Ntera kukola kiro, kale nze ne maama wabaana tetutera kuba na biseera bingi kuba emisana ye aba bussy ate nze ekiro mbeera. Nafunyeeyo ennaku kumpi nnya nange nengamba nti zino we tugenda okwemalira eggoga. Naye nakanze kugamba ku munange, yakombye ku erima nga njogera ku gologoosa ate ye ali mu Taiwan. Wamma ggwe ne mpulira ekizibu. ennaku bbiri nsula ku budde kuba musajja mukulu bwalinnya enkandaggo mbeera sinnamujjanjaba sifuna ku mpeke ya tulo era naye akimanyi.
Olwandibadde olw'okusatu kwe kufulumamu ne noonyayo edduuda wamma ggwe ne zidda okuinywa. Nakomyewo nga ndiko n'akamwenyumwenyu era ekiro saamuwuunye. Ngowekikye bwatabulirirwa yakitegedde era olutalo n'akola lwa maanyi nnyo. Naye banange ka nkikinale mbuuze nti embuzi bw'ogimma ebiwata n'esibira mu musiri gwa muliraanwa ebeera nsobya?
Oba obugumikiriza bulina kukoma wa?
Baibuli tetugaana okulumya banaffe?
Eno ensonga ngitaddeko era bwe mugunsalira nja kwetonda era nja kuliwa naye bwe mugumusalira naye ajja kuba alina okungatta.
Muganda wange Kapakiti ate ebibyo bibi nnyo.Kuba munange ffe abasajja tulinga motooka.Kuba munange emotooka bwogigayalilira notogikoola service wekanga munange engine ekuubye.Nga ate ne pressure bweyitiliira nayo si nungi.Ate nga seruganda olina ensonga elabiika nga ye leese kazala bulwa ewuuwo eyo.Okimanyi okunonya LIZIKI ekiro nga olina mukulu muno awaka kintu si kitufu nakatono kuba kisoboka okuba nga gwe bwoseguuka nga omulala akudiira mu bigere era ogenda okuda ewa muno bwaba ayagadde akuwa makombo olwo gwe nosanyuka nnyo.
Naye nga omusajja sikunenya nakatono okugenda awalala okugezaako okwenaaza enaku ku mwoyo.Era bwewabawo omusajja yena akunenenya oyo mpozi nga ava ku planet ndala kuba ekyo kya butonde.
Anti atakubaliira nawe tomubaliira.Empewo bwekufungula nga nawe ogikunamiira.Ekikulu kyesimanyi oba wayitiddeko mu ndabilwaamu emyufu okwemalaako eggoga oba nawe olinako gyoyitira nga onyuse ku makya okunaba ku maaso.kakati nga maliliza muganda wange nze awo ndi ku luuyi lwo kuba ekyo kyabutonde kuba oluusi olisa amaaso notuuka wokoma.
4. In fact, eyo ssi yensonga lwaki mama w'abaana yagaana kyomugamba nga munyiivu? Oba wagenze ku shopping mu "katale kamawanga amagatte"?
5. Ogambye nti obugumikiriza bulina webukoma...? Era ogambye nti kulunaku olwokusatu "musajja mukulu" yalemereddwa. Bulijjo mama bwaba ali munsonga okola otya?
6. Bible egaana okulumya munno. Era egaana okutambulamu okunoonya edduuda.
7. Buli lwewabaawo embeera embi wakati w'abantu, buli gwekitwatako ab'alina ebitundu 50% mukuteekawo embeera eyo embi. Olowooza kiki gwe kyewakoze ekyaleseewo embeera eyo embi wakati wa maama w'abaana naawe?
Bwonomala okunziramu ebyo, awo nja kusalawo ani mukyamu.