CONNECT UGANDA DISCUSSION BOARD
Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?
TEWEVUMA NSI NGA TONAFA!!!!!!!!!!!!!!!!!!! (1 viewing) (1) Guest
Go to bottom Post Reply Favoured: 0
TOPIC: TEWEVUMA NSI NGA TONAFA!!!!!!!!!!!!!!!!!!!
#9528
ssewa (User)
Baby Forum Member
Posts: 37
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
TEWEVUMA NSI NGA TONAFA!!!!!!!!!!!!!!!!!!! 5 Months, 2 Weeks ago  
Bwe twali tukyasoma twekolamu obukundi,nti kano kagenda mu Northcote ate kali ka livingstone,ate akalala nga Lumumba..mubisrea ebyo zezo kuzimu hostels zetwawuliranga eza manyi..naye era eyo satuukayo..nekanga ndi Kulubya temple..ekisula kyesalowoza nti ndikitukamu....



Eyo nga nvudeyo negomba nti nange bwendiba maze emisomo gyange ndi labikangako ku TV kumkolo gya gavumenti,oba okubere omu ku ba social celebrities bomu kampala..neyo nayo satukayo..omulimu ogwasoka nagufuna Nakasongola mu LOHNRO COTTON..bwentyo ensi bwentambuza ,nzuyo Lira,Moroto,Mbarara,Kisoro,kabale ate oluvanyuma enyo nenzira e Nakasongola mu "Project".



Naye eno yona ngenze njigayo enimi empya....wabula kyekinyambye mu kwekulabanti ate enjawukana zafe mumawanga temuli nsonga wabula ,abatukulembera bebatuzanyira kubwongo.



Sakoma awo nenumba ensi ezomirirwano,eyo e Congo natuukayo,sudan,mpozi nasubwa okutukako e kigali...osanga temwandizemu kumpuliza..anti bangamba nti ebijujulu byeyo bigaba omukwano nawe nosiima.



nakomawo ewa ssebaana..nensinzira ne numba omu german era olu deutsch ne tulwogera,numbye omu Swiss ne mwogerera olufaransa ne lu girimani naye nankakasa ,eyo salwayo anti buli lwenayiganga olulima nga bangamba nti kati engeri gyoyize olulimu Police ekwetaaga ebeeko byekubuuza...ate awo nenetegula....



Salwawo nga nalumbye dda amuwarabu mu misiri naye ate abo bali bayaye ,nga sibasobola nenzira ewabobwo,mbandi awo nga ngwa ku kyana kiwala ekya mpaaza nekintwala mukibuuga Saulo,netuda eyo netulya emisota,nagyo negituwulira....



Nafuna omukisa ne numba Hongkong naye obulamu tebwagenda bulungi..naye mukasera kano nfunye omukiisa okulambula ensi endala gamba nga Monaco,Russia,Belgium.



Waliwo akakazi bakayitanga Frau Screiber kangamba "Du es ist eine chance zu leben im Deutscland,warum wollen sie nicht kommer bei unserem fest,und sehen Deutschnen meschen fruehen sich"..mpozi simanyi nsimeka akakazi kano zekatambude???



singa Airline zimanyi zandimpade ekirabo kubanga singa mbalamu sente enkozeseza..mpitirivu era sejusa lwaki mpangade okutuuka wano....



kati nina enimi endala biri zensoma..kansubire bwenaziyiga ate Police tebeko byempita kunebuuzako.....



Byenali negomba ate ndaba nga temuli,ndimusanyufu era nsubira kati yesawa okukakana ntandike okulya kubulamu..



sejusa yona gyempitide anti kinyambye okubera nabantu abengeri zona..njize nti langu yomuntu sigemazi,ate era sibwebulungi..njize okuwuliriza abalala..njize okugaba okutaliko bukwakulizo....njze okufunanga akaseera nenkaabako..kubanga bwotakaaba tomanya makulu gakusanyuka.



mpozi kyesija kwelabira kwekwebaaza mukama kututondera bana bawala abadugavu..yona gyempitide sinalaba abenkana...



sirina bwenyinza kwevuma nsi..siri giyita kisi..



Mukama abankumire



nze mukulu wamwe



Paulo Ezra
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#9532
jameerah (User)
where there is a will there is a way
Junior Forum Member
Posts: 81
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Birthdate: 1900-02-11
Re:TEWEVUMA NSI NGA TONAFA!!!!!!!!!!!!!!!!!!! 5 Months, 2 Weeks ago  
Paulo kyogamba kirimu eggumba era kituufu nnyo, ssi kirungi omuntu yevume ensi nga tannafa kubanga tomanyi ki kidirira enkya.

