Akabenje kasse 3
Bya Tonny Nsoona ne Mukasa Kivumbi
EMMOTOKA ey’ekika kya Coaster ebadde ekubyeko abayizi nga badda ku ssomero etomeraganye ne mmotoka eya buyonjo mu Mabira ate n’emala n’eyambalagana ne tuleera.
Abantu basatu okuli nnannyini ssomero abayizi gye babadde balaga bafiiriddewo n’abalala 28 bali ku bitanda n’ebisago eby’amaanyi.
Abafudde ye Deo Ssentamu dayirekita w’essomero lya Green Hill College e Mukono ne Divine Mercy Pulayimale e Mbalala, dereeva wa Coaster, Asuman Bulungo n’omuyizi wa S3, Solome Adikini. Ssentamu abadde abeera Nassuuti okumpi n’essomero lya Green Hill.
Akabenje kano kaaguddewo ku ssaawa nga ttaano n'ekitundu ez'ekiro ekyakeesezza eggulo ku kyalo Buwoola ekiri mu Mabira ku luguudo oluva e Kampala okudda e Jinja.
Akabenje kano okugwawo, kaddiridde ak’e Rukungiri omwafiiridde abantu 14 abaabadde bagenda okukyala ku buko ku Lwomukaaga. Ate wiiki nga bbiri emabega akalala kaagwa e Kigunga okumpi ne Mukono ne mufiiramu abantu bataano tuleera bwe yatomeragana ne loole eyali etwala emmwanyi.
Abaabadde mu mmotoka ya buyonjo ne tuleera abaasimattuse badduse, mmotoka ne bazireka awo. Abayizi bonna baabadde baggyibwa mu bitundu by’e Nagongera mu Budaama era baasimbuddeyo ku ssaawa emu ey’akawungeezi.
Abaafudde n'abaalumiziddwa bonna baabadde mu Coaster era amakeesi gaabwe ag’amabaati gaabasaze nnyo.
Poliisi egamba nti , mmotoka ya buyonjo Toyota Corolla nnamba 376 UDH eyabadde eva ku ludda lw'e Kampala ye yasoose okutomeregana ne Coaster, yo n’ewabira ku mabbali g'oluguudo olwo lukululana eyabadde nayo eva e Kampala n’eyingirira ey’abayizi n’ekyaddiridde biwoobe n’okwaziirana.
Mmotoka ezaabadde ziva e Kampala zaggyeewo abaalumiziddwa ne zibaddusa mu ddwaaliro e Jinja kyokka ng’abataano baabadde bali mu mbeera mbi nnyo.
Emirambo gyatwaliddwa mu ggwanika ly'eddwaaliro e Kawolo. Ye dayirekita yafiiridde mu ddwaaliro e Jinja nga yaakatuusibwayo era omulambo gwe gye gwasigadde.
Abaalumiziddwa kuliko Grace Akoth 15, Moses Kasima 15, Samuel Okati, John Owor, Paulo Owino, Peter Onyango, Leo Owere ne Beatrice Akathi. Abalala ye Fred Omolo 20, Mary Grace Alowo 19, ono nga yamenyese omugongo, Evelyne Oboth, Steven Odoi, Juliet Asinde, Wilberforce Odoi, Joyce Aboth, Moses Ochieng n’abalala.
Akulira poliisi y'ebidduka mu disitulikiti ya Mukono, Robert Mugudde yagambye nti poliisi ekyanoonyereza ekyavuddeko akabenje.
Frank Ssekayiba , muganda wa Ssentamu omu ku bakaawonawo mu Coaster, yategeezezza nti waliwo ekibiina ky’obwannakyewa ekya Youth League for Social & Economic Renovation ekisasulira abayizi bano ekitundu kya fiizi era nga bano be baakolagana n’aba Green Hill ne Divine Mercy okubawa ebifo mu masomero gaabwe.
“Twabadde tetunnasimbula, waabaddewo obutakkaanya ng’abakulira amasomero balumiriza abalina obuvunaanyizibwa ku ssente eziggyibwa ku bayizi okuzeekomya era ensonga baabadde baakuziddira enkeera (ku Mmande) era baalese bazikwasizza Poliisi y’e Nagongera,” Ssekayiba bw’agamba.
Published on: Monday, 26th May, 2008