CONNECT UGANDA DISCUSSION BOARD
Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?
Re:Mmengo yandikutte Mpola Olubiri e Mmengo. (1 viewing) (1) Guest
Go to bottom Post Reply Favoured: 0
TOPIC: Re:Mmengo yandikutte Mpola Olubiri e Mmengo.
#9512
Balyokwabwe (User)
Senior Forum Member
Posts: 245
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Mmengo yandikutte Mpola Olubiri e Mmengo. 5 Months, 4 Weeks ago  
Soma bino wansi :-



Beemulugunyirizza Mmengo ku batunda ettaka ly’Amasiro



Omulangira Simbwa (wakati), Golooba (ku ddyo) ne Daniel Wamala nga balambula ettaka ly’Amasiro. Mu katono ye Nakamaanya





ABALANGIRA n'abambejja abasibuka mu Sseka-baka Tebandeke e Bundeke beemulugunyirizza Mmengo abantu abeefunyiridde ku kutunda ettaka ly'amasiro be bagamba nti babalemesezza okukolerako enkulaakulana.



Baagambye nti baagala Minisita ow'amasiro n'ennono, Yusufu Nsambu ayi-se ekiragiro okutaasa ebintu by'obuwangwa mu kifo kino n'okuziyiza ababadde batunda ettaka lyabwe.



Abalangira abaakulembeddwaamu Nnaalinnya w'amasiro gano, Robinah Nakamaanya n'omulangira Nakibinge 'Juma Katebe' okwemulugunya baakukoze balambuza eyakiikiridde Nsambu, omugoma wa Mujaguzo omukulu, Daniel Kimomera Wamala ettaka ly'amasiro erya yiika ettaano lye bagamba nti lyatundibwa.



Bino byabaddewo wiiki ewe-dde ku lusozi Lunnyo ku masi-ro ga Ssekabaka Tebandeke e Merera Bundeke mu Busiro.

Mu kulambula baazudde ng’ettaka lisimbiddwamu enkondo ezeerura empenda ekiraga nga waliwo abaaligula.



Baanenyezza omulangira Lukenge eyali omusituzi wa Ssekabaka gwe baagambye nti ye yabaleetera obuzibu bwe yakyusa olubiri n'aluggya ku lusozi gye lwali ng’agamba nti yali akaluubirirwa okugendayo okukola emikolo nti kyokka bwe yamala ettaka n'aligabanya abaana be abalitunze okulimalawo.



Ssentebe wa LC I mu kitundu kino, Omulangira Edward Kawagga eyagambye nti akya-li mupya ku kitundu, yate-geezezza nti yawulirako abaali bagezaako okutereeza enso-nga zino nti kyokka bwe baateesaako katono ne babivaako.



Nsambu mu bubaka bwe, yaweze okukozesa omukono ogw'ekyuma okulaba ng’abasenze ku ttaka ly'amasiro mu bukyamu n'abalitunda bakikomya mbagirawo.
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#9516
Mirembe2007 (User)
Junior Forum Member
Posts: 129
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Mmengo yandikutte Mpola Olubiri e Mmengo. 5 Months, 4 Weeks ago  
Baganda bange bino ate ebizze byampuna nga nyinimu yemubbi ate tuwoza gwambuzi ngendiga erinnya nju. Baganda bange bino Kabaka ngabwali Ssabataaka nkakasa nti ajja kugulamuza bwenkanya anti guli munju omusango okujjako nga eyagula mukopi awo ffenna tujja kuwa amagezi kubanga omuguzi bwaba teyamanya nti ddilu jalimu yabalangila netaaka lyagula lyabwa Kabaka awo tumwejereza naye bwaba nga yebaka natazukuka kumanya nti asatukidde ewabene era byagula bigenda kumulakila aba yebaka nnyo banange tebagula mubalangila etaaka lyabwaKabaka abaana nabazukulu abolulyo olulangilangila lwokka. Katusubile nti binaggwa mirembe netuteswaza anti emivuyo mingi mubyettaka lya Buganda yensonga esinga okutukeeta .
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#10497
Balyokwabwe (User)
Senior Forum Member
Posts: 245
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Mmengo yandikutte Mpola Olubiri e Mmengo. 2 Months, 3 Weeks ago  
Bawakanya okukulaakulanya Olubiri


ABAZZUKULU ba Buganda bawakannyizza enteekateeka ya Pulezidenti Gadaffi okukulaakulanya Olubiri lwa Kabaka e Mmengo ne basuubiza okumuwandiikira bamugambe agiyimirize.

“Tulowooza nti, luno lwandibeera olukwe olukoleddwa abaluubirira okusanyaawo Obwakabaka nga beerimbise mu mukulu ono naye tumaliridde okulusaanyaawo naddala bwe kiba nti Katikkiro tuludde nga tumulabula ave ku Lubiri n’Amasiro,” Abazzukulu bwe baagambye mu lukiiko olwakubiriziddwa akola nga ssentebe waabwe Abiyasali Buyego. Lwatudde kumpi ne Bulange ku Lwokubiri.

Baabadde bateesa ku nsonga eno eyalabikidde mu mawu-lire ga Bukedde.
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#10932
Balyokwabwe (User)
Senior Forum Member
Posts: 245
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Mmengo yandikutte Mpola Olubiri e Mmengo. 4 Weeks, 1 Day ago  
Mengo Offers Bukenya Lubiri Land for Rice Growing


The Monitor (Kampala)

29 September 2008
Posted to the web 29 September 2008

Al-Mahd Ssenkabirwa and Robert Mwanje


The Buganda Kingdom has offered an acre of Mengo Palace land to Vice President Gilbert Bukenya to establish a demonstration farm for promoting rice growing in the kingdom.

Mengo palace development committee secretary Levi Zzimbe said the decision to give land to Prof. Bukenya was reached by the 15-member committee, which the Kabaka mandated to redevelop the palace.


"We have decided to give out one acre (of palace land) to Prof. Bukenya to teach our people how to grow rice. We are optimistic that it will help people to learn more about rice growing," he said. The offer was announced on September 27 during the official opening of a trade exhibition at the palace.
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
Go to top Post Reply
get the latest posts directly to your desktop
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
You are here: Start Here arrow Forum
Advertisement
Advertisement