CONNECT UGANDA DISCUSSION BOARD
Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?
Go to bottom Post Reply Favoured: 0
TOPIC: Re:Nkoye Obupangisa by Ragga Dee
#2798
Meli (User)
Gold Forum Member
Posts: 1408
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Nkoye Obupangisa by Ragga Dee 1 Year, 2 Months ago  
Leero kasokanga e Uganda eva nyimba mu myaka gino egiyise, luno lwelumu ku ezo zentegereera ddala obulungi. Mu myaka gyembaddde eno ebweeru nakasenguka emirindu nga kkumi olwa ba landlord ababi, buli omu nebibye. "Waliwo omwami omu eyatandika okumpa amateeka, bwewabawo mikwano gyo eginajja wano omala kuntegeeza. Abasajja tebakkirizibwa kujja wano bokka. Nze nkola ebintu byonna ebyonooneka mu nju yange. Kale tap bweba tekola oteekwa okunkubira nompita." Kale nnabanga ndi awo nga akuba akade, madde mu mulirwano kwekujja ndabe enju, waliwo ekyonoonese? Yye baani abali munda? Oli omusajja gwensanze wali ava wano?!!!!!!!"
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
Ayiisa Kuba Mwagale
  The administrator has disabled public write access.
#2806
omumbejja (User)
Gold Forum Member
Posts: 1820
graph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Nkoye Obupangisa by Ragga Dee 1 Year, 2 Months ago  
Nze mpozzi kyesikozesangako nga nsenguka ggali napikipiki ebilala byonna nali mbikozesaako. ennyonyi, train, mmeri.Naye ngekisinga okkunuma mpozzi kkulira munsi yabudde bulungi nti osobola okubeera nakantu ko okumala ebbanga eddene. Nemba ngakino kimpa obuzibu okwejjako ,nokusuula ekintu kati nolyooka otuuka okuva mukitundu ekimu olwe mbeera etebereka katugambe omulimu oba essommero olifunye mukitundu kilala nga olina kulandawo , kusasula mmotoka etwaale ebintu ebikadde oba obikanyuge kukasasilo okozese ezo ssente okubizaawo . Kati ngekisinga okunnuma kwekulaba ngooli aleese kabangali abyetikka nobula omugamba nti manyanga sikyabisudde . Ekilala ekyaali kintamye kwe kufuna buli landlord ogufuula omuze nakulongosesa enyumba nti akuddize deposit yo ,oluvanyuma naggamba omuwe address yo nti agi wereze kati ennaku bwezituuka nalyooka okola list yebintu enkuyanja ngakimanyi nti tokomewo kkayana naye neezo nazikulyaako. kyoova olaba nti wano beeru bannabwe omweezi ogusembayo tagusasula kuba akimanyi nti tebajja mmuddiza ssente
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AIM TO PLEASE SOME TIMES
  The administrator has disabled public write access.
#2845
Meli (User)
Gold Forum Member
Posts: 1408
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Nkoye Obupangisa by Ragga Dee 1 Year, 2 Months ago  
Land Lord yanzijira mu winter nga n'omuzira gugwa, nangamba nti a doubling-a rent, oba ssi ekyo nve mu nju ye mangu ddala. Nengenda ewa lawyer mukwano gwange, natuuteeka ku ssimu three way twogere. Landlord nagamba lawyer wange, oyagala ssente mmeka, lawyer wange nagamba, kangambe nti ekyo sikiwulidde. Kko landlord, ogenda okuwolereza oyo omuddugavu okusinga okufa kunze nunnansi munno? Lawyer namugamba nti nga bwennakutegezezza before, byonna byetwogera wano mbi taping-a era tujja kubikizesa mu court. Twava awo netukola deal nsigale mu nju emyaaka ebiri ku sente zezimu. Nnali mukazi muto, mu first year mu University. Nnagamba omusajja tanteega mu kazikiza nantemula abeeru abaavu balina akatwe wungu! Nate, nensenguka.
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
Ayiisa Kuba Mwagale
  The administrator has disabled public write access.
#2858
tonto (User)
Senior Forum Member
Posts: 258
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Nkoye Obupangisa by Ragga Dee 1 Year, 2 Months ago  
Bwoba nga opangisa ewa private person, eyo problem emanyiddwa nnyo. Naye bwoba opangisa mu government flats, ebyo tebibaawo. Wabula ne mu government flats, deposit tekisoboka kugikuddiza. Omugezi kyakola, omwezi ogusembayo ng'ogenda okusenguka okuva ku private, togusasula. Wabula government flats, bwotasasula mwezi gusembayo bakuteekako lawyer.
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#2872
Kalibattanya (User)
Expert Forum Member
Posts: 606
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:Nkoye Obupangisa by Ragga Dee 1 Year, 2 Months ago  
Gwennali mpangisako enju yagenda naafa, yali mukadde atazaala. Wadde yali yagamba omwana wa muganda we andeke munju, oli olwafa nga angamba nti giveemu mu mweezi mukaaga. Nga ndeeta olupapula, nga mugamba nja ku singing-a nti nja kuvaamu mu mwaka. Nga naye ayitika nga a signig-a. Bwegwaggwako nga cousin wange angamba, tovanga mu nju nga court tegambye! Yye abantu abayiga mangu, wano bwagamba okukola olukaali, naddala nga lina obutuufu, abazungu bagamba, ah ah ah ah! Kale yajja nange nga lawyer, nga anenya omusajja nti ya nkaka oku signing-a ekyo ekintu ekitali na legal. Nga yesala akajegere, nga agaana bannayini nju okwogera. Ku end nga bagenda mu legal system. I got another three years in that beautiful apartment.
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
Love Conquers All
  The administrator has disabled public write access.
Go to top Post Reply
get the latest posts directly to your desktop
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
You are here: Start Here arrow Forum
Advertisement
Advertisement