|
Ha naye banyinaze mwayitawo mukweraga.....
Tuba tuggubagguba twolekede erya Ssebaana,mubukowu obungi....tuguse e Nairobi...newesowola ka Lucia ne kawulugumya esimu...
"banange ekyenyanja kyange mwakiguze? Kansubire mukifumbisiza muzigo..nze nabagambye temukisika..mwakula mutya mwe...nze sijakubawa birabo byamwe...nze sogera kintu ate mwe ne mukola byamwe..ye ba nauganda mwaba ki?"
Ngenda okuwulira nga emboozi empitirideko ,kwekugezako okuziba amatu naye nga wa....kyenava ntunulako ebali ndabe oba waliwo omulala awulira oluganda..naye nga ntya..ndowooza oba nze gwebasubira okuba nga njogera..nembivako....ndowoza no nti embozi ewede sono wa!!!!
"Nze ndi Nairobi era nja kutuuka kukisaawe musawa biri..ate nze temweyambaza nga abava mukyalo nga munkimye,munabeko bulungi ate atamanyi kukuba kaluulu taja....Ehh fetwayitawo bili wembera nsobola okukuba esimu mulowoza tukozesa seletelo????Jaaja mwamugambye nti nzigya,ate senga Namulema,enyumba yo mwagisize langi empya? Neihgbour mw.Mutyaba yakitegedeko..nze abantu mubagambe baje bambuuzeko..nze sigenda kutambula mu mirirano oba tebasobola kuja"
nze awo we nagwiramu ekidumusi ekye nsonga nengendako mukabuyonjo paka enyonyi lweyambula......
Nye kyankola bubi sasobola kumanya bingi bikwata ku mwana muwala ono..naye wakikola era obewo....
balikulabisa nga okute ku sente..okubeera ebulaya ..olaba kikwogeza ebyo byona...katulinde tulabe....
bwoba wetegede akayimba ako kakunyumire..
(http://www.youtube.com/watch?v=kQQsGggDEi4)
Twegweko...
paulo ezra
|