|
Sibunyogootola
Ssenga Nabunnya.
Nze obusajja mbukwata nga giraasi
ABAKYALA bangi bwe balowooza ku bitundu by’abaagalwa baabwe bye bakwaako obubateeka mu ‘muudu’ ekisooka okubajjira bwe busajja.
Ebyembi ate abamu babukwata bubi okukkakkana ng’omusajja alemeddwa okukuba ‘saluti’.
Ssenga Hawa Nabunnya akolera ku luguudo lwa Kafumbe Mukasa, agamba nti obusajja bukwatibwa nga giraasi era akulaga engeri omukazi gy’alina okukwatamu obusajja n’amwagazisa okwegatta.
“ Nga tonnatandika kubuweeweeta, osaanye osooke omanye oba amaanyi g’ekisajja agaweza oba alina ga lusuluuju. Bw’aba munafu tandikira wansi ddala oba ku kikolo, nga bw’odda waggulu.
Engalo z’oteekeddwa okukozesa z’ezo essatu okuli kyalakisajja n’ebbiri ezikiddirira. Zeetoolooze obusajja wabula tobunyweza nnyo. Engalo zino ziteekwa okuba nga ziweweera bulungi kubanga bwe zibeeramu enkyakya ziyinza okusala munno ebibadde eby’obulungi ate n’aggyamu busungu.
Tandika mpola okubuweeweeta nga bw’odda waggulu. Mu kiseera kino bwe buba tebunnasituka buteekwa buteekwa okukikola ate bwe buba bwasituse dda, bujja kweyongera okuwaga.
Bw’otuuka wano engalo zitambuze ng’odda wakatikkati, otandike okunyigaanyigawo mpolampola.
Okunyigaanyiga kuno ate tekitegeeza kubunyogootola ng’abamu bwe bakola, wabula okikola mpola nga bw’owuliriza n’okusiisiriza emisuwa egibwetimbye bwe gikuba nga gitambuza omusaayi.
Abasajja abasinga bw’atuuka ku ssa lino abeera ayagala kimu kuyingira nnabunnya yeemale eggoga.
Eno ebeera nsobi nnene kubanga omusajja oluba okuyingira ng’amalamu akagoba.
Mugambe alindeko, era wano ddira olugalo oluddirira kyalakisajja otandike okuluyisa mpolampola ku mutwe gw’obusajja.
Wano obuswandi bujja kweyongera era abamu wano we bamaliramu akagoba akasooka.
Wabula bw’aba alemeddwa okutuuka ku ntikko, osobola okuyisaawo olulimi mpolampola, tayinza kusigala kye kimu.
Bwe mutuuka ku ddaala lino, ate omukazi oteekwa okuddamu buto munno asobole okucamuka.
Ebiseera ebisinga omusajja bw’amalira ebweru wa nnabunnya, taggweeramu ddala maanyi era bw’otandika luutu ey’okubiri kubeera kunazaako bunaza ng’ebintu bigenda mu maaso.
Ensobi abakazi abamu gye bakola bwe batuuka okukwata ku bannaabwe n’okubaweeweeta ate badda mu kubapima sayizi n’okubasikambula, ebibamaliramu ddala amaanyi.
N’ekirala, munno olina okumuzzaamu amaanyi ng’omuweeweeta. Mutende nga bwe yabala ojja kulaba bw’aboyaana.
Published on: Monday, 12th May, 2008
Email this article to a friend.
© Copyright The New Vision, 2000-2008. All rights reserved.
|