Sitaani ajjira mubika bingi era mu buli langi ,omusanga yo ono agenze neyewaana kuba sirowooza nti alumirirwa ye kyalowooza nti alabula tewali njawulo nentalo endala eziriwo okujjako nti ono kyagaba ayinza okuba nti akibawa bakiwomerwa oba ye nga kyabiwomerwa , kuba kati yayitawo dda ekyokwenakuwaza nti nange waliwo akawuka eyakampa, okujjako ngageeze nakawa abo benyini abakeera nebakagunjawo nga balowooza nti kajja kumalawo abo bokka bebalowooza nti bebateekwa okufa naye nebesanga nga kayinza nokutwaliramu abaabwe.
Kino kyennyini abasajja nabakazi abettima kyebakola abaana baffe eka kati bwebasanga nga nabakulembeze nga nabo bagamba nti nange ndyaamu byange , kwe kwesanga nga bagenze ebweeru nebasabiriza obuyambi nti bakomewo bajjanjabe abaantu baabwe eka ,kyokka olubakwaasa ku bo kyebalowooza nti bateebye akalulu, nga batuula wansi ngabwebweena obuyambi nga bantu bebabusabidde nga bakunkumuka nga bagwaawo.
Oba nebawereza abantu amalagala nebagasibira mu masitoowa negononeka nga mu malwaaliro teri wadde tuzzi wadde eddagala ekadde erya gwaako, oba empiso ezikubibwa abantu nga bamara kugiyingiza mu mubiri gwa muntu nebaleeta enyondo nebagikuba kumpiso esobole okuyingira kuba omumwa gwempiso guba gwagooma dda mu gye nkaaga ngaate gugweredde.
Nze kulwange ndaba nti wateekwa okutondebwaawo club yabagoberezi ba lusifa kuba bo tulina bangi ddala gwaate oli bwasalawo okwookya abaana ba banne abato.
Sitaani ali wonna era abamuvunamira bangi ddala
