OMULANGIRA Alexander David Simbwa yatwaliddwa e Buyindi ajjanjabibwe obulwadde bwa kookolo obumutawaanya.
Wabula, abadde yakatuusibwayo n’aweereza obubaka obukubagiza Kyabazinga wa Busoga Isebantu Mulooki eyaziikiddwa ku Mmande.
Mu bbaluwa gye yaweerezza mu ofiisi za Bukedde, Omulangira Ssimbwa yagambye, “Nnawulidde n’ennaku nnyingi amawulire g’okuzaama kwa Isebantu Wako Mulooki. Olw’omukwano ogwaliwo wakati we ne Ssekabaka Edward Muteesa, nange yafuuka mukwano gwange ddala.”