Re:Omusajja atamanyi bukko, alya chocolate na sweetie 10 Months, 2 Weeks ago
Okuyiya sikintu kyangu nyoo,ela singa kyali kyangu ndowoza fenna twandibadde bayimbi ate teli kintu kyangu nga kulaba nsobi yamuno,tugeze nga ku basambi bemipiira.Gwe omulabi obela eno nti sala,weleza gundi naye nga bwebakutekayo gwekenyi oyinza nokuvayo nga omupiira togukonye nakko.Awo nvudewo...criticism kintu kilungi nyoo kuba kituyamba okulaba ensobi zaffe,these are two different cultures,the message here with a little bit of exaggeration is that when two or more cultures come together watela okubawo obuzibu zibu,its not always a smooth road all the way naye after nga buli omu ayize ebyamune,embela edda mu nteko.
Bangi muli eyo naye nga oluyimba luno lubakakata ko,lulage kumwana munno omunyonyole ebilimu mukubaganye kubilowozo,tuyinza okwesanga nga ku sunday tufunye yo omukubi we ssimu nga alina kyayogela okufananako eyakuba nasaba akayimba keyayita I WILL WEAR YOU LIKE A COAT.
Re:Omusajja atamanyi bukko, alya chocolate na sweetie 10 Months, 2 Weeks ago
Nze nno ndowooza, nti singa abantu abagala okuyimba ebikwata ku bazungu, basooka nebebuuza nnyo, nebatayimba bintu biswaaza ggwanga. Kubanga bwoyimba ebintu ebitalina kekwaaso ku nsonga enkulu mu reality, ate nebibeera promoted ne ggwanga eddamba, waliwo abayinza okukitwala nti ggwanga lyonna lya ba donzie. Ensonga enkulu eyawula abeeru nabaddugavu ssi kulya nabutalya bintu bya njawulo, infact obwo bwonna bulimba. Waliwo ebizibu ebya namaddala, nga okukutwala ku buko bwa beeru abantu nebenyinyala newolinnye. Mukyala wattu oyo, ayimba byeyeyagaliza, byalowoza nti bya waggulu. Tannakwata mikutu, nti kati omulembe omupya gwa buli muntu nowe ggwanga lye, abazungu badiba ddaaa!!! Buli muddugavu wa Africa ategera nti naba Africa abazungu baali babalina mu kidibo, naye nga ababadibya right back. Ne munaffe Kafeero ekyo teyakimanya nga ayimba Nnafuna omwana Womuzungu. Ate ekibi bwebabiyimba ba affecting-a endowooza za abantu, wano walwio abawala abakava e Uganda abalayira nti bbo balina kufuna bazungu. Okwo kukopiwaza ggwanga lyonna, nelibeera nga ki kikonyogo team. Waliwo gyennakyaala ne Mukwano gwange African American mu ba nna Uganda, nebateekako olwa Kafeero ku video, ate newabaawo omuzira kisa najja alumuvvunulira. Yatunula nga banna Uganda be enjoying-a bazina, wabula nga sitegera expression eri ku face ye. Kyennava mugamba nti ebintu bikyaali bizibu. Kko yye, nti nkiraba.