|
Bw’ofumbirwa omusajja ‘nsindika njake’ omukolera ki?
NAZZIKKUNO ng’omuwala otuuka okufumbirwa nga tolabanga ku musajja wo wadde okunyumya naye akaboozi ak’ekikulu.
Mu biseera ebyo ng’abazadde be balabira abaana baabwe abantu be banaafumbirwa oba okuwasa era nga kyangu omuwala okugwa ku musajja babulijjo si bwemba oba b’oyinza okuyita bansindika njake.
Ennaku zino embeera eno esinga kubeera mu balokole. Abawala bamanyi ‘ebisumuluzo’ byabwe okubisibako kkufulu abasajja ne batuuka okubakuba embaga nga tebabakombezza ku bisoobooza.
Ate abamu ne bw’amanya nti ggaayi we amaanyi alina gamuswaba kyokka ng’alina ssente tafaayo.
Amufumbirwa olwo n’ayiiyiza eyo omuli n’okwenda era abaami bano babasiba nnyo abaana abatali baabwe.
Ate bw’aba yakyala mu bakadde n’abayiira emmaali n’ebintu, omuwala ayinza okutya okunoba okuswaza bakadde be, oba abazadde okusesema ebintu ebingi bye baabawa n’okutyoboola ekitiibwa kye mpeta bwe baba bagattibwa mu kkanisa, Klezia oba Omuzikiti.
Wano kyova olaba ng’abawala b’ennaku zino abasinga basooka kubeera na basajja baabwe ne babategeera engeri gye bakookolimamu, empisa zaabwe n’oluusi okusooka okubazaalira olwo ne balyoka babatwala mu bakadde n’okukkiriza okubakuba embaga.
‘Kiruma okufumbirwa omusajja n’okumwanjula mu bakadde n’atandika okukuwolezza nsonyiwa bulijjo si bwe mba ng’olwo emirimu gimulemye’. Jesica ow’e Bwaise bwe yagambye.
Yayongeddeko nti ebintu bya laavu ne bw’obeera mugumiikiriza, otuuka ekiseera n’otendewalira n’ofunayo omuntu akumalako ennyonta y’omukwano.
Ye bannange obeera otya mu bufumbo nga tozaala? Era nze nnoonyayo ggaayi omulala kubanga sajja kufumbirwa bitiibwa, nnyumba oba ssente. Diana akolera ku Majesitic Plaza mu Kampala bwe yategeezezza. Ggwe maama ensonga eno ogirowoozaako ki?
Bukedde yatuukiridde abakyala ab’enjawulo ne bawa endowooza zaabwe nga abamu bagamba nti bagumiikiriza kyokka ng’abalala bagamba nti babivaamu ne bafuna abasajja abalala.
AIDA NABUKENYA AKOLERA KU PARKYARD: Ekyo tekindesaawo maka gange kyokka nfunayo ggaayi ebbali akikolako ng’obwetaavu buzze.
NARRIET NAMUGERWA OW’E KANSANGA: Bw’abeera alina ssente simuviira mu maka ne nfunayo omusajja ebbali akikolako okumpa ku ssanyu ly’obufumbo.
FLORENCE NAMULI AKOLERA KU PARKYARD: Nze sikkiririza mu bwenzi. Bwe nkimanya nti omusajja tayaka nzirayo ewaffe ne nnoonya omulala.
NNAALONGO NAJJUMA OW'E NSOOBA LOWER: Omusajja bw’aba yeeyanjula n’ankuba n’empeta sisobola kunoba. Nsigalawo ne tunoonya eddagala.
JOSEPHINE NAKASINDE ABEERA BWAISE: Mu mbeera eyo nnoba bunobi kubanga kye mba nkola sikitegeera.
AISHA NANKYA ABEERA BUNNAMWAYA: Awo sitawaana kunoba, nfuna omusajja ebbali nammalangako ennyonta y’omukwano kubanga walayira mu kkanisa.
JOVIA TWEBAZE OW’E KISUGU SOUTH B: Bw’oba wasalawo okugenda mu maka g’omusajja olina kuguma naddala nga yakuggyayo mu makubo matuufu.
CREAM ROSE NAKAMYA OW’E NABBINGO: Ekyo ekizibu kinene nnyo. Ne bw’aba yakusasula mu bazadde, mubeera mutuuse okwawukana
|