Naye bwotunulira ebintu bino byonna gyebivudde babadde bagwiira bebagala okutyoboola ebyobuwangwa bwaffe wamu nennono zaffe nga belambika mukuyamba nokunyolwa ennyo olwobwaavu bwebatutusizaamu kyova olaba nti emirangiro tegisirikanga gi nabaddiza obwa Kabaka kyetusigalidde okuwulira nga akatutema nti neeyo ensi Buganda gyemweyagaliramu singa teyali nze alaba ewala nayo temwandigifunye.
Leero tugambye nti ebbula lyenyama telijja kutuliisa biwojjolo bonna abasookawo bagezaako naye Buganda neremerawo.
Omusaayi tuyiye abantu baffe bangi battiddwa tetulina kipya kirala kyetulinda kulaba kyetutannalaba oba kyetutayiseemu emyaaka gino gyonna, ekisa nobwesigwa bwaffe byetukoze netusasulwaamu obukyaayi obwekitujju, Mukama ali kuludda lwaffe bagamba nti gwowonya eggere yalikusambya . Naye ate ne Sserukama mayute , bwebakwata ku lirye ng'awoloma, Songa ate ffenna tukimanyi nti busa bwa mbogo bukala kungulu.Nomuntu owenkwe oba omunnanfuusi agenda ne yewoomya kungulu songa munda ajjudde ekko
