Naye Buwala bwa kinyozi !!!!! 4 Months, 3 Weeks ago
Ha naye banyinaze mwayitawo mukweraga.....
Tuba tuggubagguba twolekede erya Ssebaana,mubukowu obungi....tuguse e Nairobi...newesowola ka Lucia ne kawulugumya esimu...
"banange ekyenyanja kyange mwakiguze? Kansubire mukifumbisiza muzigo..nze nabagambye temukisika..mwakula mutya mwe...nze sijakubawa birabo byamwe...nze sogera kintu ate mwe ne mukola byamwe..ye ba nauganda mwaba ki?"
Ngenda okuwulira nga emboozi empitirideko ,kwekugezako okuziba amatu naye nga wa....kyenava ntunulako ebali ndabe oba waliwo omulala awulira oluganda..naye nga ntya..ndowooza oba nze gwebasubira okuba nga njogera..nembivako....ndowoza no nti embozi ewede sono wa!!!!
"Nze ndi Nairobi era nja kutuuka kukisaawe musawa biri..ate nze temweyambaza nga abava mukyalo nga munkimye,munabeko bulungi ate atamanyi kukuba kaluulu taja....Ehh fetwayitawo bili wembera nsobola okukuba esimu mulowoza tukozesa seletelo????Jaaja mwamugambye nti nzigya,ate senga Namulema,enyumba yo mwagisize langi empya? Neihgbour mw.Mutyaba yakitegedeko..nze abantu mubagambe baje bambuuzeko..nze sigenda kutambula mu mirirano oba tebasobola kuja"
Re:Naye Buwala bwa kinyozi !!!!! 4 Months, 3 Weeks ago
Naye mukulu Ssewa nawe no wakuza mpaka,balikutuma e Mbarara nogenda mu e Mbalala.Ko gwe nti muwala wa kinyozi kamulangile ate mujukize nti bwaba yetegedde muweleza nakayimba.Mhhhh kakazi katu.Egyo gyebayita emishow gya kozibuleee.
Re:Naye Buwala bwa kinyozi !!!!! 4 Months, 3 Weeks ago
Naye bannange heading eyo nnamu eyo, ssi yabusegusegu bweetyo bweetyo? Nze ngyekanze. Nga ekyo kiri awo nange bemmanyi bangi abalowooza mbu "balinnya ebbaati" batuuka mu ggulu. Ate naawe obasanga ali naabo ebweeru, eyabasooka nayo, nebakwefulirako nti oluganda baalwerabira. Waliwo nze neggwennamanya eyagenda e Nairobi namala yo week nadda eka mu nga luzungu lwokka lwayogera nga oluganda alwerabidde. Kale nze namugamba agende alabe omusawo, kubanga okwelabira bwekutyo kubeerako ensonga etegenda butuufu ku wiring waggulu awo. Naye ate erudda nga munno omutegeera okwagala ko naye okugalya, ggwe ate mukadde, ani atabeerako ku mulembe?
Re:Naye Buwala bwa kinyozi !!!!! 4 Months, 3 Weeks ago
Mukulu sewa nkulamusiza sebo, leero bukya nga onyumya kinon nange kinkute omubabiro! anti lumu nange kyantukako mwaana muwala ono namusanga Denmark (Copenhagen) wabula kwolwo nange kyampirirako! Anti nga ye takyamanyi Luganda mbu ayogera lu denish lwoka, atenga ne Pass yali atambuza ya Danmark.Tugenda okutuuka entebe fena line twasimba emu ye yali emabega wafe nankonako nandage ffe abalina Pass za Uganda side jetusimbako samudamu kuba wano kyampitirirako nnyo!! naye bwenajayo pass yange nga ntuse ku desk awo nekimubukako kuba ye yali amanyi nti yekka yalina pass ya Europ. Enamusa yatuka ku nyooge bwetwafuluma wabweru natandika okulamuza special anti yali talinawo bamunonyeko ate nga sente alabika ngayali azikwatirira. Namulaga omuntu nga bwalina okweyisa nga osanze muno bwemufanana nadala eno kumawanga. Twamutwalako paka e kampala mbu yali agenda Bweyogerere yayagala twongere okumeetinga naye nze satawana kuba yali amaze okundaga kyali. Nange olwo siri lwerabira!!![/b][/color]