|
Oluusi abasajja bwebatuuka mu Bulaaya, empapula nezibalemesa, nga bafumbirwa! Basumbirwa abakazi abazungu, oluusi abatera kubeera nga bakulukulu. Omusajja kasita afumbirwa, olwo ng'amaka galesse eka gazika. Bano ababazungu bali possessive mungeri ensuffu.
Ate omusajja tomunenya, kuba empapula bwezibula, kyaba asigazza okukola kyakufumbirwa, oba ssi ekyo baba bamutikka kunyonyi nebamuzaayo eka.
Bwofuna omulimu omukazi aba ayagala amanye sente zofuna nenkozesa yaazo. Toyinza kumugamba nti eka walekayo omukyala n'abaana era olina okubawereza sente.
Ndabye abasajja bangi abafiirwa amaka gabwe olwokuba bafumbiddwa nga batuuse eBulaya. Waliwo omusajja eyafumbirwa omukazi omuzungu. Bwewayitawo emyaka mingi, omukazi naafa. Yaleka alaamidde omusajja sente zonna, ate nga yali mukazi mugagga. Kyokka era kyali kizibu omusajja okuddira mukazi we gweyali alesse eka. Omusajja yagamba nti waali wayiseewo emyaaka mingi nnyo, nga baawukanye n'amakaage, nga takyasobola kuddira mukaziwe owomumaka. Omusajja yagenda eka nawasaayo mukazi mulala.
Ekintu ekisinga okuba ekyennaku kwekulekawo mukazi wo, gwobadde oyagala enyo, lwakuba nga embeera tebasobozesa kweyongera kubeera mwenna. Kiruma nnyo.
|