CONNECT UGANDA DISCUSSION BOARD
Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?
Re:Fire, Fire, Fire, Infernos. (1 viewing) (1) Guest
Go to bottom Post Reply Favoured: 0
TOPIC: Re:Fire, Fire, Fire, Infernos.
#9704
kasajja (User)
Baby Forum Member
Posts: 35
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Fire, Fire, Fire, Infernos. 4 Months, 2 Weeks ago  
Ebibuuzo 7 Gavt. by’erina okuddamu ku masomero agookebwa





OKUVA mu April w’omwaka guno, amasomero 27 ge gaakookebwa abettima abatannamanyika. Erikyasembyeyo ky’ekisulo kya Makerere High School e Migadde okumpi n’e Bombo ekyayokeddwa ku Lwokuna.



Ebintu by’abayizi 80 ebyabadde mu kisulo kino byonna byatokomose, wakati mu bbula ly’ensimbi n’okuba nti ebyamaguzi byonna byalinnya ebbeeyi.



Weebuuze nti omuzadde eyaakasasula fiizi n’okugula ebyetaago by’omwana we n’asigalirawo nga talina yadde ekuba ennyonyi agenda kukola atya!



Ebintu by’omuliro guno byewuunyisa. Wiiki eno abanene mu Gavumenti bavuddeyo ne bawa ensonga ez’enjawulo eziguleese. Abamu babisiba ku bayeekera ba ADF ne LRA, abalala ne basonga ku Bamafia.



Lipoota ya poliisi gye yaakafulumya egamba nti amasomero obutaba na byuma bizikiriza muliro, okuvuganya okw’amaanyi mu masomero wamu n’abayizi bakiwagi be baleese ekyokya masomero.



Buli omu abadde akyewuunaganya Gavumenti n’evaayo n’erangirira nti abookya amasomero si bayeekera, era ne bagugumbula nnyo Gen. David Tinyefuza ne Gen. Kahinda Otafiife abaaleese ensonga eno!



Ku Lwokusatu, omubaka wa Palamenti Rose Sseninde (Mukazi-Wakiso) yaleese ekiteeso wassibwewo akakiiko akenjawulo kabuulirize era kazuule ani ayokya amasomero.



Yagambye nti bwe kiba nge tekikyasoboka kuzzaawo kitongole ki mutaseka nga ekya Wembley, waakiri akakiiko ka Palamenti akakola ku nsonga ez’omunda ke kaba kabinikibwa omulimu gw’okuzuula omutemu ono.



Ekyewuunyisa abanene mu Gavumenti, nga bakulemberwa Ndugu Ruhakana Rugunda, minisita w’ensonga ez’omunda baakiwakanyizza nnyo.



Baayambiddwaako aba NRM mu Palamenti ne bagamba nti ebitongole ebikuumaddembe birina obusobozi okuzuula omutemu ne bimukwata.



Bwe kiba nga si kyabulijjo amasomero okuggya mu kiseera ekimu, ate nga kati kisussizza mu bbanga lya myezi mukaaga lwaki Gavumenti teyagala mutemu kussibwako kakiiko akenjawulo kamunoonyerezeeko!



Waliwo ebibuuzo bingi ebyebuuzibwa ku muliro guno. Bino abooludda oluvuganya bye beeyambisa okumatiza ababawuliriza era abamu batandise okubikkiriza.



Eyali minisita w’e Mmengo Muyingo abuuza nti lwaki omuliro gusinze kwokya masomero ga mu Buganda? (nti mu bitundu ebirala busomerosomero bwe buggya).



Lwaki omuliro guzze nga waakayita ebbanga ttono nga Kabaka akubirizza abantu be okussa ensimbi mu kuzimba amasomero n’okujjumbira okuweerera abaana?



Omubaka Hussein Kyanjo (Makindye West) abuuza nti oba waliwo omunene mu Gavumenti eyasuubula ebyuma ebizikiza omuliro nga y’agezaako okutemera oluwenda bizinensi ye?



Lwaki okwokya amasomero kuzzeewo mu kiseera Abaganda we babadde beegattidde okulwanyisa etteeka ly’ettaka?



Kisoboka okuba nga waliwo ayagala okuwugula ebirowoozo byabwe boogere ku kyokya masomero kyokka?

