CONNECT UGANDA DISCUSSION BOARD
Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?
Re:LWAKI STANSLAS MUGWANYA YAWUMMULA-Sir Daudi Chw (1 viewing) (1) Guest
Go to bottom Post Reply Favoured: 0
TOPIC: Re:LWAKI STANSLAS MUGWANYA YAWUMMULA-Sir Daudi Chw
#3033
Phad (User)
Expert Forum Member
Posts: 360
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Gender: Male phazrecords
LWAKI STANSLAS MUGWANYA YAWUMMULA-Sir Daudi Chwa 1 Year, 3 Months ago  
Ssekabaka Daudi Chwa,KCMG,KBE,OSS,awandiika ekitabo kino, nga annyonyola ensonga ezavaako Omulamuzi wa Buganda omukulu Stanslas Mugwanya okulekulira (resign) emirimu gye.Nga Omuganda bw’agamba nti akaliro akatono k’okya ekyalo, ensonga ez’avaako okuwummula kwa Mugwanya zaali ntono nnyo.

Gwe omusomi, nga gwe mulundi ogusooka okusoma akatabo kano,era nga n’abalala abaakasoma edda bwe bakkiriziganya nange, Sekabaka Daudi Chwa yali musajja Mekete, eyali teyeerya ntama, kyokka ate era nga okusinga byonna, yali musajja mufuzi ow’amagezi, era omukwata mpola nga kino kyeyoleka lunye, engeri gyeyakwatamu ensonga ez’atuusa Stanslas Mugwanya okuwummula.

Ssabasajja atulaga okulungamya n’okutabaganya enjuyi ez’enjawulo, ate mu bwetowaze obw’ekitalo,ate era nga teyerabidde buvunaanyizibwa bwe nga Kabaka, omufuzi ow’okuntikko mu gwanga lye! Awo nze omusomi ne nsigala nga ngamba nti KALE SINGA N’ABAFUZI BAFFE AB’EMIREMBE GINO batwala eky’okulabirako kya Ssekabaka Chwa.

Tulaba engeri Ssabasajja gyeyakwatamu ensonga enkulu, ezaali ziriwo wakati w’abakulu abaamukuza(Regents, era nga baali ba Ministers ba Cabinet ye ekintu ekitaali kyangu n’akamu!

Nsaba okutegeeza omusomi nti bu byafaayo ebitonotono, Sekabaka Daudi Chwa yasikira Nnamulondo nga mwana muto wa mwaka gumu, oluvanyuma lwa kitaawe Ssekabaka Mwanga II okukisiza omukono mu buwanganguse mu bizinga by’eBusessere (Seychelles).Era enjole ye n’ekomezebwawo mu mwaka 1910.

Kinajjukirwa nti okwewangangusa kuno kwava ku kuwakanya obufuzi obw’amatwale, Ssekabaka Mwanga bweyayita obw’ekimpatiira, era baali beegatta ne mukulu munne(Mu bufuzi) Kabalega okuva mu bwa Ssabatara bwa Bunyoro Kitara nebakekeza ennyago, okuzoolekeza omuzungu. Ssekabaka Daudi Chwa bw’asikira Nnamulondo,w'atekebwawo abakuza, oba bayite Regents, (Omukatuliki 1, n’aba Kulisitaayo 2), bamuyambe okumufugirako, ate era ne Gavumenti ya ba Kyaala Kimpade, ba Magulu Meeru, oba bayite ba Kyeruppe ereme kulabika nti yalina ebigendererwa eby'ekyaama eby’okumalawo obwa Kabaka bwa Buganda.Era yaddizibwa Ddamula nga awezezza egy’obukulu 18.

Kakati wano nkusaba oneeegatteko nga tutunuulira obufuzi bwa Ssekabaka Daudi Chwa, mu kitabo kino:

LWAKI STANSLAS MUGWANYA YAWUMMULA
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
Aspire to inspire before you expire
  The administrator has disabled public write access.
#3037
Phad (User)
Expert Forum Member
Posts: 360
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Gender: Male phazrecords
Re:LWAKI STANSLAS MUGWANYA YAWUMMULA-Sir Daudi Chwa 1 Year, 3 Months ago  
LWAKI STANSLAS MUGWANYA YAWUMMULA

PART 1

Mu mwaka 1920 kawumpuli owekika ekikambwe yalumba ebibuga bya Buganda,Nakasero ne Mengo era buli eyali asobola okudduka ekibabu yadduka.Yye,Ssekabaka Daudi Chwa yaddukira Kyengera ewa Stanslus Mugwanya eyali Omulamuzi wa Buganda omukulu mu nsangi ezo.

