uhh nze maama kyanzigwako dda! nze anti nali nemanyirira byewaffe eri mukyalo gyogenda nga ofukamira eno nga bwobuuza kubuli mulirwana gwosanze, uhm naye eno maama omugambako ne ka hey natakuddamu!
e Uganda Ssekukkulu oba Eid bweba egya ngetuuse ngebonese, nolaba abantu bwe bagyaguza ngabetala!
A benkoko ngabakwata nga bamaanya nga bayokya, navembuzi ngabakwata ngababaaga, nolaba ensi bwedigida nga edda waggulu!,
uhm naye wano maama nze nolunaku olukulu lunsanga nkakkalabya anti mba sirina nakyakukola okugyako ikwekolerayo akasimbi anti buli lunaku lukulu akasaala kaba kangi!
Kale eri ewaffe abantu mukungaana kulunaku olukulu mwena ababeera buli kanyomero ka uganda oluusi nabava egendo emitala wamayanja!