Beti Kamya (Lubaga North) abuuza nti bwe baba nga bayeekera be bookya amasomero tulowooze nti Gavumenti ebintu bigiremye tutandike okwerabirira?



Kisoboka okuba nga abookya amasomero baagala kutiisa bazadde baleme kutwalayo baana, babatwale muga UPE gye babaddusa?



Bano beebakiikiridde abalala abeebuuza ekivuddeko amasomero okuggya.

Olw’okuba nga bangi ku Bannayuganda tebalina bwesige mu Poliisi n’obusobozi bwayo okubuuliriza n’okuzuula ensonga enkulu ng’ey’omuliro, we kyabadde kyetaagisiriza okussaawo akakiiko akenjawulo kazuule ani ayokya amasomero.



Njagala okwatulira abanene mu Poliisi, Gavumenti ne NRM nti ensonga z’okwokya amasomero bazikutte bubi.



Bwe kiba nti kwokya amasomero kugenda mu maaso nga bugolo, lwaki Gavumenti teggalawo masomero okumala wiiki nga bbiri n’esindika abalambuzi baayo okulondoola oba gonna galina obusobozi n’ebyokwerinda ebyetaagisa okukuumirayo abaana?



Published on: Friday, 4th July, 2008
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
      Topics Author Date
    thread link
Fire, Fire, Fire, Infernos.
kamikatono 2008/05/12 13:23
    thread link
thread linkthread link Re:Fire, Fire, Fire, Infernos.
kamikatono 2008/05/27 12:49
    thread link
thread linkthread linkthread link Re:Fire, Fire, Fire, Infernos.
kamikatono 2008/06/05 12:24
    thread link
thread linkthread linkthread linkthread link Re:Fire, Fire, Fire, Infernos.
ukstylish1 2008/06/05 23:36
    thread link
thread linkthread linkthread linkthread linkthread link Re:Fire, Fire, Fire, Infernos.
sabuni 2008/06/07 19:41
    thread link
thread linkthread linkthread linkthread linkthread linkthread link Re:Fire, Fire, Fire, Infernos.
sabuni 2008/06/08 13:48
    thread link
thread linkthread linkthread linkthread linkthread linkthread linkthread link Re:Fire, Fire, Fire, Infernos.
chamu 2008/06/10 10:51
    thread link
thread linkthread linkthread linkthread linkthread linkthread linkthread linkthread link Re:Fire, Fire, Fire, Infernos.
chamu 2008/06/12 09:09
    thread link
thread linkthread linkthread linkthread linkthread linkthread linkthread linkthread linkthread link Fire, Fire, Fire, Infernos.
Jona 2008/06/17 20:36
    thread link
thread linkthread linkthread linkthread linkthread linkthread linkthread linkthread linkthread linkthread link Re:Fire, Fire, Fire, Infernos.
kasajja 2008/06/21 14:30
    thread link
thread linkthread linkthread linkthread linkthread linkthread linkthread linkthread linkthread linkthread linkthread link Re:Fire, Fire, Fire, Infernos.
sabuni 2008/07/02 16:50
    thread link
thread linkthread linkthread linkthread linkthread linkthread linkthread linkthread linkthread linkthread linkthread link Re:Fire, Fire, Fire, Infernos.
kasajja 2008/07/03 14:18
    thread link
thread linkthread linkthread linkthread linkthread linkthread linkthread linkthread linkthread linkthread linkthread linkthread link Re:Fire, Fire, Fire, Infernos.
kamikatono 2008/07/04 08:50
    thread link
thread linkthread linkthread linkthread linkthread linkthread linkthread linkthread linkthread linkthread linkthread linkthread linkthread link Re:Fire, Fire, Fire, Infernos.
Mukwenda 2008/07/04 09:13
    thread link
thread linkthread linkthread linkthread link Re:Fire, Fire, Fire, Infernos.
Balyokwabwe 2008/06/09 15:18
    thread link
thread linkthread link Re:Fire, Fire, Fire, Infernos.
Mirembe2007 2008/06/09 13:40
    thread link
thread linkthread link Re:Fire, Fire, Fire, Infernos.
prettyd 2008/07/04 14:33
    thread link
thread linkthread linkthread link Re:Fire, Fire, Fire, Infernos.
kasajja 2008/07/05 17:36
Go to top Post Reply
get the latest posts directly to your desktop
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
You are here: Start Here
Advertisement
Advertisement