Tuvunurireko ebigambo byowandiise mu girimaani oba? nafe tutegere bikyi akakazi byekaalikogera!
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
life is a journey.......
  The administrator has disabled public write access.
#9535
kingo (User)
Junior Forum Member
Posts: 133
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:TEWEVUMA NSI NGA TONAFA!!!!!!!!!!!!!!!!!!! 5 Months, 1 Week ago  
Buli kintu kyetagamu obugumikiriza nga omuzadda bwaguma n'omwana mulubuto, buli kintu kiyitira mumitendera kale atalina bugumikirzaayinza okutandika okwevuma ensi.
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#9537
K WESONGA (User)
SELAMAT CHRISITIMAX
Junior Forum Member
Posts: 123
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Location: KUALA LUMPUR, MALAYSIA
Re:TEWEVUMA NSI NGA TONAFA!!!!!!!!!!!!!!!!!!! 5 Months, 1 Week ago  
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
Those who fail to prepare, are preparing to fail.
  The administrator has disabled public write access.
#9542
Mirembe2007 (User)
Junior Forum Member
Posts: 129
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:TEWEVUMA NSI NGA TONAFA!!!!!!!!!!!!!!!!!!! 5 Months, 1 Week ago  
Baganda bange ebinyiga obulamu bingi nebwoba olina ssente ezenkana olusozi ebizibu tebiyinza kubulawo .Omugagga nomwavu omuyivu natasoma abakulu nabato gwate abaana balwalilaki endwadde ezitasobola kujanjabibwa oba okutukibwako ebintu ebikosa obulamu bwabwe kiba kiki ekyo? Byebayita ebizibu. Mwena mukakasa nti tebyewalika naye ngabikujidde osalawo kwekola byabutasana nga olinga gweweka gwebatadde mulujudde ensi esekerere gwe nga bwolowooza bwotyo nti amaso gensi gali kugwe weka? notomanya nti omuguminkiliza ayita mubizibu bingi era alumizibwa nnyo nnyo okutuka kubuwanguzi!!! bannange siganye ebizibu biba bizibu era buli omu bimujila bubwe kubanga omugugu ogwo guba muzito ogwetikibwa OMUTIMA kuba tewali ayinza kumanya latili zegupima naye bwoba ofunye egugu elyo tekitegeza nti genda wette kubanga obulamu bukaye era ofunze tewali nomu ayinza kuuyamba nopalapalanya ebilowozo mazima nga oli wekka tobuliddeko namugandawo oba abemikwano oba abakulu beddini nolyoka omokola egambo nti olina kuva kunsi nogenda wetugila kusogasoga limenyeka oddayo okuwabula nti dda eka waliyo ajja okumalila ensongazo mazima nomalilila okwejja mubulamu bwensi eno nga otidde okulambulula ensonga okutyakwo okusukilidde nokubako bano omulambo ogwentisa nti yesse. Siganye , anti abomugumu baba bakaaba nga abomuti baseka metafo yakyo mugifune baganda bange . Ono muyimbi mu Kasubi White Fire yetugidde mukizimbe ekitanaggwa e Kasubi lwakumubba sente zebamuteresa nga atidde okudayo mukomera. Bannange omufu oyo yaligenze mukanisa oba omuzikiti oba mubagagga Katonda beyawa omutima ogulumilwa banabwe nababulila ekimutuseko kubanga sente ezo bazimubyeko bubi teyazikolamu bibye oba oukozesa olukujukuju naye nga gayogera mazima merere kubanga aba ayagala okuzawo elinyalye bandibadde bamuddukilila okusinga okwetta olemitwalo 16 jebagenda okukozesa okumuzika nokusasula amabanja galese kunsi mukllabe bannange !!!! Kuba kutya kuswala naye wansi wenjuba tewali atatukibwangako kiswaza naye osigala nobulamu oba ebityobola elinyalyo era osigala nobulamubwo nolindilila entukoyo lwelijja naye sibino byakwesula mumotoka oba mumazzi oba okwewa obutwa ngotidde ebyo ebikutuseko mubeyo baganda bange .
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
Go to top Post Reply
get the latest posts directly to your desktop
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
You are here: Start Here
Advertisement
Advertisement