CONNECT UGANDA DISCUSSION BOARD
Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?
Re:ONO YE KAMPALA (1 viewing) (1) Guest
Go to bottom Post Reply Favoured: 0
TOPIC: Re:ONO YE KAMPALA
#1688
omumbejja (User)
Gold Forum Member
Posts: 1820
graph
User Offline Click here to see the profile of this user
ONO YE KAMPALA 1 Year, 3 Months ago  
KAMPALA si bizimbe! Abantu b’oyitako be bakola ekibuga. Emiranga n’ebiwoobe bisaanikira ebifo eby’enjawulo ng’abantu babasibye ekiwaani mu Kampala. Abeera alaajana, abamuyitako bamugamba kimu nti, olabye Kampala bw’atali bizimbe?’. Naye mu bifo omusinga ebiwoobe toyinza kwerabira katale ka Owino.



Mulimu abaana abagezigezi abasala ensawo n’obukodyo bwe bakozesa okukaabya abantu akayirigombe. Wammanga bwe bumu ku bwo:



Bw’ogenda okugula essaati wandivaayo ne ppeti! Otya? Bakulaga essaati n’ogyokebejja n’omatira ne mukkiriziganya ebbeeyi n’osasula. Mu kugissa mu kaveera we bakukyangira. Balina bippeti ebikadde, obuleega, ebisaati okutali mikono n’ebigoyegoye ebirala bye baapakira edda mu buveera. Ako ke basikayo ne bakukwanga ogenda okutuuka eka n’obuuka enswa. Ate bw’oddayo osangawo muntu mulala. Kale bw’ogenda okugula ekintu n’omala okusasula, kikwate bakuwe akaveera weeteeremu.



Abatunda engatto bakozesa olulimi n’obubonero by’otategeera ne bakusiba engatto enkyamu. Bakubuuza sayizi yo, okukkakkana nga bakufuniddeko engatto za kugulu kumu oba sayizi ez’enjawulo mu kaveera. Kino bakiyita ‘chongo’. Bw’ogenda okugula engatto n’owulira ayogera nti ‘chongo’, nga weesega kuba manya nti batuuse okukuwa ezitafaanagana.



Abagulayo obuwale obw’omunda, bw’ogulayo ezisukka mu ttaano, bbiri ziba nnamu, essatu zibeera za bituli. Bwe batakuwa za bituli, bakuteeramu obuwale bw’abaana abato.



Bw’ogenda okugula essuuka, wandivaayo n’ekigoye ky’omufaliso oba obusuuka bw’abaana. Bakuggyirayo essuuka n’ogisiima, naye era akakodyo kali mu kuteeka mu kaveera.



Abayaaye ku miryango batega abantu obuti oba ebiveera ebiseerera. Olukirinnyako n’osirittuka n’ogwa eri nga bakusikako ensawo nga bakuuliita nayo. Bw’abeera musajja waleti tasigaza.



Waliwo abavubuka abalindira ku miryango oluyingira nga batandika kukusaba chengi. Wano waliwo obukodyo bubiri. Okukusiba ekicupuli oba okulaba ludda wa w’oggye ssente ne bakulinnya akagere ne bazikubbako. Basinga kunyaga mu luwummula n’abaana b’amasomero nga baddayo.



Wabula akulira abasuubuzi b’omu Owino, Godfrey Nkajja Kayongo yagmbye nti bw’ogendayo weetegereze w’ogula ebintu. Bwe bakunyaga ogenda mu ofiisi n’oloopa. “Tubakangavvula mu ngeri bbiri. Okukugobera ddala oba okukuwummuza wiiki bbiri nga tokola”, Kayongo bwe yategeezezza. Owino abagezigezi gye bakuguza engatto ebbiri ez’okugulu okumu



Abatunda obuveera mu Owino, abayaaye be bayitamu okunyaga abaguzi. Bya Richard Ssemakula
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AIM TO PLEASE SOME TIMES
  The administrator has disabled public write access.
#1702
tonto (User)
Senior Forum Member
Posts: 258
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:ONO YE KAMPALA 1 Year, 3 Months ago  
Mwegendereze Kampala. Bwoba oludde okugendayo, kisaana mukusooka notambula n'omuntu gwewesiga abeerayo. Bali abaana bagezi nnyo. Bwebakulaba ng'okyali fulesi okuva ebweeru, olwo nga batandika okugakusalira. Bwoba wakatuukayo, amagezi genkuwa kugezaako kufanana nga bbo, bwekiba kisoboka. Tolaga nti wakatuuka.
 
Report to moderator   Logged Logged  
  The administrator has disabled public write access.
#1704
Meli (User)
Gold Forum Member
Posts: 1408
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:ONO YE KAMPALA 1 Year, 3 Months ago  
Ekinnuma, bebannamawulire bano okwogera ku nsonga zino ezo bubbi,obukumpanya,amayisa amavundu, okwoleesa omusayi omubi, nga bawaana obuwaanyi. Ebintu bino bikooya nnyo omuntu agenda e Uganda nadala nga ffe abaludde ebweeru. Bannage ogenda mu nnaku ezisooka nolaba obudde obufiira mu kulamuza. Omuntu ekintu kyanatunda shillings ataano nakitandisiza ku nkumi ettaano!! Ate waliwo abaami abamu abanyankole abalina adduuka eritunda ebidomola. Nagenda mu dduuka yaabwe kugula bidomola bya lumbe. Kyenva mbagamba bansalireko ku bbeyi. Omu nagenda atuula ku mmeeza nasalako amagulu, nangamba nti aaha, nkusaliddelo. Naye obubbi mu owino, mu sawuli , ku car park, nga tolina woteeka nsawo yo nawulira nti eri safe, Mpozzi nga ogimize! Okugenda okutuuka okuva mu nsi yo, wewaawo nga abantu bo bakuluma, naye olutuula mu nyonyi nossa ekikkowe nti eeeeeeeeeeeeeeeeehhhhuuuuuuuuuuuuuuu!!!!!!! Nga elinga eteli nsi yo! Wateekwa okubaawo ebintu ebikolebwa okuyita nate emikisa emirungi, ekimu ku bbyo kulrkerawo kuwaana bikolwa bibi, era wabeewo okuyamba nga abo ababbibwa, abantu babeere set mu bifo mwebakoleera. Tekikwetaagisa kusangawo muntu yenyini, ekifo kyobanja. Mujjukire bannange bwemwejja ku Katonda, nga naye abaleka nga mugenda mudaaga. Abagala obutebenkevu ne ntende, bisooke biroke mu mitima gyaffe, tubiwagire nga!
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
Ayiisa Kuba Mwagale
  The administrator has disabled public write access.
#1713
Phad (User)
Expert Forum Member
Posts: 360
graphgraph
User Offline Click here to see the profile of this user
Gender: Male phazrecords
Re:ONO YE KAMPALA 1 Year, 3 Months ago  
tonto wrote:

QUOTE:
Bwoba wakatuukayo, amagezi genkuwa kugezaako kufanana nga bbo, bwekiba kisoboka. Tolaga nti wakatuuka.




Tonto baaba tetugaanye,era tukimanyi abagezigezi bangi nti kyetaaga kwebuzaabuza.

Naye waliwo ekintu kyotasobola kukweeka,era eyo ye ndabika.

Bulaaya yayiga okutunyiriza ebyeenyi,ensusu ziba za njawulo,tewali ngeri gy'oyita ku basatu,ow'okuna n'atakutegeera nti ggwe oli muva mitala wa mayanja!

Engoye ziroopera ddala,oli asobola okutegeera nti olwo olugoye ssi lwa wano.

Ate oba ne bw'owereza omuntu olugoye okuva ebweru,kimanye nti banne bamubuulizaawo, nti olwo balukuweerezza kuva wa?

Kale okuda ku mulamwa,okwetegereza,n'okufuna gwewesiga akutambuzeemu kisinga.
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
Aspire to inspire before you expire
  The administrator has disabled public write access.
#1927
omumbejja (User)
Gold Forum Member
Posts: 1820
graph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:ONO YE KAMPALA 1 Year, 2 Months ago  
E 3 gear boxes and 2 headlights with tomato... authored by senoga on 30. April 2007 at 20:29



Jude, that is funny. Bless them; Nigerians are never short of an answer. Or a dish.



Their reasons for frequenting open-air restaurants for medium-made meaty offerings are a knock-out.



1. "e dey protect person from all those nyama-nyama disease them" –



Translation? Eating dog meat “gives you immunity from different diseases.”



I must say the Nigerians I know rarely ‘go to see dokoto. 'Nyama-nyama diseases is for those who no give dogs hard time’, they will tell you.



2. "Eating dog meat gives you a special protection against the most potent juju (charm)."



Oh, now there is the answer; when the juju fails, for no apparent reason, Nigerians start barking instead.



3. "Dog meat also improves your sex life. And if you eat dog meat, you cannot be poisoned."



There must be some truth in that otherwise why else would Ugandan girls keep running off with Nigerians? Not so sure about the poison bit, though.



4. "People who eat dog meat have no business with malaria. So, I was introduced to the meat as a cure for malaria and I can testify that it works."



So, no need of DDT in that part of the world then.



And what does the menu read like – Ribs? Liver? Leg? No. Depending on how hungry one is, the options are Headlights [dog’s eyes], Gear Box [liver, heart and kidneys], Tyre [legs] or Telephone [tail]. If any of that is not sufficient, then ordering 404 (whole dog) can suffice.



It is a woof world!
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AIM TO PLEASE SOME TIMES
  The administrator has disabled public write access.
#1959
omumbejja (User)
Gold Forum Member
Posts: 1820
graph
User Offline Click here to see the profile of this user
Re:ONO YE KAMPALA 1 Year, 2 Months ago  
Takisi y’ekiro kkoyi Abayaaye mwe basindira laavu



Meddie Ntale.



Bya Robert Mutebi

ABAVUGA takisi mu Kampala ekiro bakolera ku bugubi! Baddereeva bano abakola okukeesa obudde, takisi baziyingira ku ssaawa nga 3:00 ez’ekiro.



Meddie Ntale ow’e Nansana y’omu ku bavuga takisi ekiro era n’embeera y’omulimu gwe agirojja nga lutabaalo:



“Ekyantwala mu takisi y’ekiro, nnalowooza nti baddereeva babeera abatono, nti era ssente ziba nnyingiko okusinga ku bakola emisana bw’entyo takisi yange ne nsalawo ngivuge kiro.



Nnagiteeka ku Kampala-Nansana, naye nninga eyeesimira obunnya era obudde Katonda bw’abuggyako eddiba nga nzisa ku kikkowe. Nsimba ku ssundiro ly’amafuta erya Caltex okuliraana eyali ppaaka ya bbaasi z’Abaganda.



Ekizibu ekisooka babbulooka abayita takisi ekiro babeera batamiivu, banywi ba njaga, n’abayaaye abasala abantu ensawo. Bano ekibatusibako, tebaagala ssente nnyingi. Takisi bw’ejjula ne bw’omuwa 100/- tafaayo. Bano be basitula abatamiivu be tutambuza ekiro, oluusi ababeera balemereddwa ne babassa mu takisi.



Ekiro tutwala abayaaye, abatamiivu, ababbi, bamalaaya na buli kika kya muntu. Ekizibu ekirala, abamu ku be tutwala tebaagala kusasula. Bava mu mmotoka ne badduka naddala awali enzikiza, abalala naddala abakazi olumutuusa w’alaga ng’atandika kukaaba maziga.



Abenzi abatalina bugumiikiriza, nabo obasanga mu takisi za kiro. Bano bamanyi n’okuyiwa takisi, luutu n’efa ng’anti kyetinze, abasaabaze ne kibalema okugumiikiriza. Abamu baba baguze bamalaaya era beesooka mitto gya mabega gye banyumyiza akaboozi.



Omukazi atuula ku musajja n’awenjula olugoye, olwo omusajja eyeesigamye omutto ne yeesolossa ebuziba ne bakoleeza!



Abalala batuwa ssente enkadde, ebicupuli, ezitawera, w’otwalira 700/- oli n’akuwa 500/-, abalala batambulira mu bubinja bwe batuuka we baviiramu nga baggunda kondakita ebikonde nga badduka.



Abamu tubavuga okutuusa obudde lwe bukya nga beebase tebamanyi gye balaga!



Okuwemula lubeera nga luyimba abasaabaze b’ekiro lwe bayimba! Ebyo byandibadde awo, lumu ababbi bansongamu piisito ne bambula abasaabaze mu Lubigi, ne batunyagulula! Wabula ekirungi, ekiro tetusasula siteegi



wadde okutikka, bw’okafunye kabeera kako okuggyako e Nakulabye awali abasolooza okukeesa obudde.
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AIM TO PLEASE SOME TIMES
  The administrator has disabled public write access.
Go to top Post Reply
get the latest posts directly to your desktop
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
You are here: Start Here arrow Forum
Advertisement
Advertisement