CONNECT UGANDA DISCUSSION BOARD
Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?
RE:Enkoolimbo dagala.. (1 viewing) (1) Guest
Go to bottom Post Reply Favoured: 0
TOPIC: RE:Enkoolimbo dagala..
#9728
JeenaJulia (User)
Diamond Forum Member
Posts: 939
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
RE:Enkoolimbo dagala.. 4 Months, 2 Weeks ago  
Omukazi abundula amazzi weekwate nkoolimbo



Enkoolimbo zijjanjaba endwadde nnyingi omuli n’ekibumba ekizimbye.



bya aisha nakasujja

Enkoolimbo y’emu ku mmere erimu ekiriisa ate nga ejjanjaba n’endwadde nnyingi. Ekyennaku nti abantu b’omu Buganda bagitya era bagisimba ku lusalosalo.



Enkoolimbo ddagala nnyo ku mukyala abundula amazzi, abalwadde ba mulangira, enziku, n’abavuddemu embuto.



Ekola ku ndwadde z’ekibumba, katugambe nga kizimbye; ejjanjaba enkaka, omusujja, abatafuluma bulungi , obulwadde bwa ssukaali, omusujja gw’ensiri mu kibumba, n’eyaabwe.



Ensigo z’enkoolimbo zaanike mu kasana zikale n’oluvannyuma okolemu ensaano.

Senako ebigiiko bisatu otabule mu mazzi agookya onywe.



Ebikoola byazo nabyo oyinza okubyanika ne bikala, oluvannyuma n’obisa n’ofunamu ensaano. Teeka mu mazzi agookya onywe.



Okujjanjaba eyaabwe, funa obukuta bw’amasanso g’enkoolimbo obufumbe oba obutokose. Nga buyidde muwe anywe era omutonnyezeeko ne mu nnyindo.



Enkoolimbo zirimu ekiriisa kingi ekizimba omubiri, ekya ‘fibre’ ekiyamba okukyusa emmere ate ekirungi nti n’amasavu agazirimu matono ddala n’olwekyo za mugaso eri omubiri.



Awamu enkoolimbo bazisiika busiisi, ne bazirya ng’obumpwancimpwanci, awalala basikaza ne bazisekula ne bakolamu obuugi, akawunga oba kaawa.

Engeri yonna gy’osobodde ojja kufuna emigaso gyonna. Abalimi nabo basaanye okuzijjumbira n’okuzirima ng’ekirime eky’ettunzi.
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AGREE TO DISAGREE...FEEL FREE TO DISAGREE.
  The administrator has disabled public write access.
      Topics Author Date
    thread link
RE:Enkoolimbo dagala..
JeenaJulia 2008/07/08 15:56
    thread link
thread linkthread link RE:Enkoolimbo dagala..
rambuka 2008/07/08 18:51
    thread link
thread linkthread linkthread link RE:Enkoolimbo dagala..
JeenaJulia 2008/07/09 10:10
    thread link
thread linkthread linkthread linkthread link RE:Enkoolimbo dagala..
psqueenie 2008/07/09 15:13
    thread link
thread linkthread linkthread linkthread linkthread link RE:Enkoolimbo dagala..
JeenaJulia 2008/07/09 19:58
    thread link
thread linkthread linkthread linkthread linkthread linkthread link RE:Enkoolimbo dagala..
Astartois 2008/07/10 21:46
Go to top Post Reply
get the latest posts directly to your desktop
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
You are here: Start Here
Advertisement
Advertisement