We bwazibidde eggulo ng’omutwe gwa muka Isingoma tegunnazuulwa
Bino byabadde Kyabugimbi e Bushenyi.
Bya Chris Ahimbisibwe
SSEMAKA yamaze kulya kyaggulo ne famire ye. Kyokka mukazi we yabadde ayalawo obuliri beebake n’amuyita nti “mukyala totegana kwala buliri kubanga leero tetujja kubusulamu”. Ekyaddiridde kukwata jjambiya n’atemako mukazi we omutwe, n’addako abaana n’oluvannyuma naye ne yetta.
Ekikangabwa kino kirese abatuuze bawuniikiridde kubanga amaka g’omusajja ono gabaddemu emirembe misuffu nga bangi bamwegombesa obutayombayomba n’obutamumanyaako muze gwonna.
Bino byabadde Kyabugimbi e Bushenyi. Kiyinzika okuba nga nnyinimu, Isingoma Kanyamaiswa 30, kino yakikoze lwa kazoole kubanga wiiki bbiri eziyise yatabuka omutwe era baganda be ne bamussa ku bbaasi okumuleeta e Butabika.
Wabula wiiki ewedde baamulabira awo ng’atuuse awaka n’ategeeza nti atambuzza bigere okuva e Butabika mu Kampala okutuuka e Bushenyi.
Bwe yamaze okutemako mukazi we omutwe, olwo n’agenda ewa muganda we ku muliraano ayitibwa Charles Tumwine era yaggukidde ku muka Tumwine n’amutemaatema. Omuk-ono ogumu yagukutulidde mu kiseke ate omulala n’agukolokotako ennyama ne gusigala magumba.
Yazzeeko omwana Justus 12, ne Leonard Nuwamanya gwe yatemyeko omutwe n’omukono gwe yakutulidde ku kibegaabega ate omukono omulala n’agutemako engalo zonna. Mu kiseera kino Tumwine teyabadde waka.
Yeeyongeddeyo mu nnyumba ya nnyina Nice Tusasirwe eyeesudde miita nga 200, n’atema omwana ow’emyaka omusanvu Asen Mutabazi n’amuttirawo.
Oluvannyuma yeefumise ekiso mu kifuba n’afiira mu faamu eriraanye amaka ge era wano omulambo gwe we gwasangiddwa ku maliiri g’olunaku lw’eggulo.
Akulira poliisi e Bushenyi Jimmy Ayuku yatuuse mu kifo kino n’abaserikale n’awuniikirira. Ebitundu by’emirambo byabadde bisaasaanye. We bwazibidde eggulo ng’omutwe gwa muka Isingoma tegunnazuulwa.
Poliisi yagambye nti terina kinene ky’eyinza kukola kubanga Isingoma abadde mulalu.
Ekikangwabwa kino kiddiridde obutemu obw’omuddiring’anwa e Bushenyi.
Emirambo nga gyonna gya bantu ba nju emu gisuubirwa okuziikibwa leero.
QUOTE: omusajja ase mukazi we natta nabanbabe----oluvanyuma naye neyetta.---byonna bi badde mu Buganda banange waliwo ekikyamu----kubanga kirabika nti omusajja ono waliwo kyalabye nti ye ne family ye basegulire ebi nadirira e Buganda.
Bwana Rambuka, bino obisomye mu Bukedde wa lunaku ki, era ku page mekka?
SSAALONGO yakomyewo awaka ng’oluggi luggale n’akozesa ekisumuluzo ky’atambula nakyo okuggulawo. Yaggukidde ku mukazi we ng’agudde eri, ate bwe yakubye amaaso ku kitanda gaatuukidde ku baana baabwe bana nga bonna bafu.
Awo Gerald Mukwande Ssaalongo ow’e Kamwokya Central Zooni mu Kampala we yakomye okutegeera obulungi, n’adduka kiwalazima nga bw’atema emiranga.
Eyo y’entikko y’obuta-kkaanya wakati w’abafumbo bano abamaze bombi emyaka omunaana ne bafuna ezzadde ly’abaana bana okuli abalongo.