Kyokka wayita mbale, nayo newalabikayo emmese ezafudde,awo neyeyongerayo, e Butoolo,mu mbuga ya Kaima ey’e Ssaza.

Abaami abakulu mu kiseera ekyo baalaba Ssekabaka Chwa ali mu kubundabunda,nga talina wawe wa nkalakkalira, kwekuleeta ekiteeso Kabaka akolerwe Olubiri olulwe,e Gangu,ku mailo z’Obwakabaka.

Kino ekiteeso kyayisibwa era ne kitwalibwa mu gavumenti y’abangereza eyali ekulirwa Provincial Commissioner(PC)wa Buganda, Capt.Tufnell e Ntebbe ( twali tukyali mu bufuge bwabwe)

Wano Tufnell yakkiriza ekiteeso,era wakati mu kukola, omwami eyali omuwanika w’egwanga,(oba muyite Finance minister)Mr.Y.Lule Musajalumbwa n’alonda omugabe we Lewo(Leonard) Omutongole Omukubampanga(District Defence) okuba n’obuvunanyizibwa okulaba nga emirimu gigenda kinnawadda.Kino kyali ku musingi gwa bulungi bwa nsi.Wabula omu ku b'awebwa omulimu guno,Andereya Mugerwa,yabireetamu olubalaato,era okukakkana nga kireese akatuubagiro,era nekireeta omubaka w’Omuwanika okumuyita annyonyole lwaki yajeemera Omuwanika okukola omulimu gw’okuzimbira Kabaka enju.

Ku lunaku lwe yayitibwa teyasobola kujja,wabula n’asaba agende enkeera,kyokka era n’amala sabiiti(weeks) biri nga talabiseeyo!

Oluvanyuma Omuwanika n’agenda ku lubiri okulaba emirimu,yasanga enju bweyagireka bw’ekyaali!Ky’ava abuuza omu ku bagabe,lwaki Mugerwa Omukubankwaata teyasobola kumaliriza mulimu gwamulaalikwa.Era naye yaddamu nti okuva lweyagenda,Mugerwa tadangayo ku mirimu.Wano omuwanika yasunguwala nnyo,era n’atuma Mugerwa aleetebwe abitebye.

Wano nno we waava entabwe,kuba Mugerwa bweyabuuzibwa yazaamu kkabyo,ekitandisaanidde kuddamu mukulu nga omuwanika!Era Omuwanika n’alagira abaaliwo bamukwate n’amaanyi wabula Mugerwa n’asalawo okwesimatula adduke,ko omuwanika nti ogunywanga neguteeka,nebamusimbako kakokola tondeka nnyuma,okukakkana nga akwatiddwa,era Omuwanika kyeyava amuwewenyula fimbo,ezasigalawo zakwata ttaka!Mugerwa agamba mu mpoza ye nti yakubwa embooko nga 40,zeyasobola okubalako, wabula nga alowooza nti zaasukkiramu ddala,kyokka Omuwanika agamba nti zaali 12 zokka!

Bwebukya kumakya nga Mugerwa ayolekera embuga,eyali ekulirwa Omulamuzi omukulu (oba muyite Minister of Justice)

Stanslas Mugwanya,era n’awawabira Omuwanika olw’okumukuba.

Bw’atyo Omulamuzi nga 27 Sept 1920 yawandiika olupapula oluyita Mugerwa(court summons) ajje abitebye.

Mugerwa bw’afuna ebbaluwa, yaddamu nti “Sebo ebbaluwa ngifunye nga mpitibwa nzije nga 27 Sept 1920 olw’okuwawabirwa Andereya Mugerwa,wabula ebbaluwa lwetuse era lwempitiddwa.Kale nja kujja enkya”. Nze YLM Musajjalumbwa., Omuwanika

Mukiseera kye kimu,Omuwanika n’awandiikira Kabaka nti Sebo mpaabidwa omusango gw’okukuba omukubankwata,naye ssebo ndabye nga omusango gwa byabufuzi,n’olwekyo tegusaana kuwulirwa eyo mu Gombolola, wabula gusaana kuwulirwa H.H Kabaka.N’olwekyo omuwaabi yandisaanye atwale ensonga ze eri ggwe Sabasajja.

Eno copy yawerezebwako n’omulamuzi.

