Meli wamma kyogereko, nali njagala okukyogera naye nentya nti nyinza okwetyabira akalimu obuwuka,konze ka nninde,oba oli awo nga waliwo omulala alowooza nga nze,naye nsanyuse bw'okyogeddeko.Oyo Robster alabika obukunizo yabu downloading-a ku Ipod ye,kati buli kamu akola search nga akajjayo.
Wabula ate oyogedde ku linnya lya Luutu,nze nendaba eliryo.Nga wanyiridde mu kabbo k'ebimuli awo...simanyi eyo Bible?
Yye ssebo bible, eriko nekigamba nti The Holy Bible ate wansi waliwo nakagamba nti God Bless You, wadde tekalabika. Yee nyiridde bulungi, kubanga sagala nsiwukire ku mbaga eno.
Kkwo okuba nange nfuba, naye bwendaba nga Rob byamanyi nga nfuna ennugu. Anzijukiza omwana gwennasituka nengenda nkuba oluyi nga ndi mu P3, yali asoma bulungi nnyo oluganda, ate nga asoma nnyo namwanguka. Nze nga ngattulula bugattuluzi ate mu kaama, nga antabula ate nga ankuba nobujja. Ne Rob kyenva mmuteeka, kuba antiisa nti nze ngenda okubeera omukulu atamanyi. Nga mpoza bannange saakulira kuno sibimanyi. Nfuba nnyo ku vocabulary y'oluganda, bwendaba ekigambo ekipya nga nkyesibirila. Bwenakimalako omwaka ekyo, nga mbakana nobukunizo, oba rather engero ensonge. Till then, Rob bear with me please.