Re:Would you date a married person? 9 Months, 2 Weeks ago
Naye banange Meli obadde olina okumenya buli kimu? kati nze nyongerezaako nti nanjogerera bwati mu Luganda nga toyongeddeeko maaso nti nakutunulira nakutabangula omwooyo neddobozi nelikkubisa omutima two twenty tebereza nga tanakukwatako kati namala akola ensobi nakkubya amasanyalaze nge ntunnunsi aziretedde obuzibu.... Ok kati nzijukiza kazzi tubadde twogera ku ani ? Nze Bible ngigyeeyo nessala ntandise " sinagamba kubya kwawula nolumu lwokka?..........." ate tebereza teri nakulaba oba wayongobedde dda amanyi agalwaana ogajja wa ? naye ekyokusula ngokukunadde ne ekyokukyaawa ngomuddira kyekiba ekibonerezo kati wano we mmalira nengamba nti toloza ku kyotosobola kuwanda kuba emimiro girina engeri gyegisikamu ebintu newesanga nga wamize dda ne wesansabaga nti biki bino byendidde nga kiri too late , always the forbidden is too tempting I'm still saying No Meli kituufu wano Mukama aba yetaaga kuyambanga its too much
Re:Would you date a married person? 9 Months, 2 Weeks ago
Shaggy wrote:
QUOTE: Bannange ekintu kino mukitwala too serious kubanga oli okuganza omufumbo kiba kwesanyusamu naddala bwoba omwagadde okimanyi. Oli aba akimanyi nti omukwano guba tegulina gyegulaga nti bafuna 'just fun' after all tewali kigwawo as long as gwo cheatinga tategedde.
Akukwanye nawe omusimye,lwaki ate odda mukulumya omutima gwo nga weganya kuba mufumbo?Mpoozi nga sisimye,wanno mba nina kumugeza kumuntu nga akola kilo kuba ela mba simufuna buli wemwagalidde...watya nga samanyilawo kuntandikwa nti mufumbo tugeze nga yangamba akola kilo.omukwano gwaffe negukula then nentegela nti yanimba yali mufumbo.Olwo nga amangu ago nekyusa mbu mukyaye..feelings tezimala gaffa just by a click of a finger kuba ela zitwala time okuzimbibwa relationship nebawo.Ela wanno musonyiwa busonyiyi olwo kunimba nga tweyongelayo anti ela nomukwano guba gwakuziba dda amasso nga tolaba ela nga nokuwunyiliza bwotyo.
Re:Would you date a married person? 9 Months, 2 Weeks ago
JJ mu kusiima okwo mwemuli ssamuli anakwookya, gwebayita Okalya dda kadda dda. Naye kizibu kya kusalawo, mpozzi okola kannemu kannabbiri. Oba ofuna akamuli nokakutula to love him, to love him not. Naye bambi byakulekangawo ebyo nze bannange aahaaa! Feelings JJ tezifa bukadde, oluusi olina kutuga ntuge, bweziba tezifuna. Naye okubeera gyooli wekka, nolowooza nti ekkalamu yo ewandiika ku lupapula lulala, nti ebbakuli yo balala abagilongoosa, nga eggali yo mulala agidiimula, ettooke lyo mulala aliwaata, nga connect radio yo mulala agiwererezako obubaka, kintu kizibu ddala. Kubanga chances ziri nti oli omufumbo takumanya, naye ggwe in many cases oba omumanyi. Bwotofuna mukwano, nenkera obivaamu, yye bwooba tofunye mukwano lwaki tonoonya kubo busa olyoke wesse mu wuuyo twamulabye?
Re:Would you date a married person? 9 Months, 2 Weeks ago
JeenaJulia bwaaba akukwaanye nakulimba nti simufumbo buli kimu kyonna nowaayo ntegeeza omutima gwo kabe kasinge nomubiri, oluvanyuma nakakutema oba nokizuura nti yakulimba oba yakukisa sikulimba ebintu bikyuuka oyinza obutanasula mukwaano just like that, naye era kali akabadde kamwesunga akakuleeta akatuuyo ngo mulowozezzaako bulowooza kakendeera, wano waba wasigadde kukola buli kimu kutuusa mukolo nga bwogenda ozikiza omukwaano empola mpola era bwooba omugezi webuuza lwaaki totunalako wakwetolodde kulaba oba naawe oba onofunayo owuwo yekka atajjudde fingerprints all over him.
Ekitali ekyo okulemerako ngomaze okutegeera woyimiridde oba nga gguddewo olutalo ne maama wa baana nti tukyange omwaami tulabe anakutula deal yanawangula omutima gwe era atule naye yekka ntende, Otandika okumuloworeza nti osanga eyo gyotoba eriyo abalala abatali maama wabaana abamubudabuda. Kyoova olaba nti webigweera nga baami babalisizza nebitayogerekaka nga buli omu ayagala kusika nga zza wuwe ate teri kikoyesa nga muntu kkufuula property ye lwoyambaddeko obulungi nti olaga wa onodda ddi, era lwaaki, essimu lwaaki tewagikutte lwaaki ogigyyako ? ebibadde ebyo bulungi omugezi kwekugamba nti ndowooza kangira mberako nzekka ngolaba kyewayingirira simukwaano naye olumbe lwekirago
Kwekugamba nti nga bwoyitako eyo mu lumbe lwekirago, bwofuna ekikyo ekyamazima, otegeera omuwendo gwaakyo nokikwaata nga ekyatika, nomanya nti owereddwa omukisa bwekiba ekituufu.