Re:VIDEO ZA BAYIMBI BAFFE OKUVA EKA 1 Year, 2 Months ago
I hate it! Mu bintu nga bino byetulabidde kubalala, tufube okusooka okuyiga obukodyo bwokubikola. Ekisinga obukulu video za kulaga bu short stories obugendera ku luyimba. Naye olwokubanga bintu bya kuwummulirako, kirungi ebifo ebirungi bikozesebwe, nabantu abayonjo. Tekyetaagisa bifaananyi byamubyaalo nnyo nobwaavu obuwunya nokuwunya. Ne mu America babulina, lwabutabulaga. Mutulage ebitatukooya nga tumaze okukoowa already!!Embuto eziyiise, namabeele agasowottose to me gali ok, kasita gabeera mategeke bulungi. Infact that's the challenge. Emirimu bongere okugitegeka obulungi.
Re:VIDEO ZA BAYIMBI BAFFE OKUVA EKA 1 Year, 2 Months ago
Nkuwagila mukino ekyokulaga obwaavu bwokka songa ate mubyaalo osangayo abalina obuntu bwaabwe naye nga bulabirire bulungi, so si buyumba bukutte mumbinabina bwokka ngojeeko nti teri yali alaze lusuku lusalire oba lubikke bulungi ssonga ono yoomu ku art gwetagala okulaga abantu abalala. naye era mulimu ensonga muvideo eno gyebamugambilako nti tasanidde kunyooma mulimu gwonna kuba oluusi oyinza okutandikira kugwawansi naye noyitamu. Kati ndeeta endala eya Walukagga Mathias eya nakoowa bizibu family.
Re:VIDEO ZA BAYIMBI BAFFE OKUVA EKA 1 Year, 2 Months ago
Nze kulwange ndowooza video zinno zisinzira mumakulu goluyimba mwebava okwata video kati oluyimba lwa matia luyima seperia mulumbe lwa sembusi toyinza gikwatira ku sheraton nenyuma kati eya willy mukabya nze ndaba era yeyo embera mweyayina ogikwatira. Ekilala okwata video ezo zetaga sente nyingi nga ate bananyini video zinno tebafunamu sente kuba ne nnyonjo agamba nti otwala cd yoluyimba lwo bwalusima nagikutera ku video ku bwerere naye takusasula kati nokwatala ku youtube ffe natulaba kabwerere