Emirambo gy’abaana (bonna bawala) gyabaddeko enkwaguulo mu bulago nga giri ku kitanda okumpi n’eddirisa. Ku mutayimbwa gw’eddirisa kwabadde kusibiddwaako olugoye lwa kateni (olutimbe) nga luliko empuluttulizo nga kiteeberezebwa nti lwe yakozesezza okubatuga.
Ye Nnaalongo yabadde asesema, ng’ali mu sikaati kyokka ng’ekitundu kya waggulu kyonna n’amabeere tekibikiddwaako. Yakebeddwa ne kizuulwa nga yanywedde butwa.
Ku Lwokusatu, Ssaalongo akola mu lufula ku Kaleerwe ku lw’e Gayaza, yavudde awaka ku makya ng’awadde ekiragiro Nnaalongo Margaret Kasande (bombi ne bba Banyarwanda) obutaddayo kukola.
Yatemye omulanga era mu kaseera katono abatuuze ne bakung’aana wadde nga ye yabadde apadde kiwalazima.
Poliisi yayitiddwa n’etwala Nnaalongo n’emi rambo e Mulago. Kyokka Nnaalongo eggulo yafunye akalembereza ne bamuwa abaddaabiriza abafunye obuzibu (counsellors) kyokka obwedda abavuma nti “oba mbatta kambatte, nnasse bammwe?” kino kyalowoozesezza abasawonti yandiba n’ekikyamu ku mutwe ne basalawoatwalibwe e Butabika akeberebwe.
Abaana abattiddwa kuliko: Marion Muhoza 5, Matina Ainembabazi wa myaka esatu n’ekitundu n’abalongo Nakato ne Babirye ab’emyaka ebiri.
Muliraanwa waabwe Scovia Kintu yategeezezza nti Olwokusatu, Nnaalongo yasiibye muyongobevu era wadde omuliro gw’okukuma ssigiri atera okugunona ku muliraano, ku luno teyakikoze.
Nnannyini nju kwe babadde basula, Janifer Tebandeke era ssentebe wa LC1 yategeezezza nti ng’oggyeko obutakkaanya obwavudde ku Ssaalongo okugaana mukazi we okukola, baafuna obutakkaanya ng’omukyala ateebereza bba okwagala omukozi waabwe era oluvannyuma ne bamugoba.
Olw’obutaba na mukozi, kibadde kikaluubiriza Nnaalongo okukola emirimu gye egy’okusuubula n’okutambuza engoye enkad-de era ne kiyombya Ssaalongo olw’obutayagala baana be kusigala waka bokka.
Abaana baabwe abakulu okuli: Marion 5, abadde mu Top Class ne Matina owa Baby Class babadde basoma mu Arena Nursery School eriri mu kitundu.
Omusomesa waabwe Irene Gunomugisha yagambye nti basaaliddwa nnyo abayizi baabwe. Yeewuunyizza nnyaabwe okubatta kubanga abadde abaagala nnyo ate nga musirise. Omumyuka wa RDC atwala Kampala Central, Rose Kirabira yagenze mu kifo kino n’akubagiza abatuuze.
Akulira okunoonyereza ku misango ku poliisi ya Kira Road, Joseph Ekinu yagambye nti, Nnaalongo agenda aba bulungi era bamulinze awone balyoke bamuvunaane. Ssaalongo yabadde akola ntegeka kutwala mirambo kugiziika Masaka.
Avunaanyizibwa ku kunoonyereza ku misango egya nnaggomola ku poliisi y’e Bushenyi, Bernard Babu yagambye nti ettemu lino lyabaddewo ku makya ga Ssande ewedde era Nduhukire yasoose kwewa butwa n’alyoka abuwa n’omwana we. Nduhukire ye teyafudde.
Bombi baanywedde eddagala ly’ebiwuka ‘spona’.
Nduhukire yategeezezza poliisi nti, “Nayagadde ffembi tufe nga ndaba ensi ngikooye. Sirina muntu yenna gwe nabadde ntabuse naye, wabula obulamu bwe bwabadde buntamye”. Omwana eyafudde, ye yekka gwe babadde balina.
Babu yagambye nti Nduhukire waakutwalibwa mu kkooti avunaanibwe okutta omuntu n’okugezaako okwetta.