Gavt okulwanyisa Kabaka kye kikyayisizza NRM
Bya Dr. Lulume Bayiga [img size=150][/img]
GAVUMENTI yaffe ekoze ensobi nnyingi era ezimu ku zo kwe kufuula obulyake ekikolwa ekyabulijjo. Okulagajjalira embeera y’abantu babulijjo n’okukooko-onya abantu enfuga eya demokulaasi kyokka nga kati yeefunyiridde okuvuvuba abantu okwogera ku bibaluma y’emu ku nsonga lwaki buli gy’osimba owa NRM akalulu bw’atakabba oba okugulirira ennyo aviiramu awo ng’ayokya omusota.
Waliwo bangi abaali tebalowooza nti nsobola okumegga Anthony Mukasa owa NRM. Gavumneti ya Pulezidenti Museveni n’abagiwagira balowooza nti abantu bakyali ku biri eby’edda eby’okubalimbalimba nga babasuubiza ebintu ebitatuukirira. N’e ku mulundi guno bajja n’eby’okulimba bingi naye abalonzi baabakongooza bigere.
Okugeza omumyuka wa Pulezidenti, Polof. Gilbert Bukenya olumu yajja e Buikwe South ne mu Mukono mwonna, n’alagira abantu okusimba ebiroowa nti yali abafunidde abagagga ab’okubikolamu amafuta ga dizero.
Waayita mbale n’abagamba nti ekika ky’ebiroowa kye baali basimbye kyali kikyamu n’asuubiza okuleeta ensigo entuufu! Teyadda, azzeemu okulabika ng’anoonyeza munywanyi we Anthony Mukasa akalulu, atalina kirungi ky’akoledde bantu baffe. Bwe yazze olwo emboozi yabadde ekyuse, ng’anyumya bya muceere!
Abantu bakyalina ekkonda olwa Gavumenti obutabaako ky’ekola ku kirime kyabwe ekyali kibagaggawazza, vanilla eyagwa ebbeeyi ng’ate babiwulira nti ebweru abanene abali mu Gavumenti bamutundayo buwanana.
Ensonga endala egenda okuleeta obuzibu ya kukuumira bantu mu butamanya. Gavumenti yaleeta pulogulaamu y’a bonna basome kyokka abaana ebakonya. Pulezidenti Museveni bwe yagjja mu Buikwe South okunoonyeza munne obululu yalowooza nti abantu banaalya bisuubizo bya kutuwa disitulikiti ya Buikwe.
E mukono yokka eriyo ebibira kumpi 20 binnakyemeza bye batemye ne bassaamu emiti gya payini. Mabira baali bamutwala abantu ne bamubasuuza, ebyo byonna balowooza nti abantu bibasanyusa!
Mu bantu bangi mu Buganda wazzeewo endowooza nti Pulezidenti Museveni agezaako okvuluga Kabaka n’okuvvoola gavumenti ye. Balabira ku bintu ng’ebivumo ye ne basajja be bye bamuweereza, ate ye ng’asirise; ne balabira ne ku tteeka ly’ettaka wamu n’ebintu ebirala bingi ebikakasa nti osanga Mw. Museveni ne NRM balina ekikusike kye bategese okusaanyaawo Buganda. Ebyo byonna tebiyinza kubaagazisa muntu yenna eyeesimbawo ku kaadi ya NRM. N’olwekyo ekkonda e Buikwe South abalonzi baali balimalira ku NRM ng’ekibiina, sso si ku Mukasa ng’omuntu.
Nze ng’omu ndi musanyufu nti Bannayuganda batandise okukula mu byobufuzi. Kati tokyaleeta bikonge bikukubire kampeyini n’olowooza nti onoowuddiisa abalonzi.
Ate abantu bamanyi ebyobufuzi. Okugeza, bakimanyi nti Mw. Amama Mbabazi yeenoonyeza bibye, agezaako kulwanyisa Polof. Bukenya bamuwe eky’obumyuka bwa Pulezidenti. Mw. Michael Werikhe abantu abamu baamulaba ng’azze okugaba ssente e Buikwe ne bazizira; Hajati Janat Mukwaaya gwe baawa okulabirira eggombolola y’e Nkokonjeru naye bakimanyi nti tasaanira kubanga n’ekkubo elrigenda ewa kitaawe ffu, ne gy’akiikirira teri kukubo ddamu.
Kati olwo baali bayinza kwogera ki? Mw. Museveni bwe yajjira mu nnyonyi okuyigga akalulu abantu baakitaputa nti naye yali akkirizza nti enguudo mbi, zimulemye okukola!
Naye ng’okulonda bwe kwawedde, ekisinga obukulu be bantu baffe okufunamu. Abantu tebafaayo nnyo oba oli wa kibiina ki, kasita ebibala by’akalulu kaabwe bibatuukako mu ngeri y’amasomero, enguudo ne zikolebwa, eddagala mu malwaliro ne libeerayo, n’obayamba okubafunira obutale bw’ebintu byabwe.
Ng’enda kukolagana ne baminisita ab’enjawulo okubategeeza ebizibu by’abantu n’okuwa amagezi ku ngeri y’okubimalawo. Bulijjo oludda oluvuganya lubadde lulemwa okuwangula okulonda, kubanga akakiiko k’ebyokulonda kakolera ku ntoli za NRM , naye ku luno kaalabye omusana.
Dr. Bayiga ye mubaka wa Buikwe South. Yabitegeezezza James Kabengwa.,
Published on: Sunday, 1st June, 2008