CONNECT UGANDA DISCUSSION BOARD
Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?
Go to bottom Post Reply Favoured: 0
TOPIC: omugoyo
#10190
Alysha (User)
Life is what u make it.
Junior Forum Member
Posts: 81
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Gender: Female Location: North America Birthdate: 2010-12-24
Re:omugoyo 3 Months, 1 Week ago  
Banage I missed to be your student, Olimusomesa mulungi kakati enjawulo ngi funnye senga teyayogede ku kugoota so kye kikozewo enjawulo kale nesimye okuyinga no lwaleero.
Sawa yakwe nyenya kati konaaaaaaa dance
.fikema wrote:
QUOTE:
Alysha wrote:
QUOTE:
fimeka,

Enajawulo sigilabye wankati wo ne Senga kyagambye era omugoyo guba gwabi jjanjaro ne lumonde.

ate Omugunnu?

Mukwano Alysha enjawulo weri,Lumonde nebijanjalo kaba katogo ate Omugoyo aba Lumonde nebijanjalo nga bigoote wamu, nga era abasinga bakozeesa kikolokomba okugugoota.Ensonga lwaki bakozesa kikoklokomba sigimanyi naye nze munange nalabanga edda abatusingako nga ye ngeri gyebakolamu omugoyo.
OMUGUNNU ndowoza yaba Lumonde yeka omugoote nga temuli bijanjaaloB)
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
If nothing changes, nothing changes.
  The administrator has disabled public write access.
#10191
Alysha (User)
Life is what u make it.
Junior Forum Member
Posts: 81
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Gender: Female Location: North America Birthdate: 2010-12-24
Re:omugoyo 3 Months, 1 Week ago  
bennita munange omugunu kilabika gwamuwongo oba nelumonde byoka naye kyezijukira bagusekulanga busekuzi mukinu naye sikayajjukira muwogo kyebamugatangamu. Ate mbadde simanyi nti omugoyo bagutabuzanga kikolokomba owaye ba jjaja bali banjawulo nnyo.[/color]b]bennita wrote:[/b]
QUOTE:
fikema wrote:
QUOTE:
Alysha wrote:
QUOTE:
fimeka,

Enajawulo sigilabye wankati wo ne Senga kyagambye era omugoyo guba gwabi jjanjaro ne lumonde.

ate Omugunnu?

Mukwano Alysha enjawulo weri,Lumonde nebijanjalo kaba katogo ate Omugoyo aba Lumonde nebijanjalo nga bigoote wamu, nga era abasinga bakozeesa kikolokomba okugugoota.Ensonga lwaki bakozesa kikoklokomba sigimanyi naye nze munange nalabanga edda abatusingako nga ye ngeri gyebakolamu omugoyo.
OMUGUNNU ndowoza yaba Lumonde yeka omugoote nga temuli bijanjaaloB)


Yiiiii oba nze nerabide kubanga bwendowoza ekigambo Omugunu nzijukira nga ekitegeza Muwogo omuggote.
naye sijukira nti abera lumonde.
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
If nothing changes, nothing changes.
  The administrator has disabled public write access.
#10226
Meli (User)
Gold Forum Member
Posts: 1408
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:omugoyo 3 Months, 1 Week ago  
Bannange Alysha nze akaana ako kanneralikiriza, wabewo akafuuwa katuleko wansi!! Ate oli JJ ali mu kukawaga mbu kona kona, akantu kajja kukutukamu amazina!
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
Ayiisa Kuba Mwagale
  The administrator has disabled public write access.
#10242
Phad (User)
Expert Forum Member
Posts: 360
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Gender: Male phazrecords
Re:omugoyo 3 Months ago  
Kano kabuuzo kalungi nnyo era nange ka ndete kyensuubira nti kinayamba okunyonyola abebuuza:

OMUGOYO:
Omugoyo gukolebwa mu lumonde na bijanjalo. Nazzikuno, ba Jajjaffe tebaalina bigotta, oba ebisotta ebikozesebwa leero. Songa okugotta lumonde n'ebijanjalo okusobola okufuna obugonvu obwagufuulanga omugoyo baalinanga okufuna okintu ekisobola okukola omulimu ogwo, mu kumagamaga kwekusangiriza ekikolokomba.
Ekikolokomba tekirina nyongeza yonna ya kalombolombo mu kukola omugoyo, kubanga n'eccupa esobola bulungi okukola omulimu gwe gumu ogwo.
Omugoyo tegutera kuliirwako nva, kubanga bweguba gukoleddwa omuntu ategeera ky'akola, guba mugonvu ekimala okumiringusa.

MUGUNU:
Ono akolebwa mu lumonde na muwogo, mu nkola y'emu n'omugoyo.Enjawulo eriwo eri nti temuteekebwamu bijanjalo. Mugunu aliibwa na nva, era asobola okuliirwa ku nva zonna wabula taliika muluma, olw'okuba aba mugumu obutafaanana na mugoyo.
Oyo agamba mbu asekulirwa mu kinu, kino kikolebwa eri oyo atayagala kubotola ntobo ya ntamu. Mugunu yetaaga amaanyi mangi ko, ekisobola okubotola entamu nu kusekula wabula ssi kya katala nti olina kukozesa kinu.

AKATOGO:
Wabula ko akatogo tekakolebwa bwekatyo n'akamu!
Akatogo kabeera ka Muwogo na Bijanjaalo, Muwogo na Binyeebwa oba Muwogo na Nyama/Byenda.
Akatogo kabeera ka Matooke na Bijanjaalo, Matooke na Binyeebwa oba Matooke na Nyama/Byenda.
Enjawulo wakati w'akatogo ne Mugunu/Mugoyo eri nti akatogo tekagottwa oba okusekulwa, wabula okufumbwa obufumbwa.

Mwongere ebipya ndeete bwiino....................


Peace and One Love
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
Aspire to inspire before you expire
  The administrator has disabled public write access.
#10244
rambuka (User)
Expert Forum Member
Posts: 643
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:omugoyo 3 Months ago  
Phad-----kulwange sebo matidde-----very clear definations-----thanks
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
peace
  The administrator has disabled public write access.
#10247
bennita (User)
Junior Forum Member
Posts: 79
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:omugoyo 3 Months ago  
okutambula kulaba....... nze nange jempita eyo jenalira akatogo aka chips
munange lwaki olwo nga zitwala Denmark wano....kumirimu emitongole. Banyanyiza era ne bantegekera ekijulo... naye basoka kumbuza nti olya akatogo konze nyooo namanyi. Era bwe namanyi nti katogo kekajja nze olubuto nentandika okuwewa... gwe wama namalusu negatandika okunjika anti emmere eye kka nali ndudde okugilyako. Nakesunga era ebyokulya ebirara byebareetanga nga mbitunurira kyamuli anti nga nkekereza olubuto lwange emmere esobole okutuuka nga nina wengisa awawerako. Zolaga omulungi tebalwa nga bampita kugenda kwesenera mmere .... akawowo kekasola okunkuba wama amalusu nentandika okumira omugaanda. Naye bwentandika okusena amanyi neganzigwa nga gwensubira okuba muwogo tafanana nga oli oweka gwe manyi nzeno nendowoza nti osanga mawogo we Denmark bwatyo bwafanana naye ekyamala enviri kumutwe mbeere nga asanze omusezi omufumbi kwekumbuza nga ngenda bwenti okutula wansi ntandike okulya nti wali olidde kukatogo ka chips? obwongo buzibu nnyo.. bwandekulira nembanga atategede kyagamba... kwekubuza nekanye.. era nakinziriramu nti AKATOGO KA CHIPS. Buli lwenzijukira ebyadirila gwe wama....................
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
Go to top Post Reply
get the latest posts directly to your desktop
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
You are here: Start Here
Advertisement
Advertisement