ebiragiro by’afuna okuva ewa Katonda. Asooka ku ddyo ye Carolyn.



Bya John Bosco Kiyingi



EDDIINI yiino emaze emyaka egisoba mu 178 kyokka ng’amateeka abagoberezi baayo kwe batambulira ga ngeri nga siiti. The Church of Jesus Christ of Letter Day Saints, esimbye amakanda e Colorado mu ssaza ly’e Arizona mu Amerika, yatandikibwawo Joseph Smith mu 1830.



Omusingi gwayo omukulu ku basajja kuwasa bakazi bangi batuuke mangu mu Ggulu ate abakazi kufukumula baana, obutagaana musajja gwe bamulondedde n’okukimanya nti eddoboozi ly’omusajja ly’erya Katonda!



Abagoberezi tebakkirizibwa kunywa ssukaali, abawala tebambala sikaati nnyimpi, tebalaba ttivi, leediyo wadde okukozesa yintaneti. Okuba n’essimu, abaana okwambala engoye ezirimu ebimuli n’abakazi okukola oba okuwuliriza ennyimba kivve.



Bw’oseka mwoyo mutuukirivu ayita mu nseko ezo n’akuvaamu. Okuvuba, okwetaba ku bubaga bw’amazaalibwa, okujjukira abafu n’amazina kibi.



Abazadde tebakkirizibwa kugulira baana butabo bwa ngero n’emboozi ezigaziya obwongo bwabwe.



Guno gwe musingi omwana kw’azimbirwa obulamu bwe bwonna okuva lw’atandika okutegeera.



Afunye obulwadde obwamaanyi, ekyo kiba kobonerezo okuva ewa Katonda alina okulekebwa okutuuka lw’afa. Abawala tebakkirizibwa kusoma kintu kirala kyonna okuggyako bayibuli yaabwe okumala essaawa bbiri buli lunaku ate olufuna ebittuttwa ku kifuba nga bafumbizibwa. Bannamwandu bonna baba ba musika ne mikwano gye.



Abagoberezi tebalina kuba na nkolagana na muntu mulala yenna ate bwe kituuka ku Muddugavu gujabagira kubanga kabona waabwe Warren Steed Jeffs bino bye yakuutira abagoberezi be (bonna Bazungu):



Abaddugavu sitaani mw’ayita okujja ku nsi. Obuddugavu kikolimo era Abaddugavu balinga mizimu basobola okubula ne bakunta ng’empewo. Abaddugavu be mulaba nga baganzizza Abazungu bali ku lukwe lwa kuyinginza sitaani mu beeru babalemese okuyingira mu Ggulu. Buli awasa ng’oyo gw’awasizza alina muganda we eyawasa ku Muddugavu oyo akolimiddwa.



Omukazi Carolyn Jessop, 35, eyadduse mu nkambi y’enzikiriza eno e Corolado, ye yalombojjedde ab’olupapula lw’amawulire The Sun olufulumira mu Bungereza embeera gy’abaddemu. Bba wa Carolyn, Warren Merril poliisi mu Amerika emuyigga avunaanibwe obwenzi, okwegatta n’omuwala omuto, okutulugunya abaana n’emisango emirala. Carolyn alulojja bwati:



“Bwe naweza emyaka 14 bazadde bange banfunira omusajja n’ampasa nga bw’eri enkola mu nzikiriza yaffe. Banfunira Warren Merril ng’alina emyaka 50 era namusanga alina abakazi abalala bataano. Ffenna bakazi be nga twambala yunifoomu emu buli lunaku gye yalondanga n’atugamba nti Katonda y’aba amulagidde. Wadde yali tatulaga mukwano, nze yanzaalamu abaana munaana ate baggya bange n’abakunkulamulamu 54. Okumusinza kamu ku bulombolombo era yatugamba nti ekyo kiragiro ekyamuweebwa okuva ewa Katonda era okubuusabuusa ebiragiro bye, nga kuba buteeyagaliza naye obutamwagaliza Ggulu.



Tubadde tulina okusoma bayibuli essaawa bbiri buli lunaku ate nga tetuteekeddwa kwogera na muntu mulala oyo aba sitaani.



Bino mbadde mbigondera nga sirina kye mpakanya okutuuka mutabani wange Harrison bwe yalwala kookolo kitaawe n’antegeeza nti tumuleke afe ekyo kibonerezo ekivudde ewa Katonda ng’okumujjanjaba kuba kwewaggula ku biragiro bye. Nakigaana n’atandika okunkuba.



Nasalawo ntoloke era ne nkikola. Twekweka baze n’anteekako abasajja batukwate batuzzeeyo mu nkambi yaabwe. Ensi bwe yatuddugalidde kwe kugenda ku poliisi n’aggulwako omusango era muganda we Warren Steed Jeffs nga y’akulira enzikiriza eno ye yakwatibwa kubanga yali yeetaba butereevu mu bikolwa bya baze era y’alina obuyinza yekka okugatta abafumbo nga tafuddeeyo oba baaluganda, bawala bato oba omwana awasizza nnyina! Wadde ye baze tannakwatibwa, mpulira emirembe kubanga mukulu we yasibiddwa mayisa.”



Warren obukulu yabusikira ku kitaawe Rulon ne bannyina abawera 70 nabo n’abeddiza mu 2002. Yabagamba bwati, “Bannamwandu mwenna mufuuse bakazi bange buli omu alina okukiika mu kisenge kyange.”









KYOBA OKOLA WEWASIZE KYALO NGA PASS OGIFUNYE EKUTUUSA EWAKATONDA!!!
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
      Topics Author Date
    thread link
ANI ATAYAGALA GUULU??
robster 2008/01/27 15:05
Go to top Post Reply
get the latest posts directly to your desktop
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
You are here: Radio
Advertisement
Advertisement