Wali okozeko ku appoi nga bwetwaziyitanga eka, munno nakulinzisa ate natajja? Ekyo nno bakyala bebasinga okukikola. Naye bwebaba tebakikukolangako tunyumize ekya munno, oba ngeri ki ggwe gyokisubiramu okubeera nga ba ku standinz-e up.
Kulwange kyendowooza nti omuntu okkukola ekintu bwekiti okulagaanya natalabikako wabaawo oluusi ensonga ezitebereka naye omugezi naddala gino emirembe gyetulina amasimu kisingako omutegeeza nti nguddeko obuzibu okusinga munno okumukonkomaza nga kulinda.
Ezimu ku nsonga ezireeta abamu okwewala okutukiriza akalagaane kwekuba nti tebaagala oba tebalina nsimbi za kusaasaanya kino kisinga kuba ku baami, kuludda lwabakyaala oluusi oli aba amuliridde ebintu bye nga kimanyi nti essaawa yokkusasula etuuse nayagala agire nga gyongerayo kko, Ate olulala kiva kumuvubuka nga bamubbiddeko nti waliwo obukodyo obugenda okumukolwebwaako ngo muwala okujja ne mikwaano gye kati olwo omuvubuka asonyiwale kutandika kusaba muwala kweyongerayo .
Kati nabalala bongerezeeko nga bwetukyanoonya ensonga endala . Naye nze kulwange oli namala annindisa natampa nsonga erimu ggumba ,awo wennyini webigweera kuba egyo gyegimu ku mizannyo gyokwepena gyenassemba okuzannya ngankyaali mwana muto sigisobola bukulu