Kati Omulamuzi naye n’awandiikira Omuwanika nti ....“sebo ebaluwa ngifunye mw’ogambira nti Mugerwa asaanye atwale ensonga ze ewa Ssabasajja.Kino kikyaamu olwensonga zino:

-Mu baluwa otegezeza nti omusango gwa bufuzi,era omwami wamukuba lwa bufuzi, wabula ekibuuzo,wasooka kumuwozesa olyoke omukube?

-Bw’oba oliko ky’ojulira ne Kabaka,wasooka kufuna kulagirwa okuva ewa Ssabasajja nti omukube?

-Bwe ndabye nga tewali nsonga ntuufu eggyisa musango mu Gombolola,kyenvudde nkuwandiikira nga nkusaba otukirize

obweyamo ojje nga bwewawandiise mu kabaluwa akasoose nti ojja enkya kumakya wano mu kooti y’egombolola.

Bw’otajje,kijja kwelarikiriza obuganda, kuba Gombolola zatekebwawo Ssabasajja okugonjoola ensonga nga zino awatali kuvuvungwa kwonna.”

Kati Omuwanika bw’afuna ebaluwa eno,n’awandiika , n’agamba nti kale nzikirizza okujja nga bw’osabye enkya esawa biri.

Wabula nsaba nti bwemba mpoza,saagala Stanslas Mugwanya abeere mu ntebe ya Bulamuzi,olw’ensonga nti tulina obutatabagana naye mu nsonga nyingi, era tajja kunsalira musango mu bwenkanya.

Awo Omulamuzi bw’afuna eno,kyeyava amuddamu nti ....”sebo nfunye ebaluwa yo eyokusatu olwa leero,27 Sept 1920,era ndowooza ebaluwa esobye! Wandibadde ebbaluwa owandiikira Kabaka nze nenfunako copy.Kati sebo Omulamuzi ayinza atya okwejjulula ku Bulamuzi? Kino eky’obutakkaanya kizibu okutegeera,okujjako nga olina ensonga enkulu gy’oleeta.Mu kiti kyange nga omulamuzi,ndiwo kuwulira buli nsonga ya muntu gy’aba aleese.

Wabula sebo ky’osabye kirimu obuzibu kubanga abantu abakolwako obya mbyoone banalindirira batya okutuusa lwendiva ku Bulamuzi balyooke baleete ensonga zabwe okugonjoolwa...........Lindirira Part 2.
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
Aspire to inspire before you expire
  The administrator has disabled public write access.
#3068
Bandi (User)
Junior Forum Member
Posts: 188
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:LWAKI STANSLAS MUGWANYA YAWUMMULA-Sir Daudi Chwa 1 Year, 3 Months ago  
Very interesting Phad! This kind of thing takes our discussion to a high cultural level. 'Can't wait to read the second part. Thanks.
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#3095
Phad (User)
Expert Forum Member
Posts: 360
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Gender: Male phazrecords
Re:LWAKI STANSLAS MUGWANYA YAWUMMULA-Sir Daudi Chwa 1 Year, 3 Months ago  
LWAKI STANSLAS MUGWANYA YAWUMMULA

Part 2

Kati wano ggwe asoma otegeera nti olutalo lw’ebigambo wakati w’abakungu abasinga obukulu mu Gavumenti lwali lumaze okulinnya enkandaggo,ate mu naku biri zokka!

Jukira nti okuwaanyisiganya kuno kwonna Ssabasajja Kabaka yawerezebwanga copy.

Era mu nkukakasa ntiakatuubagiro nga bw'okalabye ne Sekabaka bweyali akalabye.Kwe kuwandiikira omuwanika amulabule aleme kujeemera kooti na Mulamuzi.Yagenda mu maaso n’amuwabula nti ebyo eby’okugaya kooti byali bisobye,mu kunnyonyola yamutegeeza nti emirimu gy’abaami bano gyali mirimu gya Kabaka yenyini,era nga Omulamuzi alamula mu linya lya Kabaka.agattako nti newankubadde yye(Kabaka)yali asobola okugenda mu Gombolola okulamulayo emisango,wabula emisango egilamulwa Kabaka gy’egyo egigwa mu kiti kyempoza y’ebika,n’empaka z’ettaka.Yamaliriza alabula Omuwanika agende awoze omusango gw’okukuba Mugerwa,oba ssi kyo,Gombolola ejja kumuvunaana ogw’okugaya kooti,ate nga kyali kivve okuwulirwa ku muntu omukulu nga Omuwanika.

