GAMBO BBI WAMWENGE ALISANGA KUMWOYO!!!!! 7 Months, 2 Weeks ago
‘Abatamiivu be baatuwaga okumegganira mu bantu’
MUKADDE taseka nga talina amunyonyoogedde. Pius Makanga 42, ne Perusi Nantume 40, baavunaaniddwa mu kkooti y’omulamuzi Noah Muwonge e Buwama olw’okugwenyuka ne bamegganira mu lujjudde ng’abantu bwe babeegese amaaso. Ben Ssentongo y’aleese empoza yaabwe bwati:
Omulamuzi: Omujulizi asooka mu musango guno tangaaze kkooti bwe byabadde.
Sseguya: Ku ssaawa 3:00 ez’ekiro nawulira oluyoogaano mu bbaala ya Nambi kwe kugendayo ne nsanga abawawaabirwa bakola eby’obugwenyufu mu lujjudde lw’abantu abaali babawaga nabo nga bwe bagenda mu maaso.
Omulamuzi: Ku mwembi waliwo alina ky’abuuza Sseguya?
Makanga: By’ayogedde byonna bituufu naye nsaba kkooti ensonyiwe nali ntamidde nga n’abatamiivu abaali mu kirabo bampaana n’okumpaga nti ndi kafulu mu bye nali nkola eby’obugwenyufu.
Nantume: Nange sibiwakanya byonna twabikola naye nsaba kkooti ensonyiwe nzireyo nzijanjabe Ssaalongo wange mulwadde. Nnina n’abazzukulu be ndabirira nabo bagenda kufa enjala singa onsiba. Eddoowo ly’okunywa ku kabisi lye lyansuula mu ntata ne ndeka baze ne nzira mu kuwemuka mu bantu.
Omulamuzi: Gubasinze era mulabuddwa obutaddamu kukola kikolwa kino mu bantu.
Re:GAMBO BBI WAMWENGE ALISANGA KUMWOYO!!!!! 7 Months, 2 Weeks ago
omwenge kyaali kyebikkiro era lwe lwafuuka olutimbe kati abaali basakiriza baali bamenya mu jjenje kkalu , egyo emyaaka ani yagamba nti buli kimu kiba kikomye in fact kiba kitandika butandisi ngatewali nakupapa kati abasakiriza balinga abagamba abaddusi bemisinde nti yongeramu naye ha maama babalabisa ngooli agabira munne ekyaalo nga basakiriza baddamu nti aaa eyo gyenva muwe ekirala, kati olwo yali amulabizza mukasolya oba yamutunuza buva njuba nandiki yamusiba kuttale namuleka nga kaaba meeeeeeeeeeeee kyokka banange ebyeneena tebigwa munsi