Ntera kukola kiro, kale nze ne maama wabaana tetutera kuba na biseera bingi kuba emisana ye aba bussy ate nze ekiro mbeera. Nafunyeeyo ennaku kumpi nnya nange nengamba nti zino we tugenda okwemalira eggoga. Naye nakanze kugamba ku munange, yakombye ku erima nga njogera ku gologoosa ate ye ali mu Taiwan. Wamma ggwe ne mpulira ekizibu. ennaku bbiri nsula ku budde kuba musajja mukulu bwalinnya enkandaggo mbeera sinnamujjanjaba sifuna ku mpeke ya tulo era naye akimanyi.
Olwandibadde olw'okusatu kwe kufulumamu ne noonyayo edduuda wamma ggwe ne zidda okuinywa. Nakomyewo nga ndiko n'akamwenyumwenyu era ekiro saamuwuunye. Ngowekikye bwatabulirirwa yakitegedde era olutalo n'akola lwa maanyi nnyo. Naye banange ka nkikinale mbuuze nti embuzi bw'ogimma ebiwata n'esibira mu musiri gwa muliraanwa ebeera nsobya?
Oba obugumikiriza bulina kukoma wa?
Baibuli tetugaana okulumya banaffe?
Eno ensonga ngitaddeko era bwe mugunsalira nja kwetonda era nja kuliwa naye bwe mugumusalira naye ajja kuba alina okungatta.