Wabula era yamaliriza agamba nti newankubadde ensonga ezakubisa Mugerwa zalimu egumba,Omulamuzi yali ayinza okumunenyako obunenya,nekitaba nsonga nnene.

Mu bigambo bya Kabaka yawandiikira Omuwanika omukulu,copy eri Omulamuzi wamu ne copy eri Mengo Lukiiko.

Mu kaseera ke kamu,Sekabaka yawandiikira Omuwanika nga amuwabula nti kyeyali asabye okukyuusa omulamuzi kyali tekijja kusoboka,wabula n’amugamba nti bwewanabaawo obutakkanya ku nsala y’omulamuzi,Omuwanika ajja kuba asobola okujulira mu kooti e Kampala.

Omuwanika bwafuna okulabulwa kwa kabaka,yasalawo okuwandiika ebbaluwa ey’emenya,era n’asaba Omulamuzi amusonyiwe olwebyo ebyasoba mu baluwa ezasooka.

Wayita satu,era nga ne Kabaka mumativu nti omusango gwa Mugerwa gunawulirwa mu kooti,ate n’afuna ebaluwa okuva ew’Omulamuzi nga awawabira Omuwanika olw'okunyooma kooti n’atagenda nga bweyasuubiza.

Mu bufunze,ebaluwa yali eraga Ssabasajja nga Omuwanika bweyali omunyomi,era nga n’ebaluwa gyeyali awandiise omwali ebigambo ebisaba Omulamuzi akyusibwe yali abikakasa,nti ye nsonga lwaki yajeema okujja mu kooti ku lunaku olulagaane.

Eno ensonga ye Omulamuzi yagiraba nga nkulu nyo,era yesigama ku kiragiro ekyali kyayisibwa Provincial Commissioner,nti kyakkirizibwa oluvanyuma lw’okutesebwako Kabaka n’abaami abasatu(ministers) nti ekigambo ky’okunenengana,oba okuleekaana kyonna ekinabangawo wakati w’abaami abo,kinawerezebwanga ewa Kabaka,n'akimaliriza mu nsala ye nga Kabaka.Ekiwandiiko kya PC kyali kimaliriza kigamba nti buba busobya okusirikira ensonga eyo n’etafibwaako.

Wano Omulamuzi agamba nti bwewaba waliwo obutakaanya wakati we n’Omuwanika,lwaki teyakireeta mu lwatu,okusinziira ku kawayiro ako waggulu.

Omulamuzi wayongerera okuwa ensonga ze nti singa buli mukulu lw’anabanga asobezza ate neyesalirawo mulamuzi ki anamusaliranga omusango,olwo ebintu bijja kuba bisobye!

Omulamuzi kyava asalawo okuwawabira Omuwanika olw’ensonga zino wamanga:

1-Okujjibwa mu ntebe y’obulamuzi,mu bigambo bya mukulu munne

2-Okuvoolwa nga atalina mazima mu mulimu gwe nga omulamuzi,ekiviirako mukulu munne obutamubeeramu na bwesige nti asobola okusala omusango n’obwenkanya.

3-Okumwonoonera erinnya lye.

Biba bikyali awo,ate ebbaluwa eva ewa magulu meeru PC Tufnell e ntebbe nga nayo etuuse,era nga esaba okunyonyolwa ku musango ogw’okukuba Omuntu.Yawandiika bwati mu bufunze...

”Okusinziira ku baluwa ezimperezeddwa,omuwanika alabika tasobola kuteekebwa mu mbuga ey’egombolola,ye nga minister,nolwekyo omusango nsaba guyimirizibwe okuwulirwa ku Gombolola mbagirawo,mukole entegeka omusango ogwo guletebwe wano nguwulire,olunaku lwonna olwa week eno.

Kabaka amangu dala yaddamu Tufnell nti ye talina bw’atandika kuyingira mu kusala misango,egy'engeri eno,era nti yali talina bwiino mu bujuvu akwata ku musango guno.Yategeeza nti ky’amanyi,ye mpaaba y’Omulamuzi nga awabira Omuwanika olw’okunyooma entebe ye,era n’okulaga nga bwatamulinaamu bwesigwa kusala musango ogwo.

Amangu ago,era Kabaka yawandiikira Omuwanika nga amubuuza ensonga lwaki yagaana okugenda mu kooti nga bweyali asuubizza.Yagenda mu maaso nga amutegeeza nga Omulamuzi bweyamuguddeko omusango.

Mu naku 9 omusango gw’okukuba Mugerwa olw’obutatuukiriza bweyamo kukola bulungi bwa nsi,gwali gumaze okufuuka Essango wakati wa ba Minister era ba Regents ba Kabaka.

Nga enaku z’omwezi 6th october 1920, Omulamuzi n’awandiikira kyeruppe Tufnell nti ebaluwa eyimiriza omusango gwa Mugerwa yagifunye,naye ebyo ali mu bikadde,ate ebitaliimu gumba kubanga essula empya mu musango yali egudwaawo,nga ye ya Omulamuzi Vs Omuwanika,era yayongera n’anyonyola nti Okukuba Mugerwa musango munene,naye okugaya,okunyooma n’okutyoobola ekooti y’eGombolola,eyateekebwawo Sabasajja, lyali sango ddene,elyali lyetaaga okusooka okuwulirwa,nga tetunaba na kulowooza ku yawewenyulwa kifaalu.Yamaliriza ategeeza nga bweyali alina bwiino,alaga bino,mu mabaluwa Omuwanika geyawandiika.

Wano Kyeruppe yapipira,era n’awandiikira Sabasajja nga amusaba n’obuwombeefu asooke ateeke ebirala byonna wabbali amale okuwulira omusango gw’abakungu bano.

Yawa amagezi (Kyeruppe)nti waberewo n’ab’amasaza nga 5, baberewo nga Finance Minister ne Chief Justice bagwiisa obwenyi.

Kino Sabasajja yakyaniriza,era n’asaba ab’aMasaza bano okubeerawo

1-Ham Mukasa Sekiboobo

2-T.Mugema

3-A.L Kimbugwe

4-T.Kasujju

Amala ekyo, ate n’awandiikira Omulamuzi nga amusaba anyonyole kaati oba ayagala guno gubeere musango(Case),oba ayagala kubeere kwemulugunya( Complaint).Wano yasaba Omulamuzi atangaaze mu bwangu,n’oluvanyuma beyongereyo.

Omulamuzi yamuddamu amangu ddala mu naku 2 nti yali erina kubeera CASE olw’ensonga nti Omuwanika yanyooma lwaatu,era n’elinnya ly’Omulamuzi lyatyoboowa,sso tayagala kwemulugunya,wabula awaaba musango gwa CASE.

Wano Sabasajja yawandiikira Omuwanika nga amusaba awereze empoza ye,era abeere mwetegefu okujja mu lukiiko nga 15 October 1920.Era yamulagira amuwereze Motoka (eritambuza Sabasajja.)

Ensonga Kabaka lwaki yasaba emmotoka, jukira ku ntandikwa twategedde nti yali agenze Butoolo,olwa kawumpuli eyali azinze ekibuga,ate teyalinaayo motoka namu bulungi esobola kumutwala ku kibuga.

Olunaku okutuuka,Kabaka yatuuka e Mengo nga baamulindiridde dda, era kooti nga etaba.

Katikkiro (Sir Apollo Kaggwa) ky’ava aleeta ensonga ye nga agamba nti naye asaana abeere ku lukiiko olusala emisango.Kabaka ky’ava amuwabula nti tekyetaagisa katikkiro okuba ku basala omusango nga waliwo Sabasajja yenyini,okusinsiira ku kiwandiiko kya Gombolola za Buganda (Circular) ekya 1917.Yagenda mu maaso okumuwabula nti ekiragiro kigamba nti omulamuzi bw’atabengawo,olwo katikkiro anaberanga n’obuvunanyizibwa,wabula olw’okuba Omulamuzi yali ku ludda oluwaabi,awo Sabasajja yenyini yeyali alina okusala.Ku luno Katikkiro yali nga ategede Ssabasajja ky’agamba,wabula wayita mbale,nga 26 October 1920 Kabaka n’afuna ebbaluwa y’okwemulugunya okwo,era ne PC Tufnell yawerezebwako copy.Mu bitonotono,Katikkiro yanokola ensonga eyasinga okumunyiiza,nga y’eno:

Ku lunaku lw’omusango gw’Omuwanika n’Omulamuzi, Katikkiro teyaweebwa lukusa kubaako kyayogera,kyokka ate nga ab’aMasaza,abatongole n’ab’aMagombolola bayanukulanga lunye,ekyo nekitegeeza nti Katikkiro Mu bwa Sabasajja takyalinamu kitiibwa,era ekyo nti bangi kyabewuunyisa.

