|
Oluvanyuma lwa BANYARWANDA okufutyanka Nyaffe BUGANDA Abaganda betamidwa ekintu MULAALO !!
Soma bino:-
Ente za Tinyefuza zibizadde
Loole eyayokeddwa n’ezimu ku nte za Tinyefuza.
EBYALO bisatu e Mpigi tekusigadde bantu oluvannyuma lwa Gen. David Tinyefuza okusindika amagye okununula ente ze ezaawambiddwa abatuuze abaayokezza loole kwe zaabadde ne battirawo n’abantu basatu abaabadde mu loole.
Amagye bwe gaanunudde ente 25 ezaapakiddwa ku loole y’amagye ate olwo ekitundu ne kiyiibwamu abaserikale ba poliisi abaayodde buli bakira gwe bakwatako engalo. Ekyo kivuddeko ebyalo Kikunyu, Mirembe ne Busenya mu Ggombolola y’e Kalamba mu Butambala okusigala ebyereere.
Abaakwatiddwa baggaliddwa mu kaduukulu ku poliisi e Mpigi.
Bino biddiridde Hajji Badru Mbogga ow’e Mirembe okubulwa ente ye eyabadde ekutudde kyokka n’alowooza nti bagibbye ku Mmande ekiro.
Amawulire g’okubba ente ya Mbogga gaayanguye okusasaana mu batuuze abali ku bunkenke olw’obubbi bw’ente obukudde ejjembe.
Ebirango byayise ku leediyo y’ekitundu ey’ekizindaalo eya ‘Radio Mirembe’ nga nnannyini leediyo Haluna Mutebi akunga abatuuze okuteega loole eyabadde erabiddwako e Gombe ng’ejja Kampala ng’egenda etikka ente enzibe.
Loole bwe yatuuse e Mirembe, eyabadde ayogerera ku muzindaalo n’ategeeza nti “yiino loole etuuse e Mirembe, mmwe ab’e Kikunyu mwetegeke”.
Loole FUSO UAK 725J eya Gerald Kayondo omusuubuzi w’omu Nyendo-Masaka bwe yatuuse e Kikunyu yasanze emisanvu mu kkubo bwatyo dereeva Sulaiman Kakooza n’ayimirira.
Abatuuze abaabadde n’emiggo n’ebiso baasiseeyo Kakooza ne bamuttirawo ne banne Richard Diisi n’omulala ataategeerekese mannya.
Loole baagiggyeko ente ne bagikumako omuliro n’ebengeya.
Akulira poliisi e Mpigi, Ivan Nuwamanya yategeezezza nti ente zaggyiddwa Ssembabule ku faamu ya Tinyefuza nga zitwalibwa ku faamu ndala.
Tinyefuza bwe yategedde n’asindika ekibinja ky’abajaasi abaakung’aanyizza ente ne bazitikka ku loole ne bazitwala.
Bakira buli awulira ku ky’amagye ng’adduka. Abaabadde bakyagumye nabo baatandise okudduka, Nuwamanya bwe yatutte abaserikale ba poliisi okunoonya abasse abantu.
Nuwamanya yategeezezza nti abantu abasinga badduse ku byalo ebyo nga yo poliisi yasibye abantu 45 bokka.
Abaakwatiddwa kuliko Mbogga (eyasoose okutegeeza bw’abbiddwako ente kyokka oluvannyuma n’ezuuka) ne Mutebi owa leediyo y’ekizindaalo. Emizindaalo gya leediyo nagyo poliisi yagitutte.
Emirambo gy’abattiddwa gyatwaliddwa mu ggwanika e Gombe gye gyaggyiddwa okuziikibwa eggulo e Masaka.
Nnannyini loole Kayondo eyabadde akaaba yagambye nti yabadde yaakagigula obu-kadde 45 ng’okugyokya yaba-dde yakapangisibwa emirundi ebiri gyokka bukya agigula.
Yagambye nti mutabani we Lawulensio Bawalaggana 35, naye yabadde ku loole era yamukubidde essimu nga baakagyokya n’amutegeeza nti banne babasse ate naye yabadde akubiddwa nnyo ng’aliko we yekwese mu kibira ng’avaamu omusaayi mungi. Okutuusa eggulo yabadde tannazuulwa.
|