CONNECT UGANDA DISCUSSION BOARD
Welcome, Guest
Please Login or Register.    Lost Password?
Yeewuunya abobuyinza okubikkirira enguzi eri mu ku (1 viewing) (1) Guest
Go to bottom Post Reply Favoured: 0
TOPIC: Yeewuunya abobuyinza okubikkirira enguzi eri mu ku
#2283
omumbejja (User)
Gold Forum Member
Posts: 1820
graph
User Offline Click here to see the profile of this user
Yeewuunya abobuyinza okubikkirira enguzi eri mu ku 1 Year, 2 Months ago  
Abasuubuzi mu katale k’ewa Kisekka nga beekalakaasa



Okuggyako nga waliwo eky’amaanyi era eky’amagezi ekikoleddwa okuziyiza obusasamalo obuli kati mu Kampala, tewali kubuusabuusa n’akatono Kampala ayolekedde okutuntumuka omuliro.



Abasuubuzi b’omu katale k’ewa Kisekka omuliro gwe baakumye ku nguudo nga basasamadde olw’okubagabako akatale kaabwe gukumala okumanya ng’ekibuga bwe kyolekedde okuntuntumuka omuliro kyonna kibengeye.



Todda mu kuwakana za wattuuyo ng’osuubira nti kino tekisoboka. Kisobokera ddala okusinziira ku masundiro g’amafuta agali okumukumu mu nguudo za Kampala kati abasasamadde ze bakumako omuliro. Asasamadde talina ky’atayinza kukola.



Olumu abo abasasamadde be bajja okukuma omuliro ku masundiro g’amafuta Kampala bamwokye ffenna tumufiirwe. Ekya “ffenna tumufiirwe” bajja kukituukako kubanga balina ekiniga ku mwoyo.



Bagamba nti banyigiriziddwa nnyo ebyenfuna ne biteekebwa mu mikono gya ba Mugyenyi bokka bbo abalala ne baviiramu awo ng’ayokya omusota.



Abakatale ka Kisekka bagamba nti ekibasasamazza , lwakuba aba KCC baabaguyaaguya ne babategeeza ng’akatale bwe bakawadde abasuubuzi bannyiniko bakeekulaakulanyize, kyokka ku nkomerero akatale ne bakagemulira Mugyenyi. Kampala bw’anaatuntumuka omuliro, gavumenti teyeebalaabala okukigiteekako nti yo yennyini yeyakoleeza omuliro ogwo.



Ekyo kiri bwe kityo kubanga gavumenti yeyatandiikiriza okupokera ba Basajjabalaba omusimbi ne gubawaga okugenda nga bagula obutale bwonna, era n’ekivudde mu kyo bwe busasamalo kati obugenda mu maaso.



Abasuubuzi balina ekiniga kubanga bamanyi bulungi nti ba Basajjabalaba baapokerwa nsimbi za muwi wa musolo nga ku zo kati kwe bakubira embwa n’eboggola nga baluubirira okweddiza buli kintu. Aba KCC okulya enguzi kwabasajjulula dda tebakyalimu kanigguusa, tebakyalina mazima na bwenkanya .



Awo nno okubalekera obuyinza obw’okugaba obutale oba okuwa layisinsi eziddukanya eby’obugagga ebirala, oba ng’abawadde okulya n’okwekkusa bokka.



Gavumenti ekyalagaalagaanya okweddiza obuyinza bw’okuddukanya ekibuga Kampala, naye ate n’ekyo kiyinza okuggya Kampala mu lusaniya kati kw’asiikirwa, ate n’agwira ddala mu kyoto wakati anti ne mu gavumenti mujjudde bali ba nguzi! Wo ayi Mzee Zedde ng’alabye ennaku!



Tebeereza Kampala bw’ayolekedde okutuntumuka omuliro olw’abali b’enguzi abayinaayina.



Bagundi muve mw’ebyo eby’okuliisa ba Mugyenyi bokka. Leka wassibwewo obukiiko obulambulukufu obugaba emirimu mubwenkanya awatali kulya nguzi.



Ekyo bwe kitaakolebwe, obusasamalo bujja kweyongera bweyongezi n’ekinaddirira ye nnakibengeya w’omuliro ogujja okulumya nnaalumanya ne ssaalumanya. Bw’ova ku bya Zedde be ppo, ogenda ku wa ngatto y’alikulagula!



Published on: Friday, 14th September, 2007



BIVA MU BUKEDDE.
 
Report to moderator   Logged Logged  
 
I AIM TO PLEASE SOME TIMES
  The administrator has disabled public write access.
Go to top Post Reply
get the latest posts directly to your desktop
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
  • Ugandan Music on Connect Uganda
You are here: Start Here arrow Forum
Advertisement
Advertisement