Tunuulira akamanyiiro ku Ssabasajja,nga bwetunaabiraba mu Part 3:-
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
Aspire to inspire before you expire
  The administrator has disabled public write access.
#3164
Phad (User)
Expert Forum Member
Posts: 360
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Gender: Male phazrecords
Re:LWAKI STANSLAS MUGWANYA YAWUMMULA-Sir Daudi Chwa 1 Year, 3 Months ago  
Part 3

Kino ku lwange ndaba Abakungu bano baali batandise kumanyiira bwa Kabaka mu ngeri etyoboola.

Sekabaka Ky’ava amuddamu ebbaluwa, eyalimu ebimu ku bino:.......”Nze bwensoma mu Proclamation Notive Courts mu Buganda ndaba nga obuyinza bwonna obwa kooti y’Olukiiko buli ku Kabaka na Mulamuzi,wabula bwebaba nga bombi babuzeewo, olwo Katikkiro n’Omuwanika ne balyoka baba n’obuyinza.Wabula mu Proclamations zino, tewali wenkilabye nga kiwa Katikkiro obuyinza okulamula nga Kabaka oba Omulamuzi webali.

Wabula olw’okuba Sekabaka yali musajja mutegeevu, ebigambo bye yamalanga kubyekeneenya,era kyeyava awandiikira Omuwolereza wa Gavumenti (Attorney General )Entebbe,amuwe okuwabulwa, ku nsonga eyo nga bwekiri mu ndagaano ya 1900,era n’ebiri mu kulanga kw’enkiiko za Buganda okwa 1917. Nga bwekyandisuubiddwa, omuwolereza wa Govt yaddamu ebaluwa nga akakasa Kabaka nti ye yekka(Kabaka) y’alina obuyinza okulonda abasazi b’emisango ye nga bw’aba ayagadde.Wabula abakungu bano(Omuwanika ne Katikkiro )ensala eyo tebagikkiriza.

Bagenda mu maaso nebawandiikira PC Tufnell (magulu meeru waffe oli) nga bamusaba atangaaze,era abawe olukusa olutaliiko kkomo, okusobola nabo okubeeranga n’obuyinza mu kusala emisango, naddala nga Kabaka yenyini bw’aba nga y’ali ku ntebe y’Obulamuzi.Bagenda mu maaso nga basaba ekirowoozo kino kiwerezebwe n’ow’ekitiibwa Gavana naye akirowoozeko, balyooke basalewo nti abaami bano balina okuba n’obuyinza nga obwa Kabaka nga alamula mu kooti!

Kaakati nsaba okujjukiza, obamu, wamu n’okutegeeza abatamanyi nti Sekabaka Chwa yali wa mwaka gumu(1),bweyalangirirwa nti y’alisikira Namulondo nga Kitaawe akisizza omukono.Kimanyiddwa nti teyasobola kuteekebwaawo butereevu ku Namulondo, olw’emyaaka, so walondebwaawo abakuza, ate nga bebakuumi b’Entebe (Namulondo), nga bw’aliba asuumuseemu, aliweebwa Ddamula.

Abakungu abaweebwa eddimu ly’okukuza Kabaka omuto, baali:

1-Sir Appolo Kaggwa

2-Stanslas Mugwaanya

3-Yakobo Lule Musajjalumbwa.

Bweyali yakalya obwa Kabaka, Daudi Chwa eddimu lyeyasooka okukola kwali kutabaganya abaami bano, Katikkiro Sir Apollo Kaggwa n’Omulamuzi Omukulu Mugwaanya, era kyeyakola kwali kubaawula, buli omu abeere ne office eyiye, nga tewali ayingirira mirimu gya munne, obukyaayi n’okunenengana wakati mubo okwaali kususse ennyo kuggweewo.Kinajjukirwa nti mu April wa 1908, oluvannyuma lw’akabanga nga obukuubagano mu ngeri emisango gyegyasalwangamu.Abakungu bano bombi bagwangana mu bifuba,era ne bibabuguma!Kyokka Obuganda bwali buladde, ate kati wuuno Katikkiro asitudde enkundi wamu n’Omuwanika, baagala bagende batuulenga mu Kooti n’Omulamuzi okusala emisango! Simanyi oba olengera akabaate akalabika okuttukawo?

Kati bw'okalengera, bwatyo ne Sekabaka Chwa bweyakalengera.

Omulamuzi kyeyakola yawandiikira PC Tufnell ebbaluwa, nga enokola ensonga nga bwezajja, nga azisengeka bulungi, engeri gyebaalina obukuubagano ne mukulu munne; engeri gyeyali atuuse okulekulira obukulu mu myaka nga Kabaka tannakula kukwaata Ddamula naye n’akireka olw’ensonyi olw’okuleka obuvunaanyizibwa;ayongera n’ajjukiza nti Kabaka bweyakula n’atikkirwa engule ye,Omulamuzi yawandiikira Gavumenti nga asaba okuleka Obwaami, olw’ensonga zetulabye waggulu, wabula Gavumenti yali emugambye agira alindako bamale okwekkaanya ensonga ezimulekuliza. Wabula ate ajjukiza nti waali wakayita emyezi 4, Kabaka ate n’amulonda, okusinziira ku ndagaano ya Buganda elanga nti Kabaka bw’aliba akuze, aly'elondera abantu 3, abalimubeera okumufugirako.Era tujjukizibwa wano nti Kabaka bw’amala okumulonda,yateesa ayawule emirimu gy’abakungu be, wabula era Katikkiro yakirwaanako nnyo era empaka zali nyingi mu Lukiiko, wabula ab’Olukiiko nebasiima Kabaka by’agambye, wabula ye Katikkiro teyakisiima, era n’awereza okwemulugunya mu Gavumenti, mu myaka egyo eyali ekulemberwa Kyeruppe PC Knowles, wabula ate Katikkiro gyeyali asuubira ababaazi yasanga bassi,anti ne Kyeruppe yasalira ku luddda lwa Kabaka, era emirimu negyawulwa.

Oluvannyuma, abakungu ba Gavumenti, ne Lukiiko wamu n’Abaami bonna nebasaako emikono.Kaakano emyaka gyali giweze 7 nga emirerembe giweddewo, ate bino nebittula kookolo.Mu baluwa eno, Omulamuzi yali yebuuza ebibuuzo bino wammanga:-

1-Nsonga ki eyali esikiriza Katikkiro okuyingira okubera omubaka mu kooti y’Omulamuzi?

Kwali kufuna Bitiibwa?

2-Bwekuba kwali kufuna bitiibwa,okubeera omubaka mu Kooti y’Omulamuzi kye kisinga ebitiibwa by’obwa Katikkiro?

3-Yali ajja mu Gombolola y’Omulamuzi kubeera mubaka, oba yali ajja kuwakula ntalo?

4-Katikkiro bw’aba nga asobola okubeera mu butakkiriziganya entakera ne Sabasajja Kabaka, kinasoboka kitya okukkiriziganya naye mu Kooti eyange, nga ye Katikkiro, era emirimu negitasoba?


Awo ggwe omusomi osobola okubeera omulamuzi ku nsonga ezo.

Bw’atyo n’asaako omukono gwe nga asaba okuwabulwa awasobye, era n’okutunuulira ensonga zino n’okwekkaanya okungi ennyo.

Ebbaluwa yaleeta akagulumbu mu ggwanga,era nga 10 November 1920 newabaawo akakiiko okuteesa ku nsonga ezo.Abaaliwo ku olwo:

1-H.H Kabaka wa Buganda

2-Stanslas Mugwanya(Omulamuzi)

3-Yakobo Musajjalumbwa(Omuwanika)

4-Hamu Mukasa Sekiboobo(Ku lwa Katikkiro)

5-Allan Hogg( Omuwolereza w’amateeka)-Attorney Genenal

6-Mr.Gatherie Smith (Acting Chief Justice)

7-Capt.H.M Tufnell (Acting Provincial Commissioner)


Waaliwo ensitaano, era Chief Justice ne Attorney General nga bagamba nti Buganda eddeyo yeyongere okuteesa ku nsonga eyo,nga bbo balaba tewali nsonga egaana Katikkiro n’Omuwanika kubeera mu Kooti.Wabula Ssabasajja n’abategeeza nti waaliwo obulabe nga n’enyombo ezaaliwo mu myaka giri ezaali zisirikiridde zaali zisobola okuttuka, naye Chief Justice n’agamba nti tasuubira nti entalo Ssabasajja zeyali atya zinaddamu. Kabaka yagezaako okwongera okuwandiikira PC ku nsonga eyo nate, wabula yye yali amaze okusalawo, Omuwanika ne Katikkiro batuule mu Kooti n’Omulamuzi.

Kyeyava awandiiira Gavana Uganda Protectorate, ow’ekitiibwa Sir.T R Coryndon, nga alumuviira ku ntono, era nga amulaga akabi akaali kayolekedde obuganda,olw’engeri Chief Justice ne Attorney General gyebaali bakkiriziganyizza n’okusaba kwa Katikkiro n’Omuwanika.Yalaga ennaku nti newankubadde yagezaako okunyonyola PC Tufnell obukuubagano obwaliwo emyaka egyayita wakati w’abaami, ye Tufnell yesulirayo gwa naggamba, era nagamba nga bwewatali bulabe buyinza kubalukawo nate.

Yamaliriza nga asaba Gavana afune ku copy z’amabaluwa agabadde gawanyisiganyizibwa okuviira ddala ensonga zino lwe zaabalukawo.

Awo ate Omulamuzi n’awandiikira Chief Justice Entebbe ebbaluwa nga amulaga nga bw’atali mwetegefu kubeera mu kooti na bakungu abo, olwebafaayo ebyaliwo wakati wabwe.Yalaga okutya kungi mu baluwa eno, nga agamba nti ye t’asobolenga kusala musango gwonna mu mazima, nga amanyi nti waliwo abamuli ku kibegabega, era nga amanyi nti yali alina okusookanga okwebuuza ku Katikkiro n’Omuwanika, nti "basebo mwe mubadde mulaba ,mutya ku nsonga gundi ne gundi".

Yawereza copy eri Kabaka, Ne Provincial Commissioner.

Kabaka ate n’afuna okuddibwamu okuva ewa Gavana, nga amugamba bwati:

“Okudda mu baluiwa yo eya 18th November, eno ye nsala ey’akamalirizo(final)okusala kuno kusinzidde mu Proclamations za Kooti za Buganda eya 27th October 1917 egamba nti Katikkiro n’Omuwanika basobola okutuula mu ntebe y’Omulamuzi mu ngeri ezitali zimu! Kati olw’ensonga eyo, tewali kibagaana kutuula mu Kooti, olw’obukulu bwabwe. Okutya kw’olina ku nyombo tekujja kusobola kujuliza ku nsonga eza Proclamations za Kooti za Buganda, awamu n’Endagaano eya 1900, n’Endagaano ya Buganda(Judicial 1905).

Bwatyo Kabaka teyalina kya kukola, okujjako okuwandiikira Omulamuzi Mugwanya, nga 17 December 1920 nga amutegeeza bw’ati:

“Nkuweereza okuddibwaamu kw’ow'ekitiibwa Gavana ku kigambo kya Katikkiro n’Omuwanika.Ku lwange ndabye nti Gavana asinzidde ku nsonga nti Katikkiro n'Omuwanika bw'otobayita mannya gabwe mu biti byabwe obanga atabawadde bitiibwa byabwe okusinziira mu ndagaano eya 1900.Naye my Proclamations za 1917,kibakakatako okuba n’erinnya basobole okuba n’obuyinza, okujjanga okutuula nga abalamuzi nga Kabaka n’Omulamuzi tebabaddewo.Ku lwange ndaba Gavana tasazewo Katikiro n’Omuwanika babe n’obuyinza obuwakanya Omulamuzi nga ali mu ntebe, wabula abassa wansi we nga Omulamuzi.Mu kino nsuubira nti okwelarikirira kw’obadde nakwo kunaggwaawo.”

Wabula ate ye Omulamuzi Mugwanya olwasoma ebbaluwa eyo, awamu n’eya Gavana gyeyawereza,kwekuwandiikira Gavana Ebbaluwa erekulira Obulamuzi.

Nga asaba okulekulira, yanokola emirimu gyeyali akoledde Uganda, nga gye gino wammanga:

Birabe mu Part 4
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
Aspire to inspire before you expire
  The administrator has disabled public write access.
#3168
Kalibattanya (User)
Expert Forum Member
Posts: 606
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:LWAKI STANSLAS MUGWANYA YAWUMMULA-Sir Daudi Chwa 1 Year, 3 Months ago  
Phad webale omulimu guno. Nze nno akatabo kano nakasomako edda, naye it's great to go through it again here with you. You do really have a talent in this thing you are doing.
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
Love Conquers All
  The administrator has disabled public write access.
Go to top Post Reply
get the latest posts directly to your desktop
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
You are here: Radio
Advertisement